×
Ekitabo kino kyawandiikibwa Shk Muhammad Swaleh Al Munajjid era nga yayogera mukyo ebintu bingi Ebyaziyizibwa nga (136) mu Qura’aan ne Sunnah songa abantu bangi ensangi zino babinyomerera.

EBYAZIYIZIBWA ABANJI BYEBANYOMERERA

محرمات استهان بها كثير من الناس


ENNYANJULA

Amatendo amalungi, amajjuvu ga Allah owekitiibwa nannyini buyinza, tumutendereza, netumusaba okutuyamba, netumwenenyeza era netumusaba okutusonyiwa, twewogoma gyaali okuwona obubi bw'emyoyo gyaffe n'emirimu gyaffe emibi, oyo yenna Allah gwaba alunngamizza teri ayinza kumubuza ate negwaba abuzizza teri ayinza kumulunngamya, njatula n'olulimi lwange nenkakasa n'omutima gwange nti tewaliiwo asiinzibwa mubutuufu okujjako Allah yekka, era nga talina kimwegattako mubufuzi bwe nemukuteekerateekera ensi eno, Era nkakasa nti mazima Nabbi Muhammad (emirembe n'okusasira kwa Allah bibeere kuye) muddu we era mubaka we. Nensaba Allah asaasire abenyumba ye wamu ne baswahaba be nabuli yenna abagoberera mukkola n'okulagirira empisa ennungi okutuusa Allah lwalizingako ensi eno.

Mazima ddala Owekitiibwa Allah yatulaalikako emirimu egyobwetteeka nga tetukkirizibwa kujiragajjalira, n'atekawo ensalosalo nga tetukkirizibwa kuzisukka, natuziyizaako ebintu nga tetukkiribwa kubisaatukiramu.

Era ne Nabbi Muhammad (s.a.w) yagamba:

" ما أحل الله في كتابه فهو حلال, وما حرم فهو حرام, وما سكت عنه فهو عافية, فاقبلوا من الله العافية فإن الله لم يكن نسيا " ثم تلا هذه الآية

ﭽ وَمَا نَتَنَزَّلُ إِلَّا بِأَمۡرِ رَبِّكَۖ لَهُۥ مَا بَيۡنَ أَيۡدِينَا وَمَا خَلۡفَنَا وَمَا بَيۡنَ ذَٰلِكَۚ وَمَا كَانَ رَبُّكَ نَسِيّٗاﭼ مريم: ٦٤

رواه الحاكم 2-385, وحسنه الألباني في غاية المرام ص 14

“ Kyonna Allah kyeyakkiriza mu kitabo kye, kye kiri halaal, era kyeyaziiza kye kiri haraam era kyonna kyeyasirikira kyabasonyoyibwa, mukkirize okusonyiyibwa okuva eri Allah, kubanga Mazima Allah tali mwerabize (okubaako byeyasirikira)" oluvannyuma n'asoma A'ya eno:

{Era tali mukama wo yeerabira}.

Era ebyaziyizibwa bye bikomo oba zensalosalo za mateeka ga Allah owekitiibwa, Allah yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ يَا أَيُّهَا النَّبِيُّ إِذَا طَلَّقْتُمُ النِّسَاءَ فَطَلِّقُوهُنَّ لِعِدَّتِهِنَّ وَأَحْصُوا الْعِدَّةَ وَاتَّقُوا اللَّـهَ رَبَّكُمْ لَا تُخْرِجُوهُنَّ مِن بُيُوتِهِنَّ وَلَا يَخْرُجْنَ إِلَّا أَن يَأْتِينَ بِفَاحِشَةٍ مُّبَيِّنَةٍ وَتِلْكَ حُدُودُ اللَّـهِ وَمَن يَتَعَدَّ حُدُودَ اللَّـهِ فَقَدْ ظَلَمَ نَفْسَهُ لَا تَدْرِي لَعَلَّ اللَّـهَ يُحْدِثُ بَعْدَ ذَلِكَ أَمْرًا ﭼ الطلاق: ١

{N'oyo yenna ayisa ebikomo by'amateeka ga Allah, aba ddala yeeryazaamaanyizza yekka}

Era Allah yalagaanyisa ekibonerezo ekiruma eri omuntu yenna asukka ebikomo by'amateeka ge n'asaatukira mubyasiyizibwa nagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ ﯫ ﯬ ﯭ ﯮ ﯯ ﯰ ﯱ ﯲ ﯳ ﯴ ﯵ ﯶ ﯷ ﯸ ﭼ النساء: ١٤

{N'oyo ajeemera Allah n'omubaka we n'asukka ebikomo by'amateeka ge, (Allah) Alimuyingiza omuliro wakubeera mu gwo lubeerera; (abeeremu nga alina) ebibonyobonyo ebinyoomesa}

Era okwewala ebintu byonna ebyaziyizibwa kyatteeka jetuli olwekigambo kya Nabbi (s.a.w):

" ما نهيتكم عنه فاجتنبوه, وما أمرتكم به فافعلوا منه ماستطعتم" رواه مسلم كتاب الفضائل حديث رقم 130 ط عبد الباقي

“ Kyonna kyemba mbagaanye mukyewale nekyemba mbalagidde mukikole okusinziira kubusobozi bwammwe"

Ebimu kubirabwaako kwekuba nti abantu abamu abagoberera okwagala kwemitima gyabe banafu bamyooyo, era nga okumanya kwabwe kutono ddala bwebawulira nti ekyo kyaziyizibwa omulundi ogutali gumu besisiwala nebanyikaala nebagamba nti: Ehh buli kintu kyonna kyaziyizibwa (kiri haraamu?), temulina kintu kyonna kyemalekayo okujjako nga mwakiziyiza, mwatwonoonera obulamu, era nemunyigiriza obuwangaazi bwaffe, ne mutufundawaliza ebifuba byaffe, tewali kyemulina okujjako ekyaziyizibwa n'ekyaganibwa, songa eddiini nyangu, era ngazi, ne Allah musonyiyi omusaasizi.

Okuddamu eri Abantu abo tugamba nti: Mazima Allah alamula nga bwaba ayagadde era kyasazeewo tekiddwamu kubanga ye mukenkufu ateeka buli kimu mukifo kyakyo, kya yagadde akifuula halaal, nekirala n'akifuula haraam, kati ffe ekituvunaanyizibwako nga abaddu be kwekukkiriza era ne tusiima ekyo kyonna kyaba alamudde netwewaayo eri okusalawo kwe olwewaayo olwannamaddala.

Okulamula kwe kuyimiridde kukumanya kwe n'obukenkufu bwe, n'amazima n'obwenkanya bwe sossi mumbeera ya lusaago wadde okuzanya, Allah yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ وَتَمَّتْ كَلِمَةُ رَبِّكَ صِدْقًا وَعَدْلًا لَا مُبَدِّلَ لِكَلِمَاتِهِ وَهُوَ السَّمِيعُ الْعَلِيمُ الأنعام: ١١٥

{Kyajjula ekigambo kya mukama wo nga mazima na bwenkanya tewali wakukyusa bigambo bye, naye muwulizi omumanyi}

Allah owekitiibwa y'atunnyonnyola omusingi gw'okukkiriza ekintu nekiba halaal oba okukiziza (nekifuuka haraamu) natugamba nti:

ﭧ ﭨ ﭽ ٱلَّذِينَ يَتَّبِعُونَ ٱلرَّسُولَ ٱلنَّبِيَّ ٱلۡأُمِّيَّ ٱلَّذِي يَجِدُونَهُۥ مَكۡتُوبًا عِندَهُمۡ فِي ٱلتَّوۡرَىٰةِ وَٱلۡإِنجِيلِ يَأۡمُرُهُم بِٱلۡمَعۡرُوفِ وَيَنۡهَىٰهُمۡ عَنِ ٱلۡمُنكَرِ وَيُحِلُّ لَهُمُ ٱلطَّيِّبَٰتِ وَيُحَرِّمُ عَلَيۡهِمُ ٱلۡخَبَٰٓئِثَ وَيَضَعُ عَنۡهُمۡ إِصۡرَهُمۡ وَٱلۡأَغۡلَٰلَ ٱلَّتِي كَانَتۡ عَلَيۡهِمۡۚ فَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ بِهِۦ وَعَزَّرُوهُ وَنَصَرُوهُ وَٱتَّبَعُواْ ٱلنُّورَ ٱلَّذِيٓ أُنزِلَ مَعَهُۥٓ أُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُفۡلِحُونَ الأعراف: ١٥٧

{Nabakkiriza okulya ebirungi (byonna) n'aziza kubo okulya ebibi} nekiba nti ekirungi kyakkirizibwa ate ekibi kyaziyizibwa.

N'olwekyo okukkiriza n'okuziza kyeyawulidde Allah yekka, omuntu yenna akyekakasaako oba nakikakasa ku muntu omulala, aba akafuwadde olukafuwala olunene olumujja mu busiraamu. Allah yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ ﮭ ﮮ ﮯ ﮰ ﮱ ﯓ ﯔ ﯕ ﯖ ﯗ ﯘ ﯙ ﯦ الشورى:

{Abaffe balina bakatonda (baabwe) ababalaalika mu ddiini ekyo Allah kyatakkiriza?}

Era tulina okukimanya nti teri akkirizibwa kwogera ku halaal ne haraam okujjako bannanyini kumanya, abamanyi Qur'aan ne Sunnah za Nabbi (s.a.w), kyova olaba nti Allah yalabula okulabula okw'amaanyi eri omuntu yenna eyetantala okukkiriza n'afuula halaal oba okuziza (nafuula haraam) byatalinaako kumanya. Allah yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ وَلَا تَقُولُواْ لِمَا تَصِفُ أَلۡسِنَتُكُمُ ٱلۡكَذِبَ هَٰذَا حَلَٰلٞ وَهَٰذَا حَرَامٞ لِّتَفۡتَرُواْ عَلَى ٱللَّهِ ٱلۡكَذِبَۚ إِنَّ ٱلَّذِينَ يَفۡتَرُونَ عَلَى ٱللَّهِ ٱلۡكَذِبَ لَا يُفۡلِحُونَ النحل: ١١٦

{Era temugamba nga ebyo bye zoogera ennimi zamwe ennimba, nti Kino kitukuvu (kikkirizibwa) ate kino kizira: mulyoke mugunjewo obulimba ku Allah. Mazima abo abagunnja ku Allah obulimba si ba kwesiima (kulokoka)}

Nabyonna ebyaziyizibwa bimanyiddwa bwayogerwa mu Qur'aan ey'ekitiibwa ne mu sunnah za Nabbi (s.a.w) okugeza nga Allah bweyagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ ﮱ ﯓ ﯔ ﯕ ﯖ ﯗ ﯘ ﯚ ﯛ ﯜ ﯝ ﯟ ﯠ ﯢ ﯣ ﯤ ﯥ ﯦ الأنعام:

{Gamba nti: mujje mbasomere ebyo Allah bye yaziza kummwe, (yagamba): Temumugatta nga n'ekintu ekirala n'abazadde ababiri (muteekwa) okubayisa obulungi, era temutta nga abaana bammwe kulwokutya obwavu}

Ne Nabbi (s.a.w) yayogera mu sunnah ze ebintu bingi Allah bye yaziza okugeza nga Nabbi bwe yagamba nti:

" إن الله حرم بيع الخمر, والميتة والخنزير والأصنام" رواه أبو داود 3486 وهو في صحيح أبي داود 977

“ Mazima Allah yaziza (kummwe) okutunda omwenge, nekalannamye (ennyama nfu), ne mbizzi, n'amasanamu".

وقوله صلى الله عليه وسلم " إن الله إذا حرم شيئا حرم ثمنها" رواه الدار قطني 3-8 وهو حديث صحيح

Nekigambo kya Nabbi (s.a.w): “ Mazima Allah bwaziza ekintu kyonna, aziza n'omuwendo (gwa sente) ogukivamu".

Era obujulizi obumu bwajja nga bulaga okuziza kwemiteeko gy'ebintu ebimu okugeza nga okuziza ebika bye mmere ebimu, nga Allah bwe yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ ﭑ ﭒ ﭓ ﭔ ﭕ ﭖ ﭗ ﭘ ﭙ ﭚ ﭛ ﭜ ﭝ ﭞ ﭟ ﮓ ﭼ المائدة: ٣

{Kuzira kummwe okulya ennyamanfu, n'omusaayi (kafekkye) ne nnyama ye mbizzi, n'ekyo ekyogereddwako erinnya eddala eritali lya Allah (mu kusalibwa) n'ekyo ekituge oba ekikubiddwa nekifa, nekifudde olwokugwa, n'ekifumitiddwa (ejjembe) ne kifa}.

Era Allah natubuulira abaziyizibwa mukuwasa nagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ ﮃ ﮄ ﮅ ﮆ ﮇ ﮈ ﮉ ﮊ ﮋ ﮌ ﮍ ﮎ ﮏ ﮐ ﮑ ﮒ ﮓ ﯛ ﭼ النساء: ٢٣

{Kyaziyizibwa ku mmwe (okuwasa) bannyammwe, ne bawala bammwe, ne bannyina mmwe, ne bassengammwe, ne bannyammwe abato, ne bawala bamuganda wo, n'aba mwannyoko, ne bannyammwe abaabayonsa, ne bannyinammwe kulwokuyonka….}

Era Allah nayogera ebwaziyizibwa mubyenfuna nagamba nti:

ﭧ ﭨ ﭽ ﭧ ﭨ ﭩ ﭪ ﭫ البقرة:

{Allah yakkiriza okusuubula naziyiza okuwola okwokuzzamu amagoba (Riba)}.

Naye ate olwokuba nti Allah musaasizi nnyo eri ebaddu be yatukkiriza ebirungi nkumu tosobola kubibala n'obimalayo olwobuyitirivu bwabyo era y'ensonga lwaki teyannyonnyola bikkirizibwa kubanga byo bingi nnyo tebiggwayo wabula yannyonnyola ebyaziyizibwa olwokuba nti bisoboka okubalibwa tubeere nga tubimanyi era tusobole okubyewala, Allah yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ ﭚ ﭛ ﭜ ﭝ ﭞ ﭟ ﭠ ﭡ ﭢ ﭣﭤ ﭱ ﭼ الأنعام:

{Nga mazima yabannyonnyola ebyo bye yaziza ku mmwe wabula ekyo kye muba muwalirizibbwa gye kiri}.

Naye byo ebiri halaal yabikkiriza mumbeera y'awamu ebanga lye bimala nga birungi nagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ ﯧ ﯨ ﯩ ﯪ ﯫ ﯬ ﯭ ﯮ ﯯ ﯰ ﯱ ﯲ ﯴ ﯵ ﯶ ﯷ ﯸ البقرة:

{Abange abantu mulye mwebyo ebiri mu nsi ebitukuvu, ebirungi, temugobereranga amakubo ga sitaane. Mazima ye mulabe wammwe omweyolefu}.

Nekibanga mukusaasira kwe yaddira ekikolo kye bintu kuba nti bikkirizibwa okutuusa obujulizi lwe obukiziyiza lwe bujja, ebyo byonna biva mu kugaba kwe owekitiibwa ne mu kugaziyiriza abaddu be, kalenno tulina okumugondera, n'okumutendereza wamu n'okumwebaza.

Wabula abantu abamu bwebalaba ebyazirizibwa nga bikomeke era nga binnyonnyofu bafundawalirwa mubifuba byabwe, nebalumwa era nebanakuwalira amateeka ga Sharia, naye ekyo kiraga bunafu bwa bukkiriza, n'okutegeera okutono eri amateeka ge ddiini, abaffe abo baali baagala ebikkirizibwa byebiba bibalibwa ku ngalo olwo bamatire nti eddiini eno nyangu? Oba baali baagala kuweebwa olukalala lwebyo ebirungi ebyakkirizibwa olwo batebenkere nti amateeka ge ddiini teganyigiriza bulamu bwabwe?.

Oba baagala bagambibwe nti ennyama esaliddwa ey'ente, n'engamiya, n'embuzi, n'obumyu, n'empeewo, n'enkoko, nenjiibwa, n'embaata, n'emmaaya nti yonna ekkirizibwa, oba ekyenyanja nenzige,nti nabyo bikkirizibwa

Oba nti ebirime, enva, n'ebintu ebilala ebyempeke ebyomugaso bikkirizibwa.

Oba nti amazzi, n'amata n'omubisi bikkirizbwa

Oba nti omunnyo ne sukaali nabyo bikkirizibwa,

Oba nti okukozesa emiti, n'ebyuma, n'omusenyu n'amayinja, ne pulasikiika, n'endabirwamu bikkirizibwa.

Oba nti okwebagala kunsolo, n'okulijja emotoka, n'ennyonyi n'eggaali y'omukka n'amaato kikkirizibwa.

Oba nti okukozesa ebiwujjo by'empewo, ne zifiriigi, ne byuma ebyoza engoye nezibikaza, n'ebyuma ebifumbisibwa, n'ebintu ebirala ebikozesebwa mumaka ebirungi, nokuzimba nokubala ebitabo, okukola n'okuddabiriza amazzi, nokusima amafuta n'okugasengejja,n'okusima ebyobugagga ebyo muttaka byonna bikkirizibwa'

Oba nti okwambala ebikoleddwa mu pamba, nolwaanyo, n'ebyoya by'ensolo n'amaliba n'ebirala ebigwa muttuluba eryo bikkirizibwa.

Oba nti ekikolo mukuwasa n'okweyimirira omuntu, n'okuwola, okugula n'okutunda, n'okupangisa, n'okweyazika, n'okulima, n'okuweesa, n'okulunda ebisolo kikkirizibwa.

Abaffe olaba nti bwetusalawo okugenda mu maaso okumenya n'okubala ebyekkirizibwa tusobola okubimalayo, babadde ki bannaffe obutasemberera kutegeera byogerwa.

Ate okwesembesa kwabwe nti eddiini nyangu, kituufu naye kwesembesebwa mu bukyamu kubanga obwangu bwe ddiini eno tekusinziira kukugoberera kwagala kwamitima gy'abantu nendowooza zabwe, wabula kusinziira kwebyo amateeka ge ddiini ge byajja nabyo. Waliwo enjawulo nenne wakati wokwesembesa mubukyamu nti eddiini nyangu- yo nyangu tewli kubuusabuusa- nokukozesa olukusa sharia lwekuwa olwobuzibu bw'obaamu, okugeza nga okugatta n'okusala kuswala, n'okusibulukuka mulugendo, n'okusiiga ku Khuffu, ne sitookisi eri omutuuze olunaku lumu nekiro kyakwo ate ali mulugendo enaku satu nebiro byakwo, n'okutayammama singa oba otidde okufuna obuzibu singa okozesa amazzi n'okugatta wakati we swala ebbiri eri omulwadde, ne mukiseera nga enkuba etonnya, n'okukkiriza omusajja okutunula ku mukyala gw'ayogereza, n'okwelondera wo ng'owa omutango wakati w'okuta omuddu, n'okuliisa, n'okwambaza, n'okulya ennyamanfu mukiseera kyobuwaze nebirala ebiringa ebyo amateeka ge ddiini gebya tuwaamu olukusa n'okutukendereeza ko.

Okwongereza kwebyo byetulabye waggulu, omusiraamu ateekeddwa okukimanya nti okutugaana ebyo ebyaziyizibwa mulimu ebigendererwa ebimu kubyo kwekuba nti mazima Allah agezesa abaddu be nebyaziyizibwa alabe butya bwe beeyisa era nga lyerimu ku makubo g'okwawula wakati w'abantu bo mujjanah n'abomumuliro, kubanga ab'omumuliro babbinkira mubyobwagazi ebyo ebyetololezebwa omuliro, ate abo mujjanah baguminkiriza ebitamwa ebyo ebyetololezebwa ejjanah, okugezesebwa okwo tekuba kubaawo tetwandisobodde kwawula mugonvu eri amateeka ga Allah ku mujeemu, bbo bannannyini kukkiriza bwebatunuulira obuzibu obuli mu byetteeka gyebali nengeri gyebalina okubissamu munkola nebabigeregeranya n'empeera Allah gyajja okubasasulamu n'okufuna okusimibwa kwe, obuzibu obwo bufuuka butono nnyo gyebali. Ate bbo bannannyini bunnanfuusi batunuulira obuzibu obuli mubyetteeka gyebali neriiso ery'obulumi, n'okutamwa, n'okukugirwa, kibaleetera okukalubirirwa ennyo okubissa munkola n'okugonda kuba kuzibu gyebali.

Omuntu omugonvu eri amateeka ga Allah bwalekayo ebyo ebyaziyizibwa afuna okkombezebwa kubuwomerevu bw'obukkiriza; kubanga omuntu aleka ekintu kyonna kulwa Allah, Allah amuwanyisizaamu ekisinga obulungi n'afuna obuwomerevu bw'obukkiriza mumutima gwe.

Omuntu yenna asoma ekitabo kino asanga mu ebintu ebyenjawulo ebyakakata nti byaziyizibwa mu Qur'aan eyekitiibwa nemu Sunnah za Nabbi (s.a.w). era nga abamanyi abamu baawandiika ebitabo ebyenjawulo kubimu kubyaziyizibwa, oba egimu kumiteeko gyabyo nga amazambi amanene, era nga ebimu kubitabo ebipya ku mulamwa gwebyo ebyaziyizibwa mulimu ekitabo ekiyitibwa “ Tanibiih Al gafiriina An A'maal Al Jahiriyya" ekya ibn Nuhaasi Addimashiqy.- Allah amusaasire- Era nga ebyo bye byagaanibwa abantu byebasinga okugwamu era okukolebwa nokwebagalwa kwabyo kubuna abasiraamu bangi, nenjagala mukubyogerako okunnyonnyola obubi byabyo n'okubulirira ababikola, Nsaba Allah ampe ne baganda bange abasiraamu bonna obulungamu, n'okulunngamizibwa, n'okukoma ku bikomo n'ensalosalo z'amateeka ge, atwewaze ebyo byonna byeyaziza era atwekese okukola ebibi, kubanga ye yemukuumi asinga abakuumi bonna era yemusaasizi asinga yo.'

OKUGATTA ALLAH N'EKINTU EKIRALA (SHIRIK)

Shirik, kyekizizo era ezambi erisinga obunene muzambi gonna, olwa Hadiith ya Abi Bakara yagamba:

قال رسول الله صلى الله عليه وسلم : " ألا أنبئكم بأكبر الكبائر (ثلاثا) قالوا: قلنا بلى يا رسول الله، قال: الإشراك بالله.. متفق عليه البخاري / رقم 2344 ط. البغا) وكل ذنب يمكن أن يغفره الله إلا الشرك فلا بد له من توبة مخصوصة

Yagamba mubaka wa Allah (s.a.w) “ Abange mbabuulire amazambi agasinga obunene (emirundi esatu) netumugamba nti ye owange gwe omubaka wa Allah nagamba nti: Okugatta ku Allah ekintu ekirala kyonna…"

Buli zambi lyonna Allah ayinza okulisonyiwa bw'abanga ayagadde, okujjako shirik ye asonyiyibwa na kwenenya okweyawulidde. Kyova olaba nti Allah owekitiibwa yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ ﮢ ﮣ ﮤ ﮥ ﮦ ﮧ ﮨ ﮩ ﮪ ﮫ ﮬ ﮭ ﮮﮯ ﯘ ﭼ النساء: ٤٨

{Mazima Allah tayinza kusonyiwa oyo amugatta nebintu ebirala, naye asonyiwa kyonna ekitali ekyo kwoyo gw'ayagala}

Era nga Shirik alimu omuteeko omunene ogujja omuntu mubusiraamu, era amufiirako wakuyingizibwa mumuliro obugenderevu.

Nga n'obumu kubonero bwa Shirik oyo obusaasanye mawanga g'abasiraamu mulimu:

Okusinza entaana, n'okukkiriza nti ba waliyy abaafa bakumalira ekyetaago, oba obuzibu, oba okukuyamba, oba okubakowoola mu mbeera yonna. Allah yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ ﮗ ﮘ ﮙ ﮚ ﮛ ﮜ ﮱ الإسراء:

{Yasalawo mukama wo nti: Temusinza nga omulala yenna wabula ye yekka (gwe muba musinza)}.

Nabwekityo era mulimu okusaba abafu muba Nabbi, n'abalongoofu oba abalala okuwolerezebwa, oba okubajja mubuzibu. Allah yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ ﯘ ﯙ ﯚ ﯛ ﯜ ﯝ ﯞ ﯟ ﯠ ﯡ ﯣ ﯤ ﯥ ﯧ ﯨ ﯩ ﯪ النمل:

{Oyo ayanukula ali mukabi bwaba nga amusabye naggyawo akabi, n'abafuula (mmwe abantu) abasigire mu nsi? Abaffe. Waliwo Omusinzibwa omulala ali awamu ne Allah (omutonzi) kitono nyo kyebajjukira}.

Ate abalala bafuula okuyita erinnya lya Sheikh we oba waliyyi enkola eyabulijjo (egobererwa) era eddiini ye kweyesigamira bwaba nga ayimiridde oba nga atudde, era nga buli lwafuna obuzibu oba omutawaana gwonna omu agamba nti owange Muhammad, ate omulala owange Ali, ate omulala owange Hussein, ate omulala owange Buuthi, ate omulala owange Jailaan, ate omulala owange Shadhiry,ate omulala owange Rifaa'ie, ate omulala akowoola Al-uyadiruus, ate omulala akowoola owekitiibwa Zainab, ate oli ye akowoola Abun Aul'waan. Allah yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ ﯞ ﯟ ﯠ ﯡ ﯢ ﯣ ﯤ ﯥ ﯧ ﯨ ﯩ ﯪ ﯫ ﯬ ﯭ الأعراف:

{Mazima abo be musaba abatali Allah omutonzi nabo baddu ba (Allah) okufaanana nga mmwe. Kale mubasabe babaanukule, bwe mubeera abamazima}.

Abamu ku basinza entaana bazetoloola ne bakwaata ku nsonda zaayo nga bwe besiimuula ssaako okuzinywegera, nokukulukuunya ebyenyi byabwe kuttaka lyazo n'okuzivunnamira, era nebayimirira mu maaso gaazo nga bakakkamu, beetowaze, bagonvu, nga basaba ebyetaago byabwe nga okusaba okuwonyezebwa obulwadde, oba okusaba ezadde, okwanguyizibwa ensonga, oluusi akowoola nannyini ntaana nti owange mukama wange okujja wano nvudde mukindu kyawala tonjiwa, Allah yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ ﯫ ﯬ ﯭ ﯮ ﯯ ﯰ ﯱ ﯲ ﯳ ﯴ ﯵ ﯶ ﯷ ﯸ ﯹ ﯺ ﯻ ﯼ ﯽ الأحقاف:

{Ani asinga obubuze okusinga omuntu oyo asaba ebitali Allah? Oyo atasobola kumwanukula okutuusa kulunaku lw'okuyimirira (mu maaso ga Allah lwe luyimirirawo) nabo (abo bebasaba) nga bagayaavu tebategeera kusaba kwabwe}

Ne Nabbi (s.a.w) yagamba:

" من مات وهو يدعو من دون الله ندا دخل النار" روه البخاري الفتح176 /8

(Omuntu yenna afa nga agatta ku Allah ne kintu ekirala ayingira omuliro)

Ate balala basalira enviiri zabwe ku ntaana, abamu bawandiika ku ntaana ebintu ebyenjawulo okugeza nga “Emikolo gya hijja mashaahid" nga mashaahid bategeezaamu ntaana, nga nezisinga ekizo muzo ze zaba waliyy ate abamu bakkiririza mukyokuba nti ba waliyy bakola kyonna kyebaba baagadde munsi, era nti bakosa oba nebagasa. Allah yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ ﭑ ﭒ ﭓ ﭔ ﭕ ﭖ ﭗ ﭘ ﭙ ﭛ ﭜ ﭝ ﭞ ﭟ ﭠ يونس:

{Bwaba Allah nga akutuusizzaako akabi tewali akaggyawo wabula ye, era bw'aba nga akwagalizza obulubgi tewali azzaayo birungi bye….}

Era mu shirik mulimu okwetema engalike kulwebilala ebitali Allah nga abangi kubasinza entaana bwebakola.

Era kubumu kububonero bwa shirik omunene kwekusalira ebilala ebitali Allah, songa ate Allah yatugamba nti:

ﭧ ﭨ ﭽ ﮊ ﮋ ﮌ ﮍ الكوثر:

{Kale saala ku lwa mukama wo (Esswala ettaano) osale ne saddaaka (Dhuhiya ku idd enkulu)}. Nekiba nga kitegeeza nti okusala kulina kolebwa kulwa Allah.

Nabbi (s.a.w) yagamba:

" لعن الله من ذبح لغير الله" رواه مسلم في صحيحه رقم 1978 ط. عبد الباقي

“ Allah yakolimira (yagoba mukusaasira kwe) oyo yenna asalira ebitali Alla". Era nga ekintu ekisaliddwa kisobola okubeeramu emizizo gyamirungi ebibi okusalira ekitali Allah, n'okusala nga toyogedde linnya lye, ekisaliddwa mwemu kumbeera ezo ebbiri tekikkirizibwa kuliibwa. Era nga ezimu kunsala zo mujahirijja ezikyaase ennyo ensangi zino, kwekusalira amageege (amajinni) nga nakwo kwekuba nti bwebaagula nga ennyumba, oba nebajezimbira, oba nebasima oluzzi, baasaliranga wo ekisolo olwokutya akabi akava eri amageege (amajinni).

Era ebimu ku byokulabirako ebya shirik omunene eby'amaanyi kwe kukkiriza (okufuula halaal) ekyo Allah kye yaziza, oba okuziza ekyo Allah kye yakkiriza, oba okukakasa mumutima nti waliwo omuntu omulala yenna alina obuyinza kwekyo atali Allah, oba okwelamuza namakooti agatambulira kumateeka abantu gebeteerawo (eri abo abalina obusobozi bwokulamuza Sharia) nga bakikola mukwesiimira n'okwesalira wo, n'okukkiriza mumutima nti ekyo kikkirizibwa, ate nga Allah yayogera ku bukafiiri obwo obunene nagamba:

ﭧ ﭨ ( اتَّخَذُوا أَحْبَارَهُمْ وَرُهْبَانَهُمْ أَرْبَابًا مِنْ دُونِ اللَّهِ وَالْمَسِيحَ ابْنَ مَرْيَمَ وَمَا أُمِرُوا إِلَّا لِيَعْبُدُوا إِلَهًا وَاحِدًا لَا إِلَهَ إِلَّا هُوَ سُبْحَانَهُ عَمَّا يُشْرِكُونَ ) التوبة: ٣١

{Baafuula bakabona baabwe n'abasosodooti baabwe okuba bakatonda atali Allah oyo (oli omu omulezi era omutonzi)….}.

Era bweyawulira Adiyy bun Haatim omubaka wa Allah nga asoma a'ya eyo (waggulu) yagamba naye baali tebabasiinza, nagamba nti: Naye ate baalinga babakkirizisa ebyo Allah byeyaziyiza nabo nebabikkiriza, era nebabaziyizaako ebyo ate Allah bye yakkiriza nabo nebabiziza, era okwo kwekubasiinza kwabwe.

Allah yayogera ku ba shiriku nagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ وَقَالَتِ الْيَهُودُ عُزَيْرٌ ابْنُ اللَّهِ وَقَالَتِ النَّصَارَى الْمَسِيحُ ابْنُ اللَّهِ ذَلِكَ قَوْلُهُمْ بِأَفْوَاهِهِمْ يُضَاهِئُونَ قَوْلَ الَّذِينَ كَفَرُوا مِنْ قَبْلُ قَاتَلَهُمُ اللَّهُ أَنَّى يُؤْفَكُونَ التوبة: ٢٩

{Era nebataziza ebyo byeyaziza Allah, n'omubaka we, ne batagoberera ddiini ey'amazima…}

Era Allah nagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ قُلْ أَرَأَيْتُمْ مَا أَنْزَلَ اللَّهُ لَكُمْ مِنْ رِزْقٍ فَجَعَلْتُمْ مِنْهُ حَرَامًا وَحَلَالًا قُلْ آللَّهُ أَذِنَ لَكُمْ أَمْ عَلَى اللَّهِ تَفْتَرُونَ يونس: ٥٩

{Bagambe nti mulaba mutya ebyo Allah bye yabassiza (ebyokulya eby'okubabeezawo) ate ne mufuula ebimu mu byo ebizira n'ebirala ebikkirizibwa? Bagambe nti Allah ye yabakkiriza oba mugunjawo obulimba ku Allah?}

Negimu kumiteeko gya Shirik emyatikirivu, Eddogo, Okulagula, nokusawula

* Lyo eddogo tewali kubuusabuusa nti bukafiiri bwennyini, era nga limu ku mazambi amanene omusaanvu gannamuzisa, teririna kalungi konna okujjako okukosa, Allah owekitiibwa yayogera kukuliyiga nagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ ﮉ ﮊ ﮋ ﮌ ﮍ البقرة:

{Ne bayiga ebyo ebibaleetere akabi sso si kubaganyula}

Era Allah nagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ ﮅ ﮆ ﮇ ﮈ ﮉ ﮊ طه:

{Omulogo tageenda kwesiima (kulokoka) wonna w'abeera}.

N'olwekyo omuntu yenna akola eddogo mukaafiiri, Allah yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ ﭙ ﭚ ﭛ ﭜ ﭝ ﭞ ﭟ ﭠ ﭡ ﭢ ﭣ ﭤ ﭥ ﭦ ﭧ ﭨ ﭪ ﭫ ﭬ ﭭ ﭮ ﭯ ﭰ ﭱ ﭲ ﭳ ﭴ البقرة:

{Mazima Sulaiman teyakaafuwala, naye sitaane ze zaakaafuwala, nga ziyigiriza abantu eddogo, nebyo ebyassibwa ku bamalayika ababiri abaali e Baabiira (Babuloni) Haaruuta ne Maaruuta, wabula (bamalayika abo bombiriri) tebayigiriza nga muntu n'omu nga tebamutegeezezza nti: Ffe tuli kikemo n'olwekyo tokaafuwala… }

Okulamula kw'obusiraamu ku mulogo kuttibwa, era ebibala ebivaamu bikyafu byaziyizibwa, naye ababuyabuya, n'abalyazamaanyi, nabanafu bobukkiriza bagenda eri abalogo okubakolera eddogo balumbagane nalyo eri abantu, oba bawoolere nalyo eggwanga. Ne mubantu mulimu abagwa muzambi lino olwokugenda ewomulogo alibajjeko (eddogo) songa ate ekibakakatako kwe kudda eri Allah n'okwejjanjabisa ebigambo bye nga essuula ezikozesebwa mukwekingiriza (Mu awithaat)

Ate omulaguzi nomusamize naba bombiriri baakaafuwalira Allah owekitiibwa olwo kwefuula abamanyi ebyekweese ebitalabika, songa tewali n'omu amanyi byekweese okujjako Allah yekka, bangi mubantu abo bakozesa obukujjukujju okufuna sente, namakubo agenjawulo agekiraguzi bwebateeba ekituufu omulundi gumu balimba emirundi kyenda mu mwenda (99) naye bbo abagayaavu tebajjukkira okujjako omulundi gumu gwebateebye ekituufu, abalimba abo abantu bagenda jebali bababuulire ebinaabatuukako mu maaso gyebujja, n'okwagala okumanya abaffe ba kwesiima oba bakufafaaganirwa mubintu ebyenjawulo nga mubufumbo mubusuubuzi, n'okunoonya ebintu ebiba bibuze nebirala. Omuntu yenna agenda gyebali nakakasa byebamugambye nti bituufu alamulwa okuba nti naye mukaafiiri avudde mubusiraamu, obujulizi kwekyo kyegigambo kya Nabbi (s.a.w) ekigamba nti:

"من أتى كاهنا أو عرافا, فصدقه بما يقول فقد كفر بما أنزل على محمد صلى الله عليه وسلم" رواه الإمام أحمد 2\429 وهو في صحيح الجامع 5939

“Omuntu yenna agenda eri omulaguzi, nakakasa byamugambye, aba akafuwalidde ebyo ebyassibya ku Muhammad (s.a.w)"

Naye singa omuntu agenda gyebali natakakasa nti byebogera bituufu, wabula mumbeera yakugezesa kulaba byebakola, oyo ye takaafuwala wabula esswala ze tezikkirizibwa okumala ennaku makumi ana (40) n'ebiro byakwo. Obujulizi kwekyo kyekigambo kya Nabbi (s.a.w) ekigamba:

"من أتى عرافا فسأله عن شيء, لم تقبل له صلاة أربعين ليلة" صحيح مسلم 4\1751

“Omuntu yenna agenda eri omulaguzi n'amubuuza ekintu kyonna esswala ze tezikkirizibwa okumala ebiro makumi ana". Songa akakakwaako okuzisaala n'okwenenya.

OKUKKIRIZA NTI OKUKYUKAKYUKA KWE MMUNYENYE KWEKUSINZIRWAKO EBIGWA WO MUNSI NE MUBULAMU BW'ABANTU

Hadiith nga eva ku Zaid bun Khalid Al Juhani yagamba:

"صلى لنا رسول الله صلى الله عليه وسلم صلاة الصبح بالحديبية- على أثر سماء كانت من الليلة- فلما انصرف أقبل على الناس فقال: هل تدرون ماذا قال ربكم ؟ قالوا الله ورسوله أعلم, قال: أصبح من عبادي مؤمن بي وكافر بي, فأما من قال مطرنا بفضل الله ورحمته فذلك مؤمن بي وكافر بالكوكب, وأما من قال بنوء كذا وكذا فذلك كافر بي ومؤمن بالكوكب" رواه البخاري انظر في فتح الباري 2\333 .

“Yatusaaza omubaka wa Allah (s.a.w) esswala ya Subuhi ehudayibiyya – nga obudde bukyakunidde- naye bweyamaliriza okusaaza, yakyuka natunuulira abantu nabagamba, abange mumanyi Allah kyagambye? Ne bamugamba nti Allah n'omubaka we bebamanyi, nagamba: Bukesezza nga abamu mubaddu bange bakkiriza gyendi ate abalala nga bakaafiiri (bawakanyi) gyendi, wabula oyo yenna agamba nti: Enkuba etonye kulwa bulungi bwa Allah (gyetuli), oyo mukkiriza gyendi, mukafiiri eri emmunyenye, ate ye agamba nti ekuba etonye kulwakino nakino, mukaafiiri gyendi, mukkiriza eri emmunyenye" hadiith eri mu swahiih bukhaal.

*Era mwebyo muzingiramu abasoma obubokisi bwemyeso bwebayita obwemikisa obubeera mumawulire, nemu butabo (magazini), singa omuntu akkiririza nti okukyukakyuka kwemmunyenye n'obwengula byebisinzirwako ebyo byonna ebigwaawo munsi nga ebizibu oba emikisa, omuntu oyo aba Mushiriku, naye bwabisoma mumbeera eyokumanya ebibikwatako, aba mujeemu, era afuna omusango, kubanga tekikkirizibwa muntu kuyiga nakumanya Shirik, kuba sitaani eyinza okumuletera endowooza enkyamu nerifuuka ekkubo eri mutwala eri Shirik.

*Era ebimu kubyokulabirako bya shirik, ye muntu okukkiriza mukuganyulwa mu bintu ebyo Allah bya tassaamu mugaso ogwo, nga abantu abamu bakkiririza mubifundikwa ebyashirik negimu ku miteeko gya yirizi n'ebirala ebiringa ebyo abalogo byebakozesa.

Byebabawa nebabiwanika mumayumba gabwe, oba mubidduka byabwe, oba kubaana baabwe, ate abalala bambala empeta nga zikoleddwa mumbeera eyenjawulo nebyomubulago bambi nga balowooza nti birina kyebiyinza okubayamba okugeza nga okutangira ebizibu, oba oku bibajjako, songa ate ekyo tewali kubuusabuusa nti kigyawo okwe sigamira eri Allah owekitiibwa nannyini buyinza kubuli kintu, era nga ebintu ebyo tebirina kyebyongera kumuntu okujjako obunyomoofu, nokuba nti yejjanjabisizza nebintu ebyaziyizibwa, Ebifundikwa ebyo abanji byebesiba aba shirik yennyini, nokweyambisa amajini ne zisitaane, nokuwandiika ennukuta ezitalabika bulungi, nebigmbo ebitategerekeka amakulu, ate bbo abalaguzi abamu bawandiika a'yaat okuva mu Qur'aan nebazitabikamu ebigambo ebirala ebye kishiriku, ate abalala bawandiika a'yaat za Qur'aan n'ebintu ebikyaafu, oba n'omusaayi gwa Heyidh (oguva mubakyala nga bali munsonga), okwesiba ebintu ebyo byonna ebyogeddwako waggulu kizira (tekikkirizibwa) olwekigambo kya Nabbi (s.a.w) ekigamba nti:

" من علق تميمة فقد أشرك" رواه أحمد 4\156 وهو في السلسلة الصحيح رقم 492

“Oyo yenna eyesiba eyirizi aba agasse Allah nekintu ekirala"

Akola ebintu ebyo singa akkiriza nti birina kyebisobola okkola nga Allah takkiriza aba mushiriku ne shirik omunene, ate singa akakasa nti byo nsonga eviraako okuganyulwa, oba okukosebwa, aba mushiriku ne shirik omutono, era nga Allah tabifuulangako nsonga oba makubo agayitwamu okutuuka kubigendererwa, kalenno kyava abeera shirik omutono era nga ayingira mumuteeko gwa shirik ow'ensonga.

OKKOLA IBAADAT OLWAKABANDABE

Obumu ku bukwakkulizo bw'omulimu gwonna omulungi, kwe kuba nti gukoleddwa kulwa Allah yekka, nga teguliimu kabandabe yenna, era nga gukwatagana bulungi n'enjiriza ya Nabbi (s.a.w). era omuntu akola omulimu gwonna olw'okwagala abantu bamulabe abeera mushiriku omulimu gwe ogwo guba mufu, nga omuntu okusaala olwakabandabe. Allah yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ ﭸ ﭹ ﭺ ﭻ ﭼ ﭽ ﭾ ﭿ ﮀ ﮁ ﮂ ﮃ ﮄ ﮅ ﮆ ﮇ ﮈ ﮉ ﮊ ﮋ النساء: ١٤٢

{Mazima abannanfuusi bakwenyakwenya Allah, wabula naye wa kubakwenyakwenya. Bwe baba ngabayimiridde okusaala; bayimirira nga bagayaavu lwa kweraga bantu, era tebayogera ku Allah okujjako katono nnyo}.

Nabwekityo bwakola omulimu olwokwagala amawulire gasaasaane era gawulirwe mu bantu, aba agudde mu shirik, songa Allah yalagaanyisa ekibonerezo ekya maanyi eri abakola bwebatyo, nga bwekiri mu Hadiith ya Ibn Abbaasi nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

" من سمع سمع الله به , ومن راءى راءى الله به " رواه مسلم 4\2289

“ Omuntu yenna aluubirira okumuwulira, Allah amuwuliza, naluubirira, bamulabe Allah amulabisa"

N'oyo yenna akola ibaada nga kulwa Allah wamu n'abantu naye omulimugwe gusazibwamu, nga bwekyajja mu Hadiith Al qudus:

"أنا أغنى الشركاء عن الشرك, من عمل عملا أشرك فيه معي غيري تركته وشركه" رواه مسلم رقم 2985

“Nze ndi mugagga sirina bwetaavu bwa kungatta ko, oyo yenna akola omulimu nangattako mugwo ekintu ekirala kyonna ngumulekera nekyo kyabangasseeko……."

Na yenna atandika omulimu kulwa Allah naye oluvannyuma nafunamu kabandabe, singa akitamwa nakirwanyisa nakyejjamu, omulimu gwe guba mutuufu, naye singa akireka omutima gwe negukisirikira, abamanyi abasiinga obungi bagamba nti omulimu gwe guba mufu.

OKWELAGUZA

Nga nakwo kwekubaako omuntu oba ekintu ekirala kyewekyasa nti kyekivuddeko embeera etuuseewo atali Allah.

Allah yagamba:

ﭧ ﭨ فَإِذَا جَآءَتۡهُمُ ٱلۡحَسَنَةُ قَالُواْ لَنَا هَٰذِهِۦۖ وَإِن تُصِبۡهُمۡ سَيِّئَةٞ يَطَّيَّرُواْ بِمُوسَىٰ وَمَن مَّعَهُۥٓۗ أَلَآ إِنَّمَا طَٰٓئِرُهُمۡ عِندَ ٱللَّهِ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ الأعراف: ١٣١

{(Bwe batyo bwe baali nga) bwe buba nga bubajjidde obulungi, bagamba nti: kyaffe kino (tukakatirwako okukifuna); (naye) bwe kaba nga kabatuuseko akabenje, nga bekokkola Musa n'abo abaali awamu naye…}

Abawalabu yali nkola yabwe nga omu kubo bwayagala ensonga yonna okugeza nga okutambula olugendo, akwata ekinyonyi kye nakisindika, nga bwekikwaata ku ludda olwa ddyo, agenda mu maaso nensonga ye oba n'olugende lwe, wabula singa kikwaata ku ludda olwa kkono, yelaguza era nabisazaamu byabadde agenda ko, Nabbi (s.a.w) yannyonnyola okulamula kwoyo akola ekyo nagamba nti:

" الطيرة شرك" رواه الإمام أحمد 1\389 وهو في صحيح الجامع 3955.

“ Okwelaguza shirik"

Era ebimu ebiyingira mu nzikiriza eyo enkyamu eyaziyizibwa, olwokumenyawo Tawuhiid, kwe kwelaguza n'emyezi okugeza nga okulekayo okuwasa mu mwezi gwa muharram, nezimu ku naku nga okukkiriza nti olunaku lwokusatu olusemba mu buli mwezi luba lwa bizibu, oba ezimu ku namba nga eye 13, oba agamu ku mannya, oba abantu abalina obulemu, okugeza nga oli bwajja okuggulawo edduuka lwe nalaba oweriiso erimu (owettulu), neyelaguza naye naleka kyabadde agendako naddayo, nebirala ebigwa mukkowe eryo, ebintu ebyo byonna tebikkirizibwa byaziyizibwa, era nga kuba kugatta Allah nekintu ekirala. Abantu abafaanaana bwebatyo Nabbi (s.a.w) yabeesamba nga bwekiri mu Hadiith ya Umuraan bun Huswain yagamba:

" ليس منا من تطير ولا تطير له, ولا تكهن ولا تكهن له"

“Siwamuffe oyo yenna eyelaguza, songa bweyelaguza tajja kubifuna……………"

Omuntu yenna agwa mukimu kwebyo omutango gwalina okuwa gwakwenenyeza Allah owekitiibwa amusonyiwe n'okulekayo ebyo byonna byadde akola.

Kiri mubutonde omuntu okubaako kyeyekwasa nga waliwo ekigudde wo oba ekimutuuseko, kirinnya nekikka, nga neddagala erisinga okujanjaba embeera eno kwe kwesigamira Allah owekitiibwa nga bwekiri mubigambo kya Ibn Masuud yagamba: Tewali n'omu muffe okujjako nga afuna embeera eyo mumutima gwe, wabula Allah agimujjirawo nakumwesigamira.

OKULAYIRA EKITALI ALLAH

Allah owekitiibwa alayira kyonna kyaba ayagadde mubitonde bye, wabula ye omutonde takkirizibwa kulayira kintu kirala kyonna okujjako Allah, ebimu kubiyitira ku nnimi z'abantu abasinga obungi kwe kulayira ebitali Allah, songa ate okulayira kulimu okugulumiza ekyo ekirayiddwa kalenno tekigwanidde kolerwa kitali Allah. Hadiith nga eva ku Ibn Umar nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

ألا إن الله ينهاكم أن تحلفوا بآبائكم من كان حالفا فليحلف بالله أو ليصمت"

رواه البخاري انظر الفتح 11\530

“Abange mazima Allah abagaana okulayira bakadde bammwe, oyo yenna abanga alayira alayiranga Allah oba asirike"

Ate mu hadiith endala nagamba:

" من حلف بغير الله فقد أشرك" رواه الإمام أحمد 2\250 انظر صحيح الجامع 6204

“Oyo yenna alayira ekitali Allah aba agasse Allah nekintu ekirala"

Tekikkirizibwa kulayira kintu kyonna okugeza nga Kaaba, amazima, ekitiibwa, okuyambibwa, oba emikisa gyagundi, oba obulamu, wadde ekitiibwa kya Nabbi (s.a.w), oba ekitiibwa kya waliyyi, oba ba maama ne ba taata, oba abaana. Ebyo byonna tetukkirizibwa kubirayira, era omuntu yenna agwa mu kimu kubyo awa omutango gwa kugamba nti; “Laa ilaaha Illa Allah" nga bwekyajja mu hadiith entuufu nti:

" من حلف فقال في حلفه باللات والعزى فليقل لا إله إلا الله" رواه البخاري فتح 11\536

“ Omuntu yenna alayira nagamba nti Kulwa Allaat, ne al Uzzah, agambe nga Laa ilaaha Illa Allah" (Tewali asinzibwa okujjako Allah)

Waliwo nebigambo ebirala ebyekishiriku ebyaziyizibwa ebiyita ku nimi z'abasiraamu bangi ensangi zino era bino byebimu kubyo: Newogona eri Allah neri gwe, nze nesigamidde Allah naawe, ekyo kiva eri Allah naawe, Sirina mulala okujjako Allah naawe, Muggulu ninayo Allah ate kunsi gwe, taba kuba Allah negundi, nze ndiwala n'obusiraamu, mwaka gwe omubi, (nabuli njogera yonna ekozesebwa okuvuma omwaka, zonna nkyamu kubanga okuvuma omwaka kudda eri Allah owekitiibwa). Okwo ssaako Amannya gonna agakozesebwa okusinza ebitali Allah, nga: Abdul al masiih, Abdul nabbi, Abdul rasuul, Abdul al hussein.

N'ezimu kunjogera empya ezawukana ne tawuhiid, obwegassi bwobusiraamu, dimokulasiya w'obusiraamu, okukulembera abantu mukukulembera kwa Allah, eddiini ya Allah ate ensi yabonna.

Era ebimu kubyaziyizibwa okuyita omuntu nti “ Kababa wa bakabaka'', nabuli kyonna ekikifaanana okugeza nga, Sabalamuzi wabalamuzi, Okuyita omunnanfusi oba omukafiiri nti Mukama wange (sayyid) ssi nsonga muluwalabu oba mululimi olulala lwonna, nga era bwekitakkirizibwa kukozesa ekigambo “Singa" mumbeera eyokwejjusa oba okwekubagiza, kubanga ekyo kiggulawo omulyango gya sitaani, oba okugamba nti “Ayi Allah nsonyiwa bwoba oyagala"

OKUTUULA AWAMU N'ABANNAANFUUSI OBA ABONOONEFU NGA OBABEESABEESA OBA BBO OKKUBEESABEESA

Abantu abasinga obungi abataatebenkera bukkiriza bwabwe mumitima gyabwe basalawo okutuula n'abantu abakyamu, abonoonefu, songa oluusi abamu kubo bavumirira n'okutyoboola amateeka ga Allah, saako okujjeeja eddiini ye wamu ne mikwaano gye, songa tewali kubuusabuusa nti ekyo kyaziyizibwa era kikosa enzikiriza y'omuntu,. Allah yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ ﯷ ﯸ ﯹ ﯺ ﯻ ﯼ ﯽ ﯾ ﯿ ﰀ ﰁ ﰂ ﰃ ﰅ ﰆ ﰇ ﰈ ﰉ ﰊ ﰋ ﰌ ﰍ ﰎ ﰏ الأنعام:

{Bw'oba nga olabye abo abatandika okuyingira mu (kulimbisa) ebigambo byaffe, yawukananga kubo okutuusa lwe batandika okuyingira mu kunyumya (ebilala) ebitali ebyo. Naye bwabanga akwerabizza sitaane (n'otuula) totuulanga oluvannyuma lw'okujjukira, awamu n'ekibinja ekiryazaamaanyi}.

N'olwekyo tekikkirizibwa kutuula nabo mumbeera eno, newakkubadde oyagala okubeera okumpi nabo, oba okuwangaala nabo, okujjako oyo agendereramu okubakowoola oba okubaanukula nokubalaga nti ekyo kyebakola kikyaamu, wabula si kubasiima oba okusirika. Allah yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ ﮍ ﮎ ﮏ ﮐ ﮑ ﮒ ﮓ ﮔ ﮕ ﮖ ﮗ التوبة:

{Wadde ne bwe mubasiima, mazima ye Allah tasiima kibiina kya boonoonyi}.

OBUTATEBENKERA MU SSWALA

Egimu ku misango egisinga obunene mu bubbi, bwe bubbi mu sswala, Nabbi (s.a.w) yagamba:

" أسوء الناس سرقة الذي يسرق من صلاته قالوا يا رسول الله, وكيف يسرق من صلاته, قال لا يتم ركوعها ولا سجودها" رواه الإمام أحمد 5\310 , وهو في صحيح الجامع 997

“Omuntu asinga okuba omubbi omubi y'oyo abba mu sswala ye, nebagamba owange gwe omubaka wa Allah, butya omuntu bwayinza okubba bu sswala ye? Nagamba: singa tatuukiriza nkutama yaayo, oba nvunnama yaayo".

Nabwekityo singa omuntu aleka okutebenkera mu swala, oba obutatebenkeza mugongo nga ali kumaviivi oba nga avunnamye (wansi ku sujuud), oba obutayimirira nga avudde ku maviivi, n'obutatereera mulutuula oluli wakati wa envunnama ebbiri, Ebyo byonna byatikirivu era birabwa mubasaaze bangi nyo, okutuuka okuba nti kizibu nnyo okusanga omuzikiti nga teguliimu bantu b'asaala nga sibatebenkevu muswala zabwe, songa okutebenkera mpagi muswala era nga tetuuka okujjako nga etuukiriziddwa. Nabbi (s.a.w) yagamba:

" لا تجزء صلاة الرجل حتى يقيم ظهره في الركوع والسجود" رواه أبو داود 1\533 وهو في صحيح الجامع 7223

“Omuntu tafuna mpeera mu swala ye okutuusa nga atereezezza omugongo gwe nga akutamye kumaviivi nenga avunnamye wansi"

Ekyo kiraga nti ekikolwa ekyo kinene era akikola asanidde okugambwako n'okutiisibwa,

Hadiith nga eva ku Abu Musa Al Ashi-ary, yagamba:

" صلى رسول الله صلى الله عليه وسلم بأصحابه ثم جلس في طائفة منهم فدخل رجل فقام يصلي فجعل يركع وينقر في سجوده فقال النبي صلى الله عليه وسلم أرترون هذا؟ من مات على هذا مات على غير ملة محمد ينقر صلاته كما ينقر الغراب الدم, إنما مثل الذي يركع وينقر في سجوده كالجائع لا يأكل إلا التمر والتمرتين فماذا تغنيان عنه" رواه ابن خزيمة في صحيحه 1\332 , وانظر صفة صلاة النبي للألباني 131 .

“Omubaka wa Allah yasaaza ba swahaaba be, oluvannyuma natuula mu bamu kubo omusajja omu kyava ayingira natandika okusaala, n'avunnama ku maviivi nekuttaka mumbeera eyokubojjawo obubojji, Nabbi (s.a.w) kyava agamba nti mu mulaba oyo? Oyo yenna afiira kumbeera eyo afa nga tali kunzikiriza ya Muhammad, abojjerera eswala ye nga namungoona bwebojja omusaayi, mazima omuntu alinga oyo avunnama kumaviivi nga bwabojja kuttaka alinga omuyala alya entende emu oba bbiri, kiki kyezimuyamba".

Hadiith endala nga eva ku Zaid bun wahab yagamba:

" رأى حذيفة رجلا لايتم الركوع والسجود فقال: ما صليت ولو مت, مت على غير الفطرة التى فطر الله محمد صلى الله عليه وسلم" رواه البخاري انظر الفتح 2\274

“ Huthaifa yalaba omusajja nga tatuukiriza kuvunnama kumaviiri ne kuttaka bulungi, namugamba nti: Tonnasaala, ate singa ofiira kumbeera eyo, ofa nga toli (kububumbwa) kunkola Allah gyeyatumirako Nabbi Muhammadi(s.a.w).

Nabwekityo kigwanidde eri buli muntu aba alese obutebenkevu mu swala bwakimanya addemu asaale eswala eyekiseera ekyo kyalimu, era yegayirire Allah okumusonyiwa ku swala ezo ezayita kuba tekimukakatako kuziddamu era nga hadiith ya Aruja-a bwekirambika “damu osaale kubanga mazima ddala tonnasaala".

OKUZANNYA N'OKWENYENYA OKUSUKKIRIDDE MU SWALA

Ensobi eno eyokuzannya no kwenyenya nyenya owatali ensonga mu swala, abantu abatono nnyo abawona okujigwamu olwokuba nti tebatuukiriza teeka lya Allah erigamba nti:

ﭧ ﭨ ﭽ ﭑ ﭒ ﭓ ﭔ ﭕ ﭖ ﭗ ﭘ ﭙ البقرة: ٢٣٨

{Mwekuume okuyimirizaawo esswala (zonna ettaano) n'esswala ey'omumakkati, era muyimirire (mu swala) ku lwa Allah nga musirise mwewombeese}.

Yadde okutegeera etteeka erigamba nti:

ﭧ ﭨ ﭽ قَدْ أَفْلَحَ الْمُؤْمِنُونَ (1) الَّذِينَ هُمْ فِي صَلَاتِهِمْ خَاشِعُونَ (2) وَالَّذِينَ هُمْ عَنِ اللَّغْوِ مُعْرِضُونَ المؤمنون: ١ - ٢

{Mazima ddala balokose Abakkiriza, abo bo mukusaala kwabwe (ababa) nga beewombeefu}.

Ne Nabbi (s.a.w) bweyabuuzibwa ku kusimuula ettaka wogenda okuvunnama yagamba nti:

" لا تمسح وأنت تصلى فإن كنت لا بد فاعلا فواحدة تسوية الحصى" رواه أبو داود1\581

“Tosimuulawo nga naawe osaala, wabula bwekiba nga otekeddwa okkikola kikole omulundi gumu naye nga ojjawo kayinja".

Abamanyi baffe baagamba nti okwenyenya okusukkiridde okwomuddirinnganwa awatali nsonga kutta esswala y'omuntu, kati butya kwabo abazannyira mu swala, nebayimirira mu maaso ga Allah nga omu kubo bwatunula ku ssaawa, oba nga atereeza olugoye lwe, oba nga bwasosola enjala zengalo, oba nga bwasokoola ennyindo, nga bwamagamaga kuddyo ne ku kkono, newaggulu, nga taliimu kutya kwonna nti amaaso ge gayinza okumujjibwako oba sitaane okujja omugabo gwayo mu swala ye.

OMUGOBEREZI OKUSOOKA IMAAM WE KUKIYUNGO KYONNA MUBUGENDEREVU NGA BA SAALA

Okwanguyiriza kyamu butonde bwa muntu Allah yagamba kunsonga eyo:

ﭧ ﭨ ﭽ وَيَدْعُ الْإِنْسَانُ بِالشَّرِّ دُعَاءَهُ بِالْخَيْرِ وَكَانَ الْإِنْسَانُ عَجُولً الإسراء: ١١

{Omuntu okuva ddi na ddi mwanguyiriza}.

Ate Nabbi (s.a.w) nagamba nti:

" التأني من الله والعجلة من الشيطان " رواه البيهقي في السنن الكبرى 10\104, وهو في السلسلة 1795

“Obukwatampola buva eri Allah, ate okwanguyiyiza kuva eri sitaane".

Naye emirundi mingi wesanga nti abantu bangi bwetuba nga tusaala bayanguyiriza nebasooka Imaam mukujjulukuka okuva kukiyungo ekimu okudda kukirala nga okugenda kumaviivi, okuvunnama wansi, oba nemukuleeta takibiirat, oluusi ne mukuleeta salaam, songa ekikola ekyo abangi kyebatassaako bilowoozo nga bakikola Nabbi (s.a.w) yakiraganyisaako ekibonerezo nagamba nti:

" أما يخشى من يرفع رأسه قبل الإمام أن يحول الله رأسه رأس حمار" رواه مسلم 1\320-321

“Abaffe talina kutya oyo asitula omutwe gwe olubereberye lwa Imaam, Allah okufuula omutwe gwe ogwendogoyi"

Bwaba nga omusaaze alagirwa okujja eri esswala nga mukakkamu kati ate butya musswala yennyini, ate abantu abamu batabika okusooka Imaam nokeerewa okumugoberera, nakerewa okugenda kukiyungo imaam kyagenzeko olwokutya okumusooka songa abamanyi ba Fiqh baakirambika bulungi nti omuntu alina okugoberera Imaam mangu ddaala nga yakamalayo takibiirat (Imaam bwagamba nti Allahu akibar eddoboozi nerisirika olwo omugoberezi nga naye agenda kukiyungo ekyo Imaam kyaba agenzeeko). So ssi mugoberezi kusooka Imaam oba okukeerewa okumogoberera. Era ne ba swahaaba ba Nabbi (s.a.w) baali bafaayo nyo okulaba nga tebasooka Nabbi mu swala wadde okkerewa okumugoberera, nga swahaaba ayitibwa Bara-a bun A'zib bwagamba nti: “baali ba saalira emabega wa Nabbi (s.a.w) naye bweyakutamulukukanga okuva kumaviivi navunnama wansi teri n'omu kubo yawetanga mugongo gwe kuvunnama okutuusa nga Nabbi amaze okussa ekyenyi kye wansi"

Nabwekityo Nabbi (s.a.w) bweyakulirira mu myaka yagenda nga mpola mukujjulukuka okuva kukiyungo ekimu okudda ku kirala , era nategeeza ba swahaba n'abangamba nti: “Abange mmwe abantu mazima nze nafuye mu mubiri naye temunsooka nga kumaviivi ne mukuvunnama wansi"

Era ne Imaam atekeddwa okugoberera sunnah nga asaaza nga bwekiri mu Hadiith ya Abi hurairat (Allah yasiima kuye) yagamba:

" كان رسول الله صلى الله عليه وسلم إذا قام إلى الصلاة يكبر حين يقوم, ثم يكبر حين يركع..... ثم يكبر حين يهوي ثم يكبر حين يرفع رأسه ثم يكبر ثم يكبر حين يسجد ثم يكبر حين يرفع رأسه ثم يفعل ذلك في الصلاة كلها حتى يقضيها ويكبر حين يقوم من الثنتين بعد الجلوس" رواه البخاري رقم 756 ط. البغا.

“Yalinga Nabbi (s.a.w) bwayimirira okusaala aleeta takibiirat nga ayimiridde, nenga agenda ku maviivi… nenga avaayo, nenga avunnama wansi, nenga avaawo, n'oluvannyuma nakola bwatyo musswala yonna okutuusa bwamaliriza okusaala, era naleeta takibiira nga ayimirira oluvannyuma lwokutuula wakati wa raka'a ebbiri".

Kati takibiira za Imaam bwezikwatagana era nezigoberera nebikolwa bye n'omugoberezi nagezaako okusaala nga bwetukinnyonnyodde waggulu ensonga yesswala ye Jama etereera.

OKUJJA KUMUZIKITI OKUSAALA NGA OLIDDE KATUNGULU KKYUMU, OBUTUNGULU, OBA EKINTU KYONNA EKIVAAMU OLUSU OLUTAMWA

Allah owekitiibwa yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ ۞يَٰبَنِيٓ ءَادَمَ خُذُواْ زِينَتَكُمۡ عِندَ كُلِّ مَسۡجِدٖ وَكُلُواْ وَٱشۡرَبُواْ وَلَا تُسۡرِفُوٓاْۚ إِنَّهُۥ لَا يُحِبُّ ٱلۡمُسۡرِفِينَ الأعراف: ٣١

{Abange abaana ba Adamu! Mutwalenga okwenyiriza kwammwe awali buli muzikiti….}

Hadiith nga eva ku Jaabir nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

" من أكل ثوما أو بصلا فليعتزلنا أو قال: قليعتزل مسجدنا واليقعد في بيته" رواه البخاري انظر الفتح 2\339

وفي رواية لمسلم " من أكل البص والثوم والكراث فلا يقربن مسجدنا فإن الملائكة تتأذى مما يتأذى منه بنو آدم" رواه مسلم 1\395

“Omuntu yenna alidde katungulu kkyumu oba obutungu (obubisi) atwesambe nga, oba yesambe nga omuzikiti gwaffe atuule munyumba ye" hadiith ya Bukhaar.

Ate munjogera eya Muslim: “Oyo yenna alidde obutungulu oba katungulu kkyumu ne karaath tasemberera nga omuzikiti gwaffe; kubanga bamalayika benyinyala ebyo abaana ba Adamu byebenyinyala".

Ne Umar bin Al khatwabi yagamba mu khutuba emu Mujuma nti:

" ثم إنكم أيها الناس تأكلون شجرتين لا أراهما إلا خبيثتين,هذا البصر الثوم لقد رأيت رسول الله صلى الله عليه وسلم إذا وجد ريحهما من الرجل في المسجد أمر به فأخرج إلى البقيع فمن أكلها فليمتهما طبخا" رواه مسلم 1\396 .

“Mazima ddala Abange bantu mmwe mulya emiti ebiri gyendaba nga giwunya bubi, obutungulu (obubisi) ne katungulu kkyumu, songa nze nalabira ddala omubaka (s.a.w) bweyawuliranga akasu kagyo mu musajja yenna mu muzikiti, yamulagiranga afulume agende ku baqe-ie, oyo yenna awulira nga alina okubulya attenga akusu kwabwo nokubufumba"

Omwo mutwaliramu abantu abayingira omuzikiti butereevu nga bakava kumirimu nga ensu ezitamwa zibavaamu munkwawa ne sitokisi zabwe, ate bwaba nga munywi wataaba ate awo negujabagira, nga alinga eyelabidde nti sigala takkirizibwa kunywebwa, bwoyingira omuzikiti nga ovaamu olusu olubi olutamwa onyiiza abaddu ba Allah bamalayika na basaaze.

OBWENZI

Obusiraamu olwokuba nti ebimu kubigendererwa byabwo ebikulu bwajja okukuuma ebitiibwa by'abantu n'endyo zaabwe yensonga lwaki bwaziyiza obwenzi. Allah yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ وَلَا تَقْرَبُوا الزِّنَا إِنَّهُ كَانَ فَاحِشَةً وَسَاءَ سَبِيلًا الإسراء: ٣٢

{Era temusembereranga obwenzi mazima bwo kyali kibi okuva ddi naddi, era ly'ekkubo erisinga obubi}.

Era amateeka gobusiraamu gaggala amakubo gonna agasobola okutuusa omuntu okugwa mubikolwa eby'obukaba nga okulagira abakyala okwambala hijaab, okukakkanya amaaso, okuziyiza okweyawula nomukyala atakuzira kuwasa nebirala.

N'omwenzi omufumbo abonerezebwa mungeri esinga okuba embi ennyo eyobunyomoofu nga nayo ye y'okumukuba amayinja ppaka lwafa asobole okkomba ku bubi bwekikolwa kye era buli kiyungo ku mubiri gwe kisobole okufuna omugabo gwakyo mukulumizibwa nga bwegwanyumirwa gwonna nga guli mukikolwa ekyaziyizibwa, ate ye omwenzi atali mufumbo ekibonerezo kye kumukuba embooko kikumi (100) beddu okwo saako okuswazibwa olwokubaawo kw'abajulizi mubakkiriza nga abonerezebwa, nokukakkanyizibwa nga awangangusibwa natwalibwa mukindu ekirala okumala omwaka mulamba.

Ate ekibonerezo ky'abeenzi abasajja n'abakazi muntaana bajja kuteekebwa mu tanuulu waggulu waayo nfunda nnyo ate wansi nga ngazi nga erimu omuliro ogwamanyi, bajja kuba muyo nga bali bukunya, omuliro bwegulikolezebwa bajja kukuba ebiwoobe nga baleekanira waggulu nnyo okutuusa okwagala okubajjamu, bwebatyo bwebagenda okuwangaala okutuusa ekiyaama lwekiyimirira wo.

Embeera yeyongera okuba embi singa omusajja akulirira mu myaka naye nga agenda mu maaso nebikolwa ebyo bwenzi, songa okukula kwe kuba kusemberera ntaana ye, naye nga Allah akyamulindikirizza. Hadiith nga eva ku Abi Hurairah nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

"ثلاثة لا يكلمهم الله يوم القيامة ولا يزكيهم ولا ينظر إليهم ولهم عذاب أليم: شيخ زان, وملك كذاب, وعائل مستكبر" رواه مسلم 1\102 -103

“Abantu ba biti bisatu Allah tagenda kwogera nabo kukiyaama, era tagenda kubatukuza, wadde okubatunulako era nga balina ebibonerezo ebiruma: Omwezi omukadde, omukulembeze omulimba, n'omwavu eyekuluntaza".

Era ne sente ezisingayo okuba embi zezo omuntu zafuna nga zivudde mubwenzi (obwamalaya). N'omukyala ajaajaamya obwereere bwe mubikola ebyobwenzi (okusaba kwe) edduwa ze Allah tazaanukula mukiseera emiryango gyeggulu wegiggulirwa mukiro muttuumbi. Obwaavu n'obwetaavu si nsonga ekuweesa olukusa olubeerera okutyoboola ebikomo n'ensalosalo z'amateeka ga Allah, kyova olaba nga abawalabu edda baalinanga akagero akagamba nti: “Omwana waboobwe lwakiri asiiba enjala naye nga talidde biva mumabeere gamukyala" kati ate butya kubiva mubwereere bwe.

Kumulembe gwaffe guno emiryango egyabuli kyabwonoonefu gyaggulwawo, sitaane neyanguya amakubo mweyisa enkwe zaayo nekwe za mikwano gyayo negobererwa abajeemu n'abonoonefu, nebusasaana obwononefu nokwejaajaamya, nekubuna okutwalira amaaso mungalo, nga abantu batunuulira ebyo ebyaziyizibwa, nekusasaana okwetabika wakati w'abasajja n'abakazi buli wamu, saako okufulumya bu magazini n'obutambi obujudde obwonoonefu, nabantu okuyitiriza okutambula munsi ez'obwonoonefu, nekuyitirira okutyoboola ebitiibwa by'abantu nokweyongera kwomuwendo gw'abaana ab'obwenzi, n'okujjamu embuto. Tusaba Allah atusaasire, atubikkirire, atuwonye embeera efaanana bwetyo, atukuze emitima gyaffe, akuume obwereere bwaffe era asse eggigi wakati waffe ne bintu bweyaziyiza.

EBISIYAGA

Omulembe gwa Nabbi Luutu (a.s.w) abantu bagwo baalina ekikolobero ky'abasajja okugaanza basajja bannaabwe, Allah yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ وَلُوطًا إِذْ قَالَ لِقَوْمِهِ إِنَّكُمْ لَتَأْتُونَ الْفَاحِشَةَ مَا سَبَقَكُمْ بِهَا مِنْ أَحَدٍ مِنَ الْعَالَمِينَ (28) أَئِنَّكُمْ لَتَأْتُونَ الرِّجَالَ وَتَقْطَعُونَ السَّبِيلَ وَتَأْتُونَ فِي نَادِيكُمُ الْمُنْكَرَ فَمَا كَانَ جَوَابَ قَوْمِهِ إِلَّا أَنْ قَالُوا ائْتِنَا بِعَذَابِ اللَّهِ إِنْ كُنْتَ مِنَ الصَّادِقِينَ العنكبوت: ٢٨ - ٢٩

{Era (jukira) ne (Nabbi) Luutu mu kiseera bwe yagamba ekibiina kye: Mazima mmwe mukola ekyobuwemu (ekyo eky'okusobya ku basajja) awatabanga muntu n'omu yabasooka ku kyo mubitonde (byonna)* Mazima mmwe mukola (ekyobuwemu) ku basajja ne muteega (abantu mu) makubo (okubatta n'okubanyaga) nemukola ebibi (ebyambyoone) munkungaana zammwe?..}

Olw'obubi nakabenje, n'obuwemu, bw'ezambi lino Allah yabonereza abo abaalyebagala n'ebibonerezo byamitendera gyamirundi ena, nga tabibonerezanga ko kibinja ky'abantu kirala kyonna nabyo. Nga nabyo: Allah yabatundulamu amaaso, n'afuula ensi ebibadde waggulu waayo nebidda wansi waayo, nagitonnyesaako amayinja agomu bbumba ejjokye agafukumuka, n'abasindikira embuyaga eyamaanyi.

Ate mu sharia yaffe (ekigambo ekisinga okuba ekituufu) kyakuwa oyo yenna akola ekikolwa kino nga yeyagalidde era nga yesimidde ekibonerezo ekyokuttibwa nekitara. Hadiith nga eva ku Ibn Abbas nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

" من وجدتموه يعمل عمل قوم لوط فاقتلوا الفاعل والمفعول له" رواه الإمام أحمد 1\300 وهو في صحيح الجامع 6565

“ Omuntu yenna gwemusanga ngakola ebikolwa byabantu bokumulembe gwa Nabbi Luutu (ebisiyaga) mutte akikola(omusiyazi) negwebakikolako (gwebasiyaga)"

Zino zonna endwadde ezikyaase kumulembe gwaffe guno,okugeza nga kawumpuli, mukenenya atugumbula enkumi nenkumi z'abantu nendala ezitaaliwo mubajjajjaffe abaatukulembera zivudde kunsonga yakusaasaana kwabwonoonefu munsi.

OMUKYALA OKUGAANA OKWEGATTA NEBBA NGA TEWALI NSONGA NTUUFU MUSHARIA

Hadiith nga eva ku Abi hurairat –Allah yasiima kuye- nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

" إذا دعا الرجل امرأته إلى فراشه فأبت فبات غضبان عليها لعنتها الملائكة حتى تصبح" رواه البخاري انظر الفتح 6\314

“Omusajja singa ayita mukyala we (okubeera naye mumbeera z'obufumbo), omukyala naganda, n'asula nga amunyigidde, bamalayika bamukolimira okutuusa obudde lwebukya.

Abakyala abamu bwafuna obutakkaanya nebba asalawo kumubonereza nakugaana bba kugenda gyali, songa ate ekyo kiyinza okuvaamu ebikyamu bingi okugeza nga omusajja okugwa mu haraamu oba oluusi n'okulowooza ekyokumuzzaako (omukyala omulala) nga kyandibadde tekyetaagisa mukiseera ekyo.

Kalenno omukyala yenna yandibadde ayanguyiriza okwanukula singa bba aba amuyise okugenda gyaali, olwokutuukiriza ekigambo kya Nabbi (s.a.w) ekigamba nti:

" إذا دعا الرجل امرأته فلتجب وإن كانت على ظهر قتب" انظر زوائد البزار 2\181 وهو في صحيح الجامع 547

“Omusajja bwabanga ayise mukyala we ayanukule nga okugenda gyali nebwabanga ali waggulu ku Katibu (nga ke katebe akateekebwa kumugongo gw'engamiya okatuulwako.) ekigendererwa mukyo nti newankubadde abadde yebagadde ensolo oba nga ali mu mmotoka okubaako newaalaga".

Naye era n'omwami alina okutunuulira embeera mukyalawe gyalimu natamussa kunninga kuba mukazi wattu ayiza okuba nga mulwadde oba nga muzito, obanga teyewulira bulungi, walina okubaawo okuwuliziganya n'okukkaanya wakati wabwe obufumbo bwabwe busobole okugenda mu maaso mu mirembe n'okwewala enjawukana nobutakwatagana.

OMUKYALA OKUSABA BBA TALAQA AWATALI NSONGA NTUUFU MU SHARIA

Abakyala bangi banguyiriza okusaba ba bbabwe talaqa amangu ddala nga bafunye obutakkanya wakati waabwe, oba okugisaba singa omwami aba tamuwadde by'ayagala, songa oluusi omukyala ayiza okuba nabamupikaapika mubenganda ze oba muliraanaawe mwabo abalubirirwa okumwonoonera obufumbo bwe, omukyala ayinza n'okutuuka okusomooza bba nebigambo ebizito ebisunguwaza okugeza nga okumugamba nti: “Okkakasa nti oli musajja nga ompade talaqa" songa ekimanyiddwa talaqa evaamu ebibi bingi nga famile okweyuzaamu, n'abaana okwonooneka. Omukyala ayinza n'okwejjusa oluvannyuma naye nga tekikyamugasa. Okusinzira kwekyo nebirala byeyoleka ebigendererwa lwaki amateeka g'obusiraamu gaziyiza embeera eno. Hadiith nga eva ku Thaubaan –Allah yasiima kuye- nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

"أيما امرأة سألت زوجها الطلاق من غير ما بأس فحرام عليها رائحة الجنة" رواه الإمام أحمد 5\277 وهو في صحيح الجامع 2703

“ Omukyaala yenna asaba bba talaqa nga tewali nsonga kaziyizibwa kuye akawoowo ke jjanah (amakulu nti tajja kugiyingira)"

Ate Hadiith endala nga eva ku Uqubat bun A'mir nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

" إن المختلعات والمنتزعات هن المنافقات" رواه الطبراني في الكبير 17\339 وهو في صحيح الجامع 1934.

“Mazima abakyaala abeyambulula ba bbaabwe n'ababekutulako (ababejjako) be bannanfuusi"

Wabula singa ekyo kibaawo lwansonga sharia gyekkiriza gamba nga omwami okuba nti tasaala, oba akozesa ebitamiiza, nebiragalalagala, oba okuba nti amukaka okkola ekintu kyonna ekyaziyizibwa, oba okuba nga amulyazamaanya n'okumubonereza, oba obutamuwa bivunaanyizibwa bye sharia byeyamuwa, nga nokubuulirira wakati wabwe tekugasizza, ate omukyala natafunayo mbeera ndala yakugonjoola nsonga ezo, mumbeera efaanana bwetyo omukyala bwasaba bba talaqa olw'okwagala okuwonya omubiri gwe nomwoyo gwe ekibambulira tafuna musango.

AL DHIHAAL

Muzimu kunjogera za jahiriyya (omulembe gwobutamanya) ezisaasaanye ensangi zino mu ummah eno kyekigambo dhihaal, nga nakyo ye musajja okugamba mukyaala we nti: “Olinga omugongo gwa nnyabo, oba onzira nga omugongo gwa nnyabo, oba omugongo gw'omukyala omulala yenna amuzira okuwasa" okugeza nga mwannyina n'abalala, enjogera ezifaananako bwezityo abawalabu baazikozesanga mu Jahiriyya nga akabonero akalaga okwawukana wakati we ne mukyaala we, obusiraamu bwe bwajja bwawera enjogera eno olw'obubi n'okusiwuuka empisa, nokulyazamaanya omukyaala obujirimu. Era Allah bweyali ajogerako yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ الَّذِينَ يُظَاهِرُونَ مِنْكُمْ مِنْ نِسَائِهِمْ مَا هُنَّ أُمَّهَاتِهِمْ إِنْ أُمَّهَاتُهُمْ إِلَّا اللَّائِي وَلَدْنَهُمْ وَإِنَّهُمْ لَيَقُولُونَ مُنْكَرًا مِنَ الْقَوْلِ وَزُورًا وَإِنَّ اللَّهَ لَعَفُوٌّ غَفُورٌ المجادلة: ٢

{Abo abata bakyala baabwe mu mmwe (nga bayitira) mu kubafaananya emigongo gya bannyaabwe (ne bagamba nti “ Gwe olinga omugono gwa nnyabo"- bwe batyo ne bateegatta nabo wadde okubata bafumbirwe awalala)- Abo siba nnyaabwe: tewali bannyaabwe (balala) okuggyako abo abaabazaala. Era mazima bo boogera ekigambo ekibi era obulimba. Na mazima Allah mulekezi, omusonyiyi}

Era amateeka g'obusiraamu gassaawo omutango ogwamaanyi eri oyo agamba mukyala we ebigambo ebyo, nga okufaananako n'okutta omuntu mubutanwa era nga gwenkanankana n'omutango gwomuntu agenze eri mukyaala we mukisiibo emisana. Omuntu akoze ekikolwa kino (mudhaahil) takkirizibwa kusemberera mukyala we nga tannaba kuwa mutaango ogwo. Allah yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ وَالَّذِينَ يُظَاهِرُونَ مِنْ نِسَائِهِمْ ثُمَّ يَعُودُونَ لِمَا قَالُوا فَتَحْرِيرُ رَقَبَةٍ مِنْ قَبْلِ أَنْ يَتَمَاسَّا ذَلِكُمْ تُوعَظُونَ بِهِ وَاللَّهُ بِمَا تَعْمَلُونَ خَبِيرٌ (3) فَمَنْ لَمْ يَجِدْ فَصِيَامُ شَهْرَيْنِ مُتَتَابِعَيْنِ مِنْ قَبْلِ أَنْ يَتَمَاسَّا فَمَنْ لَمْ يَسْتَطِعْ فَإِطْعَامُ سِتِّينَ مِسْكِينًا ذَلِكَ لِتُؤْمِنُوا بِاللَّهِ وَرَسُولِهِ وَتِلْكَ حُدُودُ اللَّهِ وَلِلْكَافِرِينَ عَذَابٌ أَلِيمٌ المجادلة: ٣ - ٤

{Abo abafaananya bakyala baabwe emigongo gya bannyabwe (Dhihaar) oluvannyuma ne baddamu mwekyo kyebagambye (ne baagala nate omukyala oyo asigale nga mukyala we omujjuvu, balabagana, omutango gwe bawa gwa) kuta muddu nga tebannaba kulabagana (nate na mukyala oyo). Ekyo mmwe mubuulirirwa nakyo (muleme kuddayo kukikola); ne Allah mumanyi wa byama byebyo bye mukola ** N'oyo aba tafunye (muddu gw'ata) ateekwa okusiiba myezi ebiri egiriraanaganye (awatali kwosaamu) nga tannaba kulabagana naye; n'oyo atasobola kusiiba kale aliise bamasikiini nkaaga (mu mmere ennungi eriibwa mu kitundu ekyo). Ekyo (Twakiraalika) mulyoke mukkirize Allah n'omubaka we. N'ebyo byebikomo by'amateeka ga Allah. Balina abatakkiriza ebibonyobonyo ebiruma}

OKULABAGANA N'OMUKYALA NGA ALI MUNSONGA.

Allah yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ ﮠ ﮡ ﮢ ﮤ ﮥ ﮦ ﮧ ﮨ ﮩ ﮪ ﮬ ﮭ ﮮ ﮯ ﮱ ﯓ ﯔ ﯕ ﯖ ﯗ ﯘ ﯚ ﯛ ﯜ ﯝ ﯞ ﯟ ﯠ البقرة: ٢٢٢

{Era bakubuuza (Ggwe Muhammad) ku mukyala nga ali mu nnaku zaabwe (nga bali mu heyithi). Bagamba nti: gwo (musaayi) kyenyinyarwa, kale mwawukane n'abakyala (obuteegatta nabo) nga bali mu bulwadde bwabwe (nga bali mu heyithi) temubasembereranga okutuusanga lwe batukula bwe babeeranga batukudde (ne banaaba, olwo) mugendenga gye bali mukifo awo Allah we yabakkiriza (mwegatte nabo emberi waabwe sso ssi mabega), mazima Allah ayagala abeenenya, era ayagala abeetukuza}.

Nabwekityo omusajja takkirizibwa kugenda eri mukyala we nga avudde munsonga okutuusa nga anaabye omubiri olw'etteeka eryo lyetulabwe waggulu.

Ate ekiraga obubi bwokugenda eri omukyala nga ali mumbeera eyo kyekigambo kya Nabbi (s.a.w) mu hadiith ya Abi Hurairat ekigamba nti:

"من أتى حائضا أو امرأة في دبرها أو كاهنا فقد كفر بما أنزل على محمد" رواه الترمذي 1\223 وهو في صحيح الجامع 5918 .

“Oyo yenna agenda eri omukyala nga ali mu nsonga, oba n'agenda gyali nga ayita emabega, oba eri omulaguzi aba awakanyizza (akafuwaridde) ebyo ebyassibwa ku Muhammad (s.a.w)".

N'oyo yenna akikola mubutali bugenderevu nga tategedde talina musango, songa ate akikola nga agenderedde nga amanyi alina okuwa omutango okusinziira ku kigambo ky'abamanyi abamu abalaba nga hadiith y'omuntango ku kikola kino nti ntuufu nga nagwo (omutango) gwakuwa dinaar emu oba kitundu kyaayo, abamanyi abamu bagamba nti omuntu yesaliwo ku kimu kubibiri (okuwa dinar emu oba ekitundu kyayo), abamu ne bagamba nti bwagenda gyali kuntandikwa y'okulwala nga omusaayi gukyaali mungi, awa dinar emu, ate bwagenda gyali kunkomerero yokulwala nga omusaayi gukendedde naye nga tannaba kunaaba awa omutanga gwa kitundu kya dinar (kimu kya kubiri kyayo). Era nga dinar yenkanankana obuzito bwa 25.4gms mu zaabu, ekigero ekyo kyakwata nakisaddaaka oba n'awaayo ekikyenkanankana mu sente ezempapula.

OKWEGATTA N'OMUKYALA EMABEGA

Abantu abamu ababuze abalina obukkiriza obunafu bagenda eri bakyala baabwe emabega (mubufulumiro) songa ekikolwa ekyo kibi nnyo era kimu ku gamu amazambi amanene, Nabbi (s.a.w) yakolimira oyo yenna eyegatta n'omukyala emabega nga bwekiri mu hadiith ya Abi hurairat nga agijja ku Nabbi yagamba:

"ملعون من أتى امرأة في دبرها " رواه الإمام أحمد 3\479 وهو في صحيح الجامع 5865

“Yakolimirwa oyo yenna eyegatta n'omukyala emabega we".

Okwo gattako hadiith gyetwalabye waggulu Nabbi (s.a.w) bwe yagamba: “Oyo yenna agenda eri omukyala nga ali munsonga, oba n'agenda gyali nga ayita emabega, oba eri omulaguzi aba awakanyizza (akafuwaridde) ebyo ebyassibwa ku Muhammad (s.a.w)".

Newankubadde nga abakyala bangi muba swahaabiyaat baali balongoofu era nga tebakkiririza mubikolwa bwebityo wabula abamu kuba bbaabwe babakakanga oluusi nebabatiisatiisa n'okubagoba singa bagaana okukola ekyo kyebabalagidde, ate abamu bawubisanga bakyala babwe oluusi abaalina nga ensonyi okubuuza abamanyi bbo nebabagamba nti ekikolwa ekyo kituufu kikkirizibwa era nga abamu kubo beesembesa a'ya egamba nti:

ﭧ ﭨ ﭽ ﯡ ﯢ ﯣ ﯤ ﯥ ﯦ ﯧ البقرة: ٢٢٣

{Abakyala bammwe ze nnimiro zammwe (mwemufuna abaana) kale mujjenga mu nnimiro zammwe mu ngeri gye mwagala}.

Kyetuteekeddwa okumanya nti Sunnah za Nabbi (s.a.w) ze zinnyonnyola Qur'aan era nga Nabbi yakirambika bulungi nti Amakulu g'okugenda mu nnimiro zammwe mu ngeri gye mwagala kwekuba nti ssi nsonga muyise mu maaso oba mabega kyokka nga mulina kugenda mukifo kimu ekyemberi ewayita omwana, era nga tewali alina kubuusabuusa nti ekifo kyemabega ssi we wayita omwana. Ebimu kubireetera embeera eno okubaawo be bantu okuyingira mu bulamu bwobufumbo obutukuvu nebikolwa byebaakolanga mujahiriyya ebikyaafu ebyenyinyalwa, era ebyesittaza, oba obwongo bwaabwe okuba nga bujjuddemu obutambi bwa zi firimu ezobwononefu nga ate tebeenenyezanga Allah. Naye tutekeddwa okukimanya nti ekikola ekyo kikyamu kyaziyizibwa nebwebabanga abafumbo bombiriri bakkiriziganyizza okukikola kubanga okukkiriziganya ku kikyamu tekukifuula kituufu.

OBUTENKANYANKANYA WAKATI W'ABAKYALA

Ebimu ku bintu Allah byeyatulaamira nabyo mu Qur'aan eyekitiibwa bwe bwenkanya wakati wa bakyala. Allah yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ ﭲ ﭳ ﭴ ﭵ ﭶ ﭷ ﭸ ﭹ ﭻ ﭼ ﭽ ﭾ ﭿ ﮀ ﮂ ﮃ ﮄ ﮅ ﮆ ﮇ ﮈ ﮉ ﮊ النساء: ١٢٩

{Naye temusobola kwenkanyankanya wakati wabakyala newankubadde nga mukyagadde mutya, kyokka temukyukanga olukyuka lwonna ne mumuleka omukyala omulala nga alinga omuwanike (aleebeetera mu bbanga) bwe mubanga mutabaganye (mu mukwano) nemwewala e(bisobyo) mazima Allah okuva edda ye musonyiyi, omusaasizi ennyo}

Obwenkanya obwetteeka buli mukusula (okugabanya ebisanja), nabuli omu okumuwa ebyetaago bye mukumulabirira, okwambala nebirala sso ssi obwenkanya mukwagala kwomumutima kubanga ekyo omuddu takirinaako busobozi, songa ate abasajja abamu bwaba nabakyala abasukka kwomu yesanga nga yekubiira eri omu kubo abalala n'abalagajjalira nga asula ew'omu kubo ennaku ezisiinga obungi, oba n'aba nti omu omulabirira bulungi okusinga abalala, ekyonno kikyamu era oyo yenna akikola agenda kujja kulunaku lwenkomerero nga oludda lwe olumu lwewunzise (lugudde olubege), nga bwekiri mu hadiith ya Abi Hurairat –Allah yasiima kuye- nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

" من كان له امرأتان فمال إلى احداهما جاء يوم القيامة وشقه مائل" رواه أبو داود 2\601 وهو في صحيح الجامع 6491

“ Omusajja yenna alina abakyala ababiri neyekubiira eri omu kubo agenda kujja kulunaku lwenkomerero nga oludda lwe olumu lwewunzise (lugudde olubege)"

OKWEYAWULA N'OMUKYALA ATAKUZIRA KUWASA

Sitaane afaayo nnyo okulaba nga alabankanya abantu n'okubasuura mubikolwa ebyaziyizibwa, kyova olaba nti Allah owekitiibwa yagitwekesa nagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا لَا تَتَّبِعُوا خُطُوَاتِ الشَّيْطَانِ وَمَنْ يَتَّبِعْ خُطُوَاتِ الشَّيْطَانِ فَإِنَّهُ يَأْمُرُ بِالْفَحْشَاءِ وَالْمُنْكَرِ وَلَوْلَا فَضْلُ اللَّهِ عَلَيْكُمْ وَرَحْمَتُهُ مَا زَكَى مِنْكُمْ مِنْ أَحَدٍ أَبَدًا وَلَكِنَّ اللَّهَ يُزَكِّي مَنْ يَشَاءُ وَاللَّهُ سَمِيعٌ عَلِيمٌ النور: ٢١

{Abange mmwe abakkiriza temugobereranga amakubo gasitaane, n'omuntu agoberera amakubo ga sitaane (aba abuze) kubanga mazima yo eragira byabuwemu na bitayagalwa mu ddiini……}

Era nga sitaane atambulira mu baana ba Adamu nga omusaayi bwegutambulira mu misuwa, era amakubo agamu sitaane gakozesa okusuula abantu mubikolwa ebyobwonoonefu ye musajja okweyawula n'omukazi atamuzira kuwasa, ye nsonga lwaki sharia yaziiza ekkubo eryo nga bwekiri mu bigambo bya Nabbi (s.a.w) bweyagamba:

"لا يخلون رجل بامرأة إلا كان ثالثهما الشيطان" رواه الترمذي 3\474 وهو في صحيح الجامع 3118 .

“Omusajja yenna tayinza kweyawula na mukazi okujjako nga owokusatu kubo abeera sitaane"

Ate Hadiith endala ya Ibun Umar –Allah yasiima kubo bombiriri- yagamba Omubaka (s.a.w):

" لا يدخلن رجل بعد يومي هذا على مغيبة إلا ومعه رجل أو اثنان " رواه مسلم 4\1711 .

“Tayingiranga omusajja yenna eri omukyala amaze ekiseera nga tali nabba okujjako nga ali wamu n'omusajja omulala, oba babiri"

Okusinziira kubujulizi obwo omusajja takkirizibwa kweyawula na mukazi atamuzira kuwasa nga mulamu we, omukozi, munyumba, oba mu motoka, oba mukisenge. Abantu bangi balagajjalira ensonga eno ndowooza lwakwesiga nnyo mitima gyabwe nebirala nekibaviirako okugwa mubikolwa ebyobwonoonefu, nekiretera okwetabika kwendyo na baana abobwenzi.

OKUKWATA MUNGALO

Z'OMUKAZI ATAKUZIRA KUWASA

Ekyonno kyekimu kubintu abantu abamu bye basukkamu ekkomo ly'ensalosalo n'amateeka ga Allah olwokwagala okusukkulumya ebyobuwangwa nennonno zabwe enkyamu ku kulamula kwa Allah, nga ne bwomugamba nti ekyo obusiraamu tebukikkiriza tafaayo nebwomusomera obujulizi ebwenkana wa, nga yekwasa ensonga ezitali zimu nga okuyunga oluganda nebirala, nebukeera enkya nga okukwata mungalo za muwala wa taata omuto, oba owa senga, oba owa maama omuto, oba owa kojja, oba muka mugandawo (mulamu), oba muka kitaawo omuto, oba muka kojja nabalala bwebatyo kyangu nnyo n'okusinga okunywa amazzi, songa baba kutunuulira nsonga eno neriiso eryenkaliriza bandirabye akabi akagirimu. Nabbi (s.a.w) yagamba:

"لأن يطعن في رأس أحدكم بمخيط من حديد خير له من أن يمس امرأة لا تحل له" رواه الطبراني 20\212 وهو في صحيح الجامع 4126.

“Omu mummwe okufumitibwa empiso etuunga (eye kyuma) mu mutwe kyekisinga obolungi gyali okukwata mungalo zomukyala atamukkirizibwa".

Era nga tewali kubuusabuusa nti okwo kwe kwenda kwemikono nga Nabbi (s.a.w) bweyagamba:

"العينان تزنيان واليدان تزنيان والرجلان تزنيان الفرج يزني" رواه الإمام أحمد 1\412 وهو في صحيح الجامع 4126.

“Amaaso gombiriri genda, nemikono gyombiriri gyenda, n'amagulu gombi genda, nobwereere bwenda".

Abaffe waliwo omuntu yenna alina omutima omutukuvu okusinga omubaka Muhammadi (s.a.w) awamu nekyo nga yagamba nti:

"إني لا أصافح النساء" رواه الإمام أحمد6\357 وهو في صحيح الجامع 2509

“Mazima nze (Muhammadi) sikwata bakyala mungalo"

Era nagamba nti:

"إني لا أمس أيدي النساء" رواه الطبراني في الكبير 24\342 وهو في الجامع الصحيح 7054

“Mazima nze sikwata mungalo za bakyala (batali bange)".

Hadiith endala nga eva ku maama Aisha –Allah yasiima kuye- yagamba:

"ولا والله ما مست يد رسول الله صلى الله وسلم يد امرأة قط غير أنه يبايعهن بالكلام" رواه مسلم 3\1489

“Ndayira Allah omukono gw'omubaka wa Allah (s.a.w) tegwakwatako mungalo zamukyala (atali wuwe) n'akamu songa yabawereranga okuba awamu nabo nebigambo"

Bannage batye Allah abo bonna abatiisatiisa bakyala babwe okubawa talaqa singa baba tebakutte balamu babwe mungalo, nga era bwe tulina okukimanya nti okwata omukyala mungalo nga otaddewo ekiziiza nga akatambaala, giravuzi nebirala tekirina kyekigasa kuba okwata mungalo z'omukyala atali wuwo tekikkirizibwa mumbeera yonna.

OMUKYALA OKWEKUBA KALIFUUWA NGA AFULUMA AWAKA OBA NGA AYITA AWALI ABASAJJA

Abakyala okwekuba obuwoowo nga bava mu mayumba gabwe kyekimu kubintu ebikyaase ensangi zino songa Nabbi (s.a.w) yakigaana bweyagamba nti:

"أيما امرأة استعطرت ثم مر على القوم ليجدوا ريحها فهي زانية" رواه الإمام أحمد 4\418 انظر صحيح الجامع 105

“Omukyala yenna eyekuba kalifuuwa oluvannyuma nayita awali abantu (abasajja) bafune (bawunyirize) akawoowo ke abeera mwenzi"

Abakyala abamu balagajjalira ensonga eno olwokuba gwalinaye dereeva, oba mukozi wa waka, oba mutuunzi wa dduuka natakitwaala nga kikulu, songa sharia yamyumyula ensonga eno okutuusa nokulagira omukyala eyekubye kalifuuwa okunaaba olunaaba lwa Janaba bwaba nga ayagala okufuluma awaka nebwaba nga agenda ku muzikiti. Nabbi (s.a.w) yagamba:

"أيما امرأة تطيبت ثم خرج إلى المسجد ليجد ريحها لم يقبل منها الصلاة حتى تغتسل اغتسالها من الجنابة " رواه الإمام أحمد 2\444 وهو في صحيح الجامع2703 .

“Omukazi yenna eyekuba kalifuuwa oluvannyuma nafuluma eri omuzikiti nebawunyiriza akawoowo ke, esswala ye tekkirizibwa (temubalwako) okutuusa nga anaabye olunaaba lwe olwa Janaba"

Awo kati Allah yamanyi kubanga abakyala bangi beekuba obuwoowo obwenjawulo nga bagenda ku mbaga ne kububaga, ne mubutale nemubifo ebirala ebibeeramu okwetabika nabasajja, ne ku mizikiti ekiro mu Ramadhan, songa ate Sharia yakirambika bulungi nti kalifuuwa w'abakyala yooyo alabika langi ye n'akweeka akawoowo ke. Tusaba Allah aleme kutunyiigira, era aleme kubonereza abakyala abalongoofu olwebikolwa by'abo abatamanyi era atulunngamye fenna eri ekkubo lye eggolokofu.

OMUKYALA OKUTAMBULA OLUGENDO NGA TALINA MAHARAM

Nabbi (s.a.w) yagamba:

"لا يحل لامرأة تؤمن بالله واليوم الآخر أن تسافر مسيرة يوم إلا مع ذي محرم" رواه مسلم 2\988

“Tekikkirizibwa ku mukyala yenna akkiriza Allah n'olunaku lwenkomerero okutambula olugendo olunaku lulamba okujjako nga ali wamu n'amuzira okumuwasa (maharam we).

Kubanga omukyala okutambula olugendo nga talina maharam kiteeka obulamu bwe mukatyabaga nokuwa abonoonefu oluwenda olwokumutawaanya ate olwokuba nga mubutonde bwe munafu ayiinza okuterebuka ekitiibwa kye n'ensa ze nezityoboolwa, nabwekityo okulinnya kwe ennyonyi nga waliwo maharam amusiibudde (wabula nga tatambudde naye) nga ate omulala amulindiridde kukisaawe okumwaniriza nakyo sikituufu omukyala alina kutambula na maharam we kubanga wasobola okubaawo obuzibu ennyonyi negwa kukisaawe ekirala, oba nekyusibwa ebiseera byaayo mumbeera eno omukyala asobola okufuna obuzibu singa tabeera na maharam we. Maharam ateekeddwa okuba nobukwakkulizo buna: Musiraamu, mukulu, ategeera, nga musajja.

Hadiith nga eva ku Abi sa-eed Al khudhury –Allah yasiima kuye- Yagamba Nabbi (s.a.w)

" لا يحل لامرأة تؤمن بالله واليوم الآخر أن تسافر سفرا يكون ثلاثة أيام فصاعدا إلا ومعها أبوها أو ابنها أو زوجها أو أخوها أو ذو محرم منها" رواه مسلم 2\977

“Tekikkirizibwa ku mukyala yenna akkiriza Allah n'olunaku lwe nkomerero okutambula olungedo ennaku ssatu n'okudda waggulu okujjako nga ali ne kitaawe, oba mutabani we, oba omwaami we, oba mwannyina oba omuntu we amuzira okumuwasa"

OKUGENDERERA OKUTUNUULIRA OMUKYALA ATAKUZIRA KUWASA

Allah owekitiibwa yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ قُلْ لِلْمُؤْمِنِينَ يَغُضُّوا مِنْ أَبْصَارِهِمْ وَيَحْفَظُوا فُرُوجَهُمْ ذَلِكَ أَزْكَى لَهُمْ إِنَّ اللَّهَ خَبِيرٌ بِمَا يَصْنَعُونَ النور: ٣٠

{Gamba abakkiriza abasajja bakkakkanye ku maaso gaabwe bakuume obwereere bwabwe, ekyo kye kisinga obutukuvu gyebali, mazima Allah mumanyi wa byama by'ebyo bye bakola}

Ate Nabbi (s.a.w) nagamba:

"فزنا العين النظر" (أي إلى ما حرم الله ) رواه البخاري انظر فتح الباري11\26

“Okwenda kw'amaaso kutunula (kwebyo Allah byeyaziiza)"

Wabula omwo muvaamu okutunula okwensonga obusiraamu kwebukkiriza okugeza nga omusajja okutunula ku mukyala gwayogereza, oba omusawo okutunula ku mulwadde (omukyala okusinziira kubwetaavu). Era nabwekityo kiri haraamu omukyala okutunuulira abasajja abatamuzira kufumbirwa entunuulira eyekikemo. Allah yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ وَقُلْ لِلْمُؤْمِنَاتِ يَغْضُضْنَ مِنْ أَبْصَارِهِنَّ وَيَحْفَظْنَ فُرُوجَهُنَّ وَلَا يُبْدِينَ زِينَتَهُنَّ إِلَّا مَا ظَهَرَ مِنْهَا وَلْيَضْرِبْنَ بِخُمُرِهِنَّ عَلَى جُيُوبِهِنَّ وَلَا يُبْدِينَ زِينَتَهُنَّ إِلَّا لِبُعُولَتِهِنَّ أَوْ آبَائِهِنَّ أَوْ آبَاءِ بُعُولَتِهِنَّ أَوْ أَبْنَائِهِنَّ أَوْ أَبْنَاءِ بُعُولَتِهِنَّ أَوْ إِخْوَانِهِنَّ أَوْ بَنِي إِخْوَانِهِنَّ أَوْ بَنِي أَخَوَاتِهِنَّ أَوْ نِسَائِهِنَّ أَوْ مَا مَلَكَتْ أَيْمَانُهُنَّ أَوِ التَّابِعِينَ غَيْرِ أُولِي الْإِرْبَةِ مِنَ الرِّجَالِ أَوِ الطِّفْلِ الَّذِينَ لَمْ يَظْهَرُوا عَلَى عَوْرَاتِ النِّسَاءِ وَلَا يَضْرِبْنَ بِأَرْجُلِهِنَّ لِيُعْلَمَ مَا يُخْفِينَ مِنْ زِينَتِهِنَّ وَتُوبُوا إِلَى اللَّهِ جَمِيعًا أَيُّهَ الْمُؤْمِنُونَ لَعَلَّكُمْ تُفْلِحُونَ النور:٣١

{Era gamba abakkiriza abakyala bakkakkanye ku maaso gaabwe bakuume obwereere bwabwe}.

Nga era bwekyaziyizibwa omusajja okutunula ku bwereere bwamusajja munne, n'omukyala okutunula ku bwereere bwa mukyala munne, era nabuli bwereere obutakkiririzibwa kutunulako, tebukkirizibwa kubukwatako nebwewabaawo ejjiji (ekibikka).

Obumu ku buzannyo bwa sitaane eri abantu abamu kwekutunuulira ebifaananyi (byabakyala oba abasajja) mu mawulire, nobutambi bwa filimu nga bekwasa nti ebyo sibyaddala, songa obwonoonefu obuli mwebyo, nokuleeta obwagazi eri omuntu oyo byeyolefu.

OBWA SEKIBOTTE

Ebimu kubintu obusiraamu byebwaziyiza bwebwa sekibotte, nga nabwo yemusajja obutafaayo kubyabwonoonefu ebikolebwa mu makaage.

Hadiith nga eva ku Ibn Umar- Allah yasiima kubo bombiriri- yagamba Nabbi (s.a.w):

" ثلاثة قد حرم الله عليهم الجنة: مدمن الخمر, والعاق, والديوث الذي يقر في أهله الخبث" رواه الإمام أحمد 2\69 وهو في صحيح الجامع 3047

“Abantu ba biti bisatu Allah yaziyiza kubo e Jjanah: omunywi w'omwenge, avuma bakadde be, n'omusajja sekibotte oyo aleka abantu be ku bikyamu (natabagamba ko)"

Ebimu ku biraga obwa sekibotte kumulembe guno ye musajja okuleka mukyala we nayogera n'abasajja abalala mumbeera yonna maaso ku maaso oba ku simu, oba okumuleka neyeyawula nabo munyumba oba mukifo ekirala kyonna, nabwekityo okuleka omukyala yenna gwolinako obuvunaanyiza nayogere nabasajja nga dereeva wa waka nabalala abatamuzira kumuwasa, nokumuleka okufuluma awaka nga tayambadde nga busiraamu bwebumulagira, oba okumuleka n'aleetanga obutaambi obukyamu oba amawulire agajjudde ebifaananyi ebyobwonoonefu munyumba.

OKUBUZABUZA OLULYO LWOMUNTU OBA OMUSAJJA OKWEGAANA OMWANA WE

Tekikkirizibwa mu mateeka g'obusiraamu okugaba omwana eri omusajja atali kitaawe (atamuzaala), oba omuntu yenna okwetwala nti mwana mu lujja gyatazaalwa, abantu abamu kino bakikola olwenzonga ezitali zimu nga okwagala ebyenfuna nebayimirizawo obuzaale bwaabwe nakugingirira empapula (z'obuzaale), ate abalala ekyo bakikola olwobukukuuzi bweba balina ku bakitaabwe nga okuba nti babalagajjalira nebabasuulawo mubuto, naye ebyo byonna byaziyizibwa (biri haraamu) kubanga bivaamu ebikyamu bingi okugeza nga okuba maharam, okufumbiza, n'ebyobusika nebirala ebiringa ebyo. Hadiith nga eva ku saad ne Abi bakarat –Allah yasiima kubo- nga ba gijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

"من ادعى إلى غير أبيه وهو يعلم فالجنة عليه حرام " روام البخاري وانظر فتح الباري 8\45

“Omuntu yenna eyetita omwana (womusajja) atali kitaawe naye nga amanyi e Jjannah yaziyizibwa kuye".

Era amateeka g'obusiraamu (sharia) gaaziyiza okuzannyira ku lulyo lwomuntu, oba okulubuzabuza, abasajja abamu bwafuna obutakkaanya ne mukyala we atandika okumukonjera nga bweyabaliga ebbali nekigendererwa ekyokwegaana omwana awatali bukakafu bwonna songa mubutuufu omwana oyo wuwe, mungeri y'emu waliwo bakyala abayendera mu maka g'aba bbaabwe oluusi nebafunirayo nembuto kyokka nebazisiba ba bbaabwe, nebeerabira nti Nabbi (s.a.w) yalagaanyisa abakola ebyo ebibonyobonyo ebyamaanyi, nga bwekiri mu hadiith ya Abi Hurairat –Allah yasiima kuye – nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

"أيما امرأة أدخلت على قوم من ليس منهم فليست من الله في شيئ ولن يدخلها الله لجنته وأيما رجل جحد ولده وهو ينظر إليه احتجب الله منه وفضحه علي رؤوس الأولين والآخرين" رواه أبو داود 2\695 انظر مشكاة المصابيه 3316

“Omukyala yenna ayingiza omwana mu kika gyatazaalwa ewa Allah talinaayo kantu konna era Allah talimuyingiza mu Jjannah ye, n'omusajja yenna eyegaana omwana we ng alaba Allah yamwesamba era wakumuswaaza mu maasa g'abaasooka na boluvannyuma

OKULYA EMMAALI EYA RIBA

Allah teyalangirirako lutalo ku muntu yenna mu Qur'aan eyekitiibwa okujjako ku muli wa riba, Allah yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ ﮥ ﮦ ﮧ ﮨ ﮩ ﮪ ﮫ ﮬ ﮭ ﮮ ﮯ ﮰ ﮱ ﯓ ﯔ ﯕ ﯖ ﯗ ﯘ ﯙ ﯚ ﯛ البقرة: ٢٧٨ - ٢٧٩

{Abange mmwe abakkiriza mutye Allah, era muleke ekyo ekikyasigaddeyo (kyemubanja) mu kuwola okwokuzzaamu (riba), bwe muba nga muli bakkiriza bwe munaaba nga temukikoze, mwetegekere (ekirangiriro) ky'olutalo okuva eri Allah n'omubaka we…}.

Era ekyo kikumalira okumanya obubi bwe zambi lya riba mu maaso ga Allah.

Omuntu yenna eyetegereza abantu sekinnoomu nabiki ebitambula munsi ku mitendera ejenjawulo alaba ebibala ki ebiva mu kulya riba nga okugwa kwebyenfuna, (okuggwaamu), okunaabuuka kwa sente, ebyamaguzi obutatambula bulungi, okulemererwa okusasula amabanja, n'omuwendo gwabatalina mirimu okulinnya, namakolero okuggalawo, nokufuula abantu bankola mmere ya leero, namaanyi g'abantu okuggweera mu ku sasulanga amabanja agataggwa, n'okuba nti akabinja kabantu abatono ennyo kekalina sente empitirivu nga abalala beerya nkuta, ebyo byonna bikuwa ekifaananyi kumbeera y'olutalo wakati wa Allah n'abakolagana ne riba.

Nabuli muntu yenna eyetaba mu nkolagana eno kumitendera egyenjawulo, oba kayungirizi, oba nanyini yo, oba muyambi, bonna Nabbi (s.a.w) yabakolimira, Hadiith nga eva ku Jaabir –Allah yasiima kuye yagamba:

" لعن رسول الله صلى الله عليه وسلم آكل الربا وموكله وكاتبه وشاهده" وقال: "هم سواء" رواه مسلم 3\1219

“Omubaka wa Allah (s.a.w) yakolimira omuli wa riba, n'omusigire waayo, nomuwandiisi waayo, nomujulizi waayo, n'agamba nti bonna be bamu.

N'olwekyo tokkirizibwa kuwandiika riba, kuba mujulizi, kusasula, kugikuuma, okutwalira awamu tokkirizibwa kwetaba mu kintu kyonna ekirimu riba oba okuba omuyambi.

Omubaka Muhammadi (s.a.w) yafaangayo nnyo okunnyonnyola obubi bwe zambi lino nga bwekiri mu Hadiith ya Abudallah bun Masuud- Allah amusaasire- nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

"الربا ثلاثة وسبعون بابا أيسرها مثل أن ينكح الرجل أمه وإن أربى الربا عرض الرجل المسلم" رواه الحاكم في المستدرك \37 وهو في صحيح الجامع 3533

“Riba erimu emiryango nsaanvu mwesatu ogusembayo wansi gwenkana nkana n'omusajja okuwasa nnyina, ne riba asinga obunene kutyoboola kitiibwa kya musiraamu munno"

Era Nabbi (s.a.w) yagamba mu hadiith ya Handhala- Allah – yasiima kuye:

"درهم الربا يأكله الرجل وهو يعلم أشد من ستة وثلاثين زنية" انظر صحيح الجامع 3375

“Omuntu okulya dirihamu emu eya riba kibi nnyo okusinga ennyenda amakumi asatu mu mukaaga (36)"

Okuwera riba kubuna abantu bonna, sso ssi nga abantu abasinga obungi bwebalowooza nti kuli wakati wa mugagga namwavu bokka. Wabula kubuna embeera zonna, n'abantu bonna, abaffe abagagga n'abasuubuzi abanene abamaanyi bameka abaweddemu nga entabwe eva ku riba? Nebintu bingi ebirabwaako kwekyo nga nekisembayo obutono mubyo Allah kujja mukisa mu mmaali yabwe newankubadde nga ku maaso erabika nga nyingi. Nabbi (s.a.w) yagamba:

"الربا وإن كثر فإن عاقبته تصيره إلى قلة" رواه الحاكم 2\37 وهو في صحيح الجامع 3542

“Riba nebweyinjiwa etya, mazima enkomerero yayo kusebengerera nakuggwaawo"

Era okuziyizibwa kwa riba tekweyawulidde ku bungi nabutono bwayo, enyingi ne ntono yonna eri haraam, nannyini yo ajja kuzuukizibwa okuva muntaana ye kulunaku lwenkomerero nga alinaga amajinni gwegakutte.

Newankubadde nga riba mbi nnyo bwetyo, Allah owekitibwa omusaasizi yatunnyonnyola mu Qur'aan eyekibwa nti akkiriza okwenenya kwomuntu abadde alya riba nabutya bwalina okwenenya. Allah yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ ﯝ ﯞ ﯟ ﯠ ﯡ ﯢ ﯣ ﯤ ﯥ ﯦ البقرة: ٢٧٩

{Naye bwe muba nga mwenenyezza, mulina okusasulwa emitwe gy'emmaali yammwe (awatali magoba) temulyazaamaanya era temujja kulyazaamaanyizibwa}. Obwonno bwebwe nkanya bwennyini.

Omukkiriza yenna atekeddwa okwesambya omwoyo gwe ezambi lino, era abeere nga afumintiriza entakira obubi bwalyo, era n'abo bonna abatereka emmaali yabwe mu banka eza riba olwobuwaze nokutya okugifirwa, (singa baba tebagitereseyo) oba okubabbibwako, nabo kibagwanidde okufumintiriza ku nsonga eno nti balinga omuntu alya ennyama nfu olwobuwaze oba n'okusingawo, era balina okuyitiriza okusaba Allah okubasonyiwa nokwanguyiriza okunoonya obuddukiro amangu ddala nga bwekisoboka, era tebakkirizibwa kusaba banka riba yonna, wabula singa banka ebassiza riba ku akawunta zabwe batekeddwa okusala amagezi okujejjako mu mulyango gwonna ogukkirizibwa singa saddaaka wabula kujewonya, kubanga Allah mulungi takkiriza okujjako kirungi, era tebakkirizibwa kujeyambisa mukintu kyonna si kulya, kunywa, kwambala, okugulamu ekyokwebagala kyonna, ob'ekisulo, oba okuguliramu abantu ebyetaago byabwe, oba okuziwaamu zakat, wadde okuziwaamu omusolo wabula azejjako bwejja olwokutya okwatibwako kwa Allah.

OKUKWEKA N'OKUSIRIKIRA OBUMOGO BWE KINTU KYOTUNDA

Nabbi (s.a.w) lumu yali atambula nasanga abatunda emirengo gy'emmere kyava akyaama webali naddira omukono gwe naguyingiza mu mulengo ogumu engalo ze nezijjirako amazzi kyava agamba nti:

"ما هذا يا صاحب الطعام؟ قال: أصابته السماء يا رسول الله قال: أفلا جعلته فوق الطعام كي يراه الناس؟ من غشنا فليس منا" رواه مسلم 1\99

“Kiki kino owange gwe nannyini mmere eno? Kyava amugamba nti: enkuba yagikubye owange omubaka wa Allah, namugamba kati lwaki (embisi) si gyottadde kungulu abantu basobole okugiraba (n'osalawo okugikweeka munda gyebatalaba) oyo yenna akumpanya siwa muffe".

Abatuunzi bangi mwabo abatatya Allah ensangi zino bagezaako okukweka obumogo bwebyo byebatunda nga babusiba ne solo tepu, amasanda agasiba (supar glu), oba nebaddira ebiriko obumogo nebabissa wansi awasemba kungulu nebassaako ebirungi, oba nebabisiiga ebilagalalagala nebirala ebikozesebwa mu kukweka obumogo, ekintu nekirabika bulungi kungulu, oba n'akukweka eddoboozi ebbi mukyuma nga oli bwakigula kuntandikwa takifunamu buzibu bwonna, wabula singa akizza olwobuzibu bwaba akifunye mu takkiriza kukimuddiza, ate abamu batuuka nokukyuusa ennaku z'omwezi ekintu lwe kiggwaako, oba okugaana omuguzi okusumulula kyagula akyetegereze oba okukigezesa, era bangi ku batunda emotoka ne byuma ebikozesebwa mubintu ebyenjawulo tebannyonnyola bumogo buli mwebyo byebatunda songa ebyo byonna biri haraam (tebikkirizibwa). Nabbi (s.a.w) yagamba:

"المسلم أخ المسلم ولا يحل لمسلم باع من أخيه بيعا فيه عيب إلى بينه له " رواه ابن ماجة 2\754 وهو ف صحيح الجامع 6705

“Omusiraamu muganda wa musiraamu munne, era tekikkirizabwa ku musiraamu kuguza muganda we (omusiraamu) kintu kyonna nga kirina akamogo okujjako nga akamunnyonnyodde".

Ate abamu abatunzi balowooza nti bwaba amalirizza okutunda ekintu kye ebisigadde biba tebikya mukwatako songa ate ekyo kikyamu. Nabbi (s.a.w) yagamba:

" البيعان بالخيار ما لم يتفرقا فإن صدقا وبيانا بورك لهما في بيعهما, وإن كذبا وكتما محقت بركة بيعهما" رواه البخاري انظر الفتح 4\328

“ Abagulaana balina eddembe buli omu okusalawo (kukyagula nokutunda) ebbanga lyebamala nga tebannaba kwawukana , singa baba baamaziba ne bannyonnyola (ebikwata ku buli omu kyalina) Allah assa omukisa mukugula kwabwe ate bwebalimba nebakweka (obumogo) omukisa gujjibwa mukugula kwabwe".

OKUGULA KWA NAJASHI

Okugula kuno kwekumu ku bintu obusiraamu bwebyaziyiza nganakwo kwekuba nti omuntu atalina bwetaavu bwakugula kintu ayingira mukulamuziganya nalinnyisa ebbeeyi yakyo nekigendererwa ekyokukwenyakwenya ono agula, okugula kuno Nabbi (s.a.w) yakugaana nga bwekiri mu hadiith eri mu Bukhaar:

"لا تناجشوا" رواه البخاري انظر الفتح 10\484

“Temuyingiranga mukulamuza kwabannammwe nemulinnyisa ebbeeyi ng'ate temugenda kugula nekigendererwa ekyokubakwenyakwenya".

Ekintu kino ebiseera ebisinga obungi luba lukwe wakati womutunzi n'omuntu omulala bwalaba abazze okugula naye neyeefuula agula newabaawo okuvuganya nga sente bwezirinnya songa mubutuufu ye talina bwetaavu bwakugula, kino kiyingira butereevu mukukwenyakwenya obusiramu bwekwagaanga Nabbi (s.a.w) yagamba:

"المكر الخديعة في النار" انظر سلسلة الأحاديث الصحيحة 1057

“Akola olukwe olwokkumpanya wa mumuliro"

Abantu bangi kubakola obwa bulooka (kayungirizi) naddala mubutale obuntunda ebintu ebikadde nga emmotoka nebirala bakolagana mukugula kuno okukyamu nebeefuula nabo abavuganya kwebyo ebitundibwa songa siba baguzi wabula baagala kubbirako sente z'abantu, oba oluusi okukkaanya okussa ebbeeyi y'ekintu bwebaba nga omu kubo yemuguzi songa ekintu kibadde kisaana sente ezisinga ko awo ebyo byonna obusiraamu tebubikkiriza kubanga kuba kulyaazaamanya baddu ba Allah.

OKUTUNDA OLUVANNYUMA LW'OKWAZIINA OKWOKUBIRI OKW'ESSWALA YE JJUMA

Allah yagamba mu Qur'aan:

ﭧ ﭨ ﭽ يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا إِذَا نُودِيَ لِلصَّلَاةِ مِنْ يَوْمِ الْجُمُعَةِ فَاسْعَوْا إِلَى ذِكْرِ اللَّهِ وَذَرُوا الْبَيْعَ ذَلِكُمْ خَيْرٌ لَكُمْ إِنْ كُنْتُمْ تَعْلَمُونَ الجمعة: ٩

{Abange mwe abakkiriza bwe mubeeranga (muwulidde) okukoowoola (okwaziina) okugenda eri okusaala ku lunaku lwokutaano (olunaku lwajjuma) kale musitukirengamu (okugenda) eri okwogera ku Allah, muyimirizenga okutunda ekyo kye kirungi gye muli bwe mubeera nga mumanyi}.

Abatunzi abamu bagenda mu maasa nokutuunda mumaduuka gaabwe oba oluusi okumpi n'omuzikiti oluvannyuma lw'okwaziina okw'okubiri kulunaku lwe Jjuma, abantu abo bafuna omusango kyenkanyi naabo ababagulako, era okugula okwo kufu okusinziira kukigambo ekituufu mu namula ya sharia, ate abamu ku bannannyini makolero, nabakola emigaati, nabalina zi woteeri bawaliriza abakozi baabwe okugenda mu maaso n'okukola mukiseera kyesswala ye Jjuma, ebyenfuna byabwe nebwebyeyongera amagoba mundaba eyokungulu , mumazima amatuufu bafunamu kufaafaganirwa, ate ye omukozi bwaba nga akola atekeddwa okukolera ku kigambo kya Nabbi (s.a.w) ekigamba nti:

"لا طاعة لبشر في معصية الله" رواه الإمام أحمد 1\129 وقال أحمد شاكر اسناده صحيح رقم 1065

“Tewali kugondera muntu yenna mukujemera Allah"

OKUZANNYA ZZAALA

Allah yagamba mu Qur'aan eyekitibwa:

ﭧ ﭨ ﭽ ﭑ ﭒ ﭓ ﭔ ﭕ ﭖ ﭗ ﭘ ﭙ ﭚ ﭛ ﭜ ﭝ ﭞ ﭟ ﭠ المائدة: ٩٠

{Abange mmwe abakkiriza mazima omwenge ne zzaala, n'amasanamu (ebifaananyi) byenyinyarwa bya mu mirimu gya sitaane, mubyewale oba olyawo munafuna okwesiima}.

Abantu bo mujahiriyya balinga bazannya zzaala era ekika kyebasinga nga okuzannya ekyaali ekyatikirivu gyebali bakiyitanga “Qadaah" nga wano baalinga baddira abantu kkumi buli omu n'areeta embalaasi bwebamala nebakuba akalulu (qadaah) nga musanvu kubo bebafuna emigabo egyenjawulo nga gimanyiddwa gyebali ate abasatu nebaviiramu awo.

Ate kumulembe gwaffe guno zzaala arimu ebika bingi, nga asinga okuba omwatikirivu wa kugula migabo, nga nekifaanyi ekyangu muye, bagula namba nga akuuma akabala bwekaziyitako, omuwanguzi asooka afuna ekirabo, n'owokubiri nabwekityo, bassaawo ebirabo ebyenjawulo nga bisingana naye ebyo byonna tebikkirizibwa mu busiraamu.

* Waliwo n'okugula ekyamaguzi nga munda waakyo mulimu ekintu tekimanyiddwa, oba okuweebwa enamba nga oguze ekyamaguzi, kati akuuma akabala kayita ku namba ezo okusobola okufuna ko omuwanguzi wekirabo ekiba kiteereddwa wo.

*Ebimu kubyokulabirako ebirala ku zzaala aliwo ensangi zino, zendagaano za zi Insuwalensi ezikolebwa mukwerinza ebizibu ebitali bimu nga mubyobusuubuzi, ebyobulamu, ebidduka, okwerinda omuliro, nebirala okutuuka okuba nti abayimbi abamu bazigula okwerinda amaloboozi gabwe.

*Waliwo ebitongole ebitali bimu nga omulimu gwabyo omukulu ku zannya zzaala, owengeri ezitali zimu, waliwo ne kyebayita okugula omusingo mukuvuga embalaasi, emmotoka zempaka, nemizannyo mingi nga omupiira ogwebigere, waliwo nebifo kati ebikubirwamu zzaala nga matatu, betingi, omweso, ludo nebilala. Ebyo byonna tebikkirizibwa kuba bigaana abantu okkola nga baagala okufuna ebyobwereere, ekivaamu bavubuka kutandika kubba.

OBUBBI

Allah yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ ﭟ ﭠ ﭡ ﭢ ﭣ ﭤ ﭥ ﭦ ﭧ ﭨ ﭪ ﭫ ﭬ ﭭ المائدة: ٣٨

{Omubbi omusajja n'omubbi omukazi mutemengako emikono gya bombiriri, nga yempeera yekyo kyebakoze, nga kibonerezo ekyokulabirako ekyava eri Allah, ne Allah wakitiibwa omulamuzi}.

Nga n'obumu ku bubbi obusinga obubi kwekubba ba haaji (abali mumikolo gya hijja) n'abalabirira enyumba ya Allah eye makkah, omuntu abba abantu abo aba azizza omusango gwanaggomola kubanga ekifo kya Allah ekyo kyekisinga okugulumizibwa munsi yonna. Nabbi (s.a.w) yagamba mukyafaayo kyokusaala esswala yokusikirizibwa kwe njuba n'omwezi (Kusuuf):

"لقد جئ بالنار وذلكم حين رأتموني تأخرت مخافة أن يصيبني من لفحها , وحتى رأيت فيها صاحب المحجن يجري قصبه في النار, كان يسرق الحاج بمحجنه, فإن فطن له قال: إنما تعلق بمحجني , وإن غفل عنه ذهب به " رواه مسلم 904

“Guleteddwa omuliro mukiseera wemundabidde nga nkeereyemu olw'okutya ennimi zagwo okunkonako, okutuusa lwe ndabye mugwo nannyini muggo oguliko akakonda akeewese waggulu (empenduzo) nga ebyenda bye byesera mu muliro, yalinga abba ba haaji n'omuggo gwe, bwebamulabukiriranga, nga agamba nti omugugu kwegukutte mumpenduzo yo muggo gwe, ate bwebaamulagajjaliranga yagutwalanga"

N'okubba okulala okunene, kweko okubeera mu mmaali eyabantu bonna okutwalirira awamu (nga sente za gavumenti), abamu ku bakola ebyo bagamba nti tubbye nga abalala nabo bwebabba so nga berabidde nti ezo sente zabantu bonna, era nti ezambi okkolebwa abantu abangi tefuuka nsonga erikkirizisa, ate abamu babba sente zabatali basiraamu nga bekwasa ekyoba nti bakafiiri nekyo nakyo sikituufu kubanga abakafiiri abakkirizibwa okuwamba emmaali yabwe beebo singa tubadde tulwanagana nabo, ate sibuli makolero g'abakafiiri n'abamu ku bantu sekinnoomu nti bagwa muttuluba eryo, agamu ku makubo agokozesebwa mukubba mulimu okusala ensawo, abalala bayingira amayumba gabantu nga abagenyi oluvannyuma nebababba, ate balala bakwata munsawo z'abagenyi bebaba bakyazizza ne bababba, ate abandi bayingira mu zi semaduuka nebabaako bwebakukulira munsawo zaabwe, oba nga abakazi abamu bwebakola nebabikukulira ebuziba, ate abalala babbira ku mitimbagano gya yintanenti, nabalala balaba nti okubba obuntu obutonotono oba ebya layisi (ebyebbeeyi entono) tekirina buzibu somga Nabbi (s.aw) yagamba:

"لعن الله السارق يسرق البيضة فتقطع يده, ويسرق الحبل فتقطع يده" رواه البخاري انظر فتح الباري 12\81

“Allah yakolimira omubbi abba eggi negutemwako omukono gwe, n'abba omuguwa negutemwako omukono gwe".

Nga nekigendererwa mu hadiith eno sikuba nti eggi, oba omuguwa bitemesaako omukono gw'omuntu wabula kulaga nti omuntu ayinza okutemebwako omukono gwe olwokubba nga obuntu obutonotono.

Kikakata kubuli muntu yenna alina kyeyabba ku munne abeere nga akimuddiza oluvannyuma yenenyeze Allah owekitiiibwa, sinsonga akizizza mububba, oba mukyama, yekennyini oba nga alina gwayiseemu, wabula bwalemererwa okutuuka kunnanyini kintu kyeyabba oba abasika be oluvannyuma lwokunoonya okwamaanyi, akisaddaaka nanuyirira empeera zidde eri nnyini kyo.

OKULYA ENGUZI N'OKUGIWAAYO

Okuwa omulamuzi oba omukulembeze enguzi akuttire kuliiso oba okuyisaawo ekintu ekikyamu zambi ddene mubusiraamu kubanga kiretawo obulyazamaanyi wakati w'abantu, nekyekubiira mukulamula, n'okusasaanya obwononefu, Allah yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ ﮛ ﮜ ﮝ ﮞ ﮟ ﮠ ﮡ ﮢ ﮣ ﮤ ﮥ ﮦ ﮧ ﮨ ﮩ ﮪ ﮫ ﮬ البقرة: ١٨٨

{Era temulyanngananga emmaali yammwe mungeri eteri ntuufu, wadde ne mugitwala eri abalamuzi mulyoke mulye ekitundu mu mmaali y'abantu ne (mukola) ekibi nga nammwe mumanyi (nga bwemutali batuufu)}

Hadiith nga eva ku Abi hurairat –Allah yasiima kuye- yagamba Nabbi (s.a.w):

"لعن الله الراشي والمرتشي في الحكم" رواه الإمام أحمد 2\387 وهو في صحيح الجامع 5069

“Allah yakolimira awa enguzi ne gwebagiwa mu kulamula"

Naye singa amazima tegasobola kweyoleka okujjako nga olina kyowaddeyo ate mumbeera eyo kibeera mubyobuwaze.

Embeera yokuwa n'okulya enguzi ekyaase nnyo kumulembe guno okutuuka okuba nga kyekimu kubintu abakozi kyebajjamu ensimbi, n'okuba nti amakampuni mangi embalirira y'ago yesigamidde ku nguzi naye nga kino bakikola mumbeera yakukibikkirira nekiba nti emirimu tegisobola kutandikibwa wadde okkomekkerezebwa okujjako nga waliwo enguzi, embeera eno enyigiriza nnyo abaavu nabateesobola, ebintu bingi ebyonooneka, era n'abakozi nebafuuka bonoonefu olwenguzi, empeereza ennungi eweebwa oyo yekka awadde enguzi, atasobola kugiwa tafwibwako era yasebayo okkolwako nebwakeera atya, mungeri eno tekyewunyisa kuba nti Nabbi (s.a.w) yasabira abo bonna abenyigira munkola eno Allah abagobe mukusaasira kwe nga bwekiri mu Hadiith ya Abudallah bun Amur –Allah yasiima kuye- yagamba Nabbi (s.a.w):

"لعنة الله على الراشي والمرتش" رواه ابن ماجة 2313 وهو في صحيح الجامع 5114

“Ekikolimo kya Allah kibe eri awa enguzi ne gwebagiwa"

OKWEKOMYA ETTAKA LY'OMUNTU

Bwe watabaawo kutya Allah mubantu okkozesa eryanyi n'olukujjukujju bifuuka ekizibu eri nnyini byo nga abikozesa mukulyazaamanya, nokwekomya ebintu by'abantu okugeza nga okuwamba nokwekomya ettaka songa ekibonerezo kunsonga eno kyamanyi nnyo. Hadiith nga eva ku Abudallah bun Umar –Allah yasiima kuye- yagamba Nabbi (s.a.w):

"من أخذ من الأرض شيئا بغير حقه خسف به يوم القيامة إلى سبع أرضين" رواه البخاري انظر الفتح 5\103

“Omuntu yenna atwaala akatundu kettaka konna mubukyamu kajja kukubisibwamu emirundi nsaavu balimwetikkise kulunaku lwenkomerero"

Hadiith endala nga eva ku Ya'ala bun Murrat –Allah yasiima kuye- yagamba Nabbi (s.a.w):

"أيما رجل ظلم شبرا من الأرض كلفه الله أن يحفره (وفي الطبراني: يحضره) حتى آخر سبع أرضين ثم يطوقه يوم القيامة حتى يقضي بين الناس" رواه الطبراني في الكبير 22\270 وهو في صحيح الجامع 2719

“Omuntu yenna alyazaamanya ettaka ekigero kya luta lumu Allah ajja kumulagira alileete balikubiseemu emirindi nsaanvu kulunaku lwenomerero bali mwetikkise okutuusa Allah lwalilamula wataki wabantu"

Omwonno muyingiramu n'oyo yenna akyusa kyusa empaanyi nensalosalo zettaka asobole okugaziya ettaka lye nga anyigiriza mulirwana we olwa Hadiith ya Nabbi (s.a.w):

"لعن الله من غير منار الأرض" رواه مسلم بشرح النووي 13\141

“Allah yakolimira oyo akyusakyusa ensalosalo z'ettaka"

OKUKKIRIZA EKIRABO OLWOKUWOLEREZA

Ekifo n'ekitiibwa wakatai w'abantu byebimu ku byengera bya Allah abaddu byebateekeddwa okwebaaza, era omuntu yenna eyebaza ekyengera ekyo akikozesa mukugasa baganda be Abasiraamu, era oyo ayingira butereevu mu hadiith ya Nabbi (s.a.w) egamba nti:

"من استطاع منكم أن ينفع أخاه فليفعل " رواه مسلم 3\1726

“Omuntu yenna asobola okugasa muganda we (omusiraamu) akikole".

N'oyo yenna asobola okugasa muganda we nga akozesa ekitiibwa kye oba ekifokye mukumujjirawo obulyazamaanyi obumukuleddwa ko oba nasobola okumutuusako ekirungi gyali nga talina haraamu gweyebagadde oba obulyazamaanyi bwonna ku haqqi y'omuntu omulala afuna empeera okuva eri Allah singa enniya ye eba nungi nga Nabbi (s.a.w) bweyagamba nti:

"اشفعوا تؤجروا " رواه أبو داود 5132 والحديث في الصحيحين فتح الباري 10\450 كتاب الأدب باب تعاون المؤمنين بعضهم بعضا.

“ Muwolereze mujja kuweebwa empeera".

Wabula tokkirizibwa kusaba sente olw'okuwolereza kwo. Obujulizi kwekyo ye hadiith ya Abu Umaama –Allah yasiima kuye- nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

"من شفع لأحد شفاعة, فأهدى له هدية (عليها) فقبلها (منه) فقد أتى بابا عظيما من أبواب الربا " رواه الإمام أحمد 5\261 وه في صحيح الجامع 6292

“Omuntu yenna awolereza omulala oluwolereza, n'awebwa ekirabo (olwokuwolereza okwo) nakikkiriza, aba ayigidde omulyango munene mu milyango gya riba".

Ne mubantu mulimu abasubizibwa okuweebwa sente (ekyoja mumiro) nga kuliko akakwakkulizo kokulondebwa mubifo ebyenjawulo oba okubaako bebagoba mubifo ebyo oba nebabatwala mu bitundu ebirala, oba okujjanjaba abalwadde baabwe nebintu ebirala ebigwa muttuluba eryo. Ekituufu kiri nti sente z'ofunye mungeri eno ziri Haraamu (Tezikkirizibwa) olwa Hadiith ya Abu Umaama gyetulabye gyebuvudde ko waggulu, era nga amakulu gaayo gabuna okutwala sente ezo wadde nga tewabadde kakwakkulizo konna era nga eyo yendaba ya Sheikh Abdul Aziiz bun Baaz ku nsonga eno. Omuntu yenna akola ekirungi nga asuubira empeera okuva eri Allah, ajja kugisanga kulunaku lwenkomerero mu maasa ga Allah.

Omusajja omu yajja eri Al Hassan bun sahali namusaba amuwolerezeko munsonga ye, bwatyo Al Hassan nakikola, omusajja yasanyuka era namwebaza, wabula Al Hassan yamugamba nti: ' Kiki kyonneebaza nga nze ndaba nti ekitiibwa nakyo kirimu zakkah nga ne mmaali nayo bwerimu zakkah'?.

Ensonga endala erina okutangaazibwa wano yenjawulo wakati w'okupangisa omuntu abeeko obuweereza bwakkolera nga ogenda kumusasula, n'okukozesa ekitiibwa n'ekifo kye okufuna sente, okupangisa omuntu okukuyamba kikkirizibwa kasita tekyawukana nabukwakkulizo bw'amateeka ga Sharia naye kyo okyokukozesa ekifo kyo nekitiibwa kyo bakuwe enguzi tekikkirizibwa.

OMUKOZI OKUMALIRIZA OMULIMU GWO N'OTAMUSASULA.

Nabbi Muhammadi (s.a.w) yatukubiriza okusasula omukozi empeera ye amangu ddala nga yakamaliriza omulimu, nagamba nti:

"أعطوا الأجير أجره قبل أن يجف عرقه " رواه ابن ماجة 2\817 وهو في صحيح الجامع 1493

“Muwe omukozi empeera ye (omusaala gwe) nga entuuyo tezinnakala"

Obumu ku bulyazamaanyi obuli mubitundu abasiraamu mwebawangalira bwebutawa bakozi misaala gyabwe nga bamaze emirimu egiba gibatumiddwa era nga ekyo kirina ebifanaanyi ebyenjawulo okugeza nga:

* Okwegaana omusaala gwe gwonna songa oluusi omukozi ayinza okuba nga talina bujulizi bwonna bulaga nti akubanja. Naye nno tutekeddwa okukimanya nti omukozi oyo nebwafiirwa sente ze ezo kuno kunsi olwobutaba nabujulizi, wabula ate mu maaso ga Allah tajja kuzifiirwa kubanga omulyazamaanyi ajja kujja kulunaku lwenkomerero nga yalya emmaali y'oyo gweyalyazamaanya Allah akwate ebirungi bye abiwe oyo gweyalyazamaanya bwebiriggaawo nga akyabangibwa balikwata ebibi by'oyo eyalyazamanyizibwa nebabissa kumulyazamaanyi oluvannyuma n'atwalibwa mu muliro.

* Okutoola ku musaala gwe natagumuwa gwonna nga tewali nsonga nunngamu songa Allah yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ وَيْلٌ لِلْمُطَفِّفِينَ المطففين: ١

{Okubonaabona kuli kw'abo abakendeeza ebipimo (abakumpanya)}.

Ebimu ku by'okulabirako byekyo yenkola bakama b'abantu abamu gyebakolamu nga bwaba afunye abakozi n'akola nabo endagaano (kubutya bwebalina okutambuzaamu emirimu nengeri gyagenda okubasasulamu) wabula ate bwebatandika omulimu endagaano nagikyusa mungeri eyokubefuulira nabagerekera emisaala emitono okusinziira kwegyo gyebakkaanya okusooka, olwokuba nti oluusi abakozi abo baba tebalina kyakkola embeera ebawaliriza okusigala nga bakola kubanga oluusi baba tebalina bukakafu bwonna bulaga musaala gwabwe ogwasooka nebasalawo ensonga yabwe okugikwasa Allah. Kyetulina okumanya kiri nti singa mukama wabwe oyo abeera musiraamu ate nga balyazaamanyizza sibasiraamu aba agadde omulyango gw'okubayingiza mu busiraamu.

* Okumwongerako emirimu emirala gyebatakkaanyako oluberyeberye oba nawanvuya obudde omukozi bwalina okumala kumulimu ng'akola wabula natamwongeza musaala mulala kwebyo ebyeyongedde mu.

Okukeereya okumusasula n'atamuwa sente ze okujjako luvannyuma lwakumwesibako nnyo, oba kumuloopa mubobuyinza oluusi ekigendererwa mukukeereya okumusasula kiba kya kukandaliriza mukozi oyo okutuusa lwakoowa n'ava kubyomukubanja oba okuba nga ayagala kugira nga akyazikozesa, ate abalala bazizaazisaamu songa bannannyini zo abanaku berya nkuta era nga tebalina sente zakuweereza ko bantu baabwe n'abaana babwe be baaleka emabega nebasalawo okubeera kumawanga basobole oba olyawo okubeerako obulungi gyebujja. Naye nno zibasaanze abo abalyazamaanyi abakola ebyo kubanga bakufuna ebibonerezo ebiruma ku lunaku lw'enkomerero. Hadiith nga eva ku Abu Hurairat nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba nti:

"قال الله تعالى: ثلاثة أنا خصمهم يوم القيامة ..........., ورجل استأجر أجيرا فاستوفى منه ولم يعطه أجره" رواه البخاري انظر فتح الباري 4\447

“Allah yagamba Abantu basatu ngenda kubavunaana kulunaku lwenkomerero, naye omu kubo ye musajja eyapangisa omuntu okubaako byamukolera wabula natamusasula oluvannyuma lw'okumaliriza omulimu gwe"

OBUTENKENYANKANYA WAKATI WABAANA MUKUGABA

Abantu abamu basalawo okusukkulumya abaana baabwe abamu kubalala nebabawanga ebirabo oba byebeetaga nga abalala tebabawadde, ekikolwa ekyo mubutuufu tekikkirizibwa (kyaziyizibwa) singa tewabaawo nsonga nungamu obusiraamu gyebukkiriza okugeza nga okuba nti ebwetaavu bwomu kubo sibwebwabalala nga obulwadde, ebanja, oba akasiimo nga akutte Qur'aan, oba okuba nti tannafuna mulimu, oba nga alina famire nnene nebirala. Mumbeera efaanana bwetyo omuzadde akkirizibwa okuwaako omwaana omu naye ate alina okuleeta enniya nti singa n'omulala kubo afuna embeera emu kuzino naye ajja kumuwa nga bwawadde ono. Obujulizi kwekyo ly'etteeka erigamba nti:

ﭧ ﭨ ﭽ ﯚ ﯛ ﯜ ﯝ المائدة: ٨

{…Mwenkanye nkanye, ekyo ky'ekisinga okuba okumpi n'okutya Allah.}.

Ne Hadiith ya Nu'uman bun Bashiir –Allah yasiima kuye- yagamba:

"عن النعمان بن بشير رضي الله عنهما أن أباه أتى به إلى رسول الله صلى الله عليه وسلم فقال: إني نحلت ابني هذا غلاما (أي وهبته عبدا كان عندي) فقال رسول الله صلى الله عليه وسلم: أكل ولدك نحلته مثله؟ فقال لا فقال رسول الله صلى الله عليه وسلم فأرجعه " رواه البخاري انظر الفتح 5\211 وفي رواية فقال رسول الله صلى الله عليه وسلم : "فاتقوا الله واعدلوا بين أولادكم " قال فرجع فرد عطيته الفتح 5\211 . وفي روايه " فلا تشهدني إذا فإني لا أشهد إلى الجور" صحيح مسلم 3\1243

“Hadiith nga eva ku Nu'uman bun Bashiir – Allah yasiima kuye yagamba nti: Mazima kitaawe yajja eri Nabbi (s.a.w) namugamba nti: nawadde omwaana wange ono omuddu nga ekirabo, Nabbi kyaava amubuuza nti: Abaanabo bonna wabawadde ekirabo ekifaanana bwekityo? N'agamba nti nedda, Nabbi (s.a.w) kyava amugamba nti kimujjeeko" Hadiith eri mubukhaar, ate munjogera endala Nabbi (s.a.w) n'agamba nti “ Mutye Allah, mwenkanyenkanye wakati w'abaana bammwe" nagamba nti naddayo ekirabo nakimujjako. Ate era munjogera endala eya Musirimu Nabbi (s.a.w) yagamba: (Bwoba nga abaanabo bonna tobawadde kirabo kifaananako bwekityo) tonfuula mujulizi kubanga nze mazima sijulira ku bulyazamaanyi".

Wabula ate kikkirizibwa okusukkulumya omwana omulenzi kumuwala n'aweebwa ekisinga ku kikye emirundi ebiri era nga bwekiri muby'obusika. Era nga ekyo kyekigambo kya Imaam Ahmada, nga kyegattibwako Imaam Ibn Alqayyimu.

Abatunuulizi b'embeera z'amaka engenjawulo b'akizuula nti abazadde bangi abatatya Allah basukkulumya abaana baabwe abamu kubalala mukubawa ebyetaago ekintu ekiretawo obukukuuzi mu mitima gy'abo abataweereddwa era n'ekisiga obukyaayi n'enge wakati waabwe, Ate abazadde abamu bawa abaana olwokuba babafaanana nebamma abatabafaanana, oba nebawa abaana b'omukyala asinga obugaanzi byebatawa baana babwe abalala, oba okutwala abaana abamu mu masomero amalungi ate abalala nebatabafaako. Omuzadde yenna akola ekyo akimanye nti kijja kumuddira gyebujja kubanga omwana kasita tomufaako kiba kizibu nnyo okukugondera mubiseera ebyomumaaso.Kyova olaba nti Nabbi (s.a.w) yagamba omuzadde eyali asukkulumya abaana be abamu kubalala nti:

"....... أليس يسرك أن يكونوا إليك قي البر سواء.... " رواه الإمام أحمد 4\269 وهو قي صحيح مسلم رقم 1623

“……Abaffe gwe tekikusanyusa okuba nga abaanabo bakugondera kyenkanyi…"?

OKUSABIRIZA NGA TEWALI BWETAAVU

Hadiith nga eva ku Sahali bun Handhaliya –Allah yasiima kuye- nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

"من سأل وعنده ما يغنيه فإنه يستكثر من جمر جهنم قالوا وما الغنى الذي لا تنبغي معه المسألة قال قدر ما يغديه ويعشيه " رواه أبو داود 2\281 وهو في صحيح الجامع 6280.

“Omuntu yenna asabiriza nga alinawo ekimumala, mazima aba ayitiriza kukunganya manda ga mu muliro jahannamu, nebagamba nti kigero ki ekimala omuntu kyatagwanidde kusaba nga akirina, n'agamba nti ekimumala ekyemisana n'ekyeggulo".

Hadiith endala nga eva ku Ibn Masuud –Allah yasiima kuye- yagamba Omubaka wa Allah (s.a.w) nti:

" من سأل وله ما يغنيه جاءت يوم القيامة خدوشا أو كدوشا في وجهه" رواه الإمام أحمد 1\388 انظر في صحيح الجامع 6255.

“Omuntu yenna asabiriza nga alina ekimumala ajjakujja kulunaku lwenkomerero nga talina nnyama mukyenyi".

Abantu abamu abatalina nsonyi bayimirira mu maaso g'abaddu ba Allah nebabataataganya nga baleeta obulaadi bwabwe ne Adhikaar ze swalah nga ewedde nga babategeeza ebizibu byabwe, ate abamu kubo balimba nga balaga empapula engingirire (eziba ziraga obuzibu bwabwe) n'okugunjaawo emboozi ez'obulimba (nga bannyonnyola embeera gyebalimu) abamu bagabanya abantu benyumba zabwe mu mizikiti egyenjawulo basobole okukungaanya sente mu bantu songa embeera gyebalimu awaka ebasobozesa obutasabiriza era nga bwebaba nga bafudde ebyobugagga byabwe byeyoleka. Ate abetaavu abaddala bbo olw'okuba nti bakuuma ensa zaabwe nebatasabiriza abantu balowooza nti bbo bali buluungi bwebatyo nebatabawa kantu konna.

OKWEWOLA EBBANJA N'EKIGENDERERWA EKY'OBUTALISASULA

Ebivunanwa by'abantu mu maaso ga Allah binene era bizito, omuntu asobola okweyambulula ebivunaanwa bya Allah (singa aba abilagajjalidde) n'okwenenya naye ate ebivunaanwa by'abantu (byebakubanja) tosobola kubyeyambulula okujjako nakubiddiza bannanyini byo oluberyeberye nga olunaku luli abantu lwebatagenda kulamulwa wakati waabwe na sente oba emmaali wabula namirimu mirungi oba emibi telunnatuuka, Allah yagamba mu Qur'aan eyekitiibwa:

ﭧ ﭨ ﭽ ﯙ ﯚ ﯛ ﯜ ﯝ ﯞ ﯟ ﯠ ﯴ النساء: ٥٨

{Mazima Allah abalagira okuwaayo obwesigwa eri bannannyinibwo…}.

Ebimu kubintu ebikyaase ennyo mubantu baffe kwe kulagajjalira ensonga y'okwewola, abantu abamu tebewola lwa bwetaavu bwamaanyi wabula lwakwagala kulaba ku sente nnyingi munsawo zaabwe oba lwa kwagala kugula bintu byakwejalabya nga okugula mmotoka empya eyakafuluma oba kukyuusa bintu bya munnyumba n'ebintu ebirala mw'ebyo ebisuula abantu kumanja nga n'engeri gye bewolamu eyingiramu haraamu ebiseera ebisinga obungi.

Okulagajjala munsonga yokwewola kivaamu okeerewa okusasula oluusi n'okutta sente z'abantu, so nga Nabbi (s.a.w) yalabula abantu abazannyira mu sente zabannaabwe nalaga enkomerero yekikolwa ekyo n'agamba nti:

" من أخذ أموال الناس يريد أدائها أدى الله عنه ومن أخذ يريد اتلافها أتلفه الله" رواه البخاري انظر فتح الباري 4\54

“Oyo yenna akwata (eyewola) sente z'abantu n'ekigengererwa eky'okuzisasula (oluvannyuma) Allah amukwatiza ko, ate azewola n'ekigendererwa ekyokuzitattana naye Allah amutattana".

Abantu bangi bagayalirira amabanja nebakitwala nga eky'olusaago songa ewa Allah kinene so nga n'omuntu afudde nga Shahiid newankubadde abeera mukifo neddaala elyawaggulu mu maaso ga Allah naye tayita ku kaguwa kakubanjibwa era nga obujulizi kwekyo ye Hadiith ya Nabbi (s.a.w) egamba nti:

" سبحان الله ما ذا أنزل الله من التشديد في الدين والذي نفسي بيده لو أن رجلا قتل في سبيل الله ثم أحيي ثم قتل ثم أحيي ثم قتل وعليه دين ما دخل الجنة حتى يقضى عنه دينه" رواه النسائي انظر المجتبى 7\314 وهو في صحيح الجامع 3594

“Yayawukana Allah, kintu ki Allah kyeyamyumyuula okwenkana ebbanja! Nayira Allah oyo awaniridde omwoyo gwange mumukono gwe singa omusajja attibwa mukkubo lya Allah oluvannyuma naddizibwa obulamu n'oluvannyuma n'attibwa, n'oluvannyuma n'addizibwa obulamu n'oluvannyuma n'attibwa, tasobola kuyingira jjanah okutuusa nga ebbanja limaze kumusasulirwa".

Abaffe oluvannyuma lw'ebyo byonna onaddamu okulagajjalira ebbanja?.

OKULYA HARAAMU

Omuntu yenna atatya Allah tafaayo wa gyajje sente namubiki mwazisasaanyiza wabula ekisinga obukulu gyali kuweza muwendo gwa sente zayingiza nebweziba nga za haraamu nga abbye nzibe, oba zivudde munguzi, oba anyakudde nyakule, oba akyupudde kyupule, oba atuunze haraamu, oba zivudde mu riba, oba alidde mmaali yabamulekwa, oba mu mulimu gwa haraamu nga okusawula, oba mu bwamalaaya, oba kuyimba, oba kutoola mu bayitul-maali y'obusiraamu (mubukyamu) oba sente ze gwanga, oba nga za muntu sekinnoomu, oba okusabiriza nga tewali bwetaavu, nebilala ebiringa ebyo oluvannyuma nagulamu ebyokulya n'okwambala oba ekyebagalwa oba n'azimbamu ennyumba, oba nagipangisa nga ataddemu buli kimu, nayingiza haraamu mulubuto lwe ate nga Nabbi (s.a.w) yagamba nti:

" كل لحم نبت في سحت فالنار أولى به" رواه الطبراني في الكبير 19\136 وهو في صحيح الجامع 4495 .

“Buli mubiri gwonna oguwangalira ku haraamu, okugwokya omuliro kyekisinga obulungi gyeguli".

Era buli muntu ateekeddwa okukimanya nti wakubuuzibwa kulunaku lwenkomerero wa gyeyajja emmaali gyeyalina era mubiki mweyagisasaanya era nga waliyo okufafaaganirwa n'okuzikirira. Buli muntu yenna amanyi nti alina emmaali eya haraamu ayanguyirize okugyejjako bwebanga yali ya muntu agizzeeyo mangu eri nnyini yo okwo gattako n'okumusaba amusonyiwe oluberyeberye nga olunaku telunnajja abantu lwebatagenda kulamulwa (kusasuligana) na dirihamu wadde dinar (sente) wabula namirimu emirungi n'emibi.

OKUNYWA OMWENGE KALIBE TONDO LIMU BWELITI

Allah yagamba mu Qur'aan eyekitiibwa:

ﭧ ﭨ ﭽ ﭑ ﭒ ﭓ ﭔ ﭕ ﭖ ﭗ ﭘ ﭙ ﭚ ﭛ ﭜ ﭝ ﭞ ﭟ ﭠ المائدة: ٩٠

{Abange mmwe abakkiriza! mazima omwonge ne zzaala n'amasanamu (ebifaananyi) n'obusaale (obulagula n'ebirala ng'ebyo) byenyinyalwa bya mu mirimu gya sitaane. Mubyewale oba olyawo munesiima }

Allah okutulagira okubyewala kabonero kankukunala nti yabiziyiza gyetuli, era Allah okwogera omwenge wamu namasanamu (ebibumbe abashiriku byebasinza nga) kabonero akalaga nti biri haraamu newankubadde ekigambo haraamu tekyogeddwa butereevu.

Obujulizi obulala bwajja mu sunnah za Nabbi (s.a.w) nga bulabula abo abanywa omwenga, Hadiith nga eva ku Jaabir – Allah yasiima kuye- nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba nti:

"........ إن على الله عز وجل عهدا لمن يشرب المسكر أن يسقيه من طحينة الخبال" قالوا: يارسول الله وما طحينة الخبال؟ قال: عرق أهل النار أو عصارة أهل النار " رواه مسلم 3\1587.

“……Mazima Allah owekitiibwa yalaganyisa oyo yenna anywa ebitamiiza okumunywesa Twahinatu Alkhabaal, nebamubuusa nti: Twahiinat Al khabaal kyekki owange omubaka wa Allah? Nabagamba nti: Ntuuyo zabantu b'omumuliro oba mubisi (olweje) lwabatu b'omumuliro".

Hadiith endala nga eva ku Ibn Abbaasi nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

" من مات وهو مدمن خمر لقي الله وهو كعابد وثن " رواه الطبراني 12\45 وهو في جامع الصحيح 6525.

“Omuntu yenna afa ng'anywa omwenge ajja kusisinkana Allah nga alinga asinza essanamu".

Ebika bw'omwenge nebitamiiza bikyaase byansusso ensangi zino era nga birina amannya agenjawulo mangi munnimi ezenjawulo nga biya, walagi tonto, kitoko, senator, nile special, vodika, namannya amalala manyi nnyo, era walabiseewo kumulembe guno ekika kyabantu Nabbi (s.a.w.) kyeyayogerako nagamba:

" ليشربن ناس من أمتي الخمر يسمونها بغير اسمها" رواه الإمام أحمد 5\342. وهو في صحيح الجامع 5453.

“Abantu b'omulembe gwangwe bajja kunywa nga omwenge naye nga bagutuuma amannya agatali gaagwo".

Bwebatyo bagutuuma amaanya agenjawulo mungeri ya kubuzabuuza nakukwenya kwenya mukifo ky'okuguyita omwenge. Allah yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ ﭸ ﭹ ﭺ ﭻ ﭼ ﭽ ﭾ ﭿ ﮀ ﮁ ﮂ البقرة: ٩

{Balowooza nti bakwenyakwenya Allah n'abo abakkiriza sso bambi bakwenyakwenya mitima gyabwe naye tebakitegeera!}.

Sharia y'obusiraamu yajja nekikutula ggoye okumalawo embeera y'okubuzabuza era nga kino kirabikira mu bigambo bya Nabbi (s.a.w) bweyagamba nti:

" كل مسكر خمر وكل خمر مسكر" رواه مسلم 3\1587.

“Buli kitamiiza mwenge, nabuli mwenge kitamiiza".

Buli kintu kyonna ekikyuusa obwongo nekibutamiiza kiri haraamu (tekikkirizibwa) kibe kingi oba kitono olwa Hadiith egamba nti:

" ما أسكر كثيره فقليله حرام" فقد رواه أبو داود رقم 3681, وهو في صحيح أبي داود 3128.

“Buli kitamiiza mubungi, nemubutono bwakyo tekikkirizibwa".

Omwenge ne bwe gutuumibwa amannya agenjawulo gusigala mwenge era n'okulamula kusigala kwekumu kumanyiddwa.

N'ekisembayo kuno kubuulirira okuva eri Nabbi (s.a.w) eri abanywi b'omwenge bweyagamba nti:

" من شرب الخمر وسكر لم تقبل له صلاة أربعين صباحا وإن مات دخل النار فإن تاب تاب الله عليه وإن عاد فشرب فسكر لم تقبل له صلاة أربعين صباحا وإن مات دخل النار فإن تاب تاب الله عليه وإن عاد كان حقا على الله أن يسقيه من ردغة الخبال يوم القيامة قالوا: يارسول الله وما ردغة الخبال ؟ قال: عصارة أهل النار " رواه ابن ماحجة 3388 وهو في صحيح الجامع 6313.

“Omuntu yenna anywa omwenge n'atamiira esswala ze tezikkirizibwa okumala ennaku makumi ana (40), era bwafiira awo ayingira omuliro, naye bweyenenya Allah amusonyiwa, bwaddamu nagunywa era esswala ze tezikkirizibwa okumala ennaku makumi ana, bweyenenya Allah amusonyiwa, bwaddamu nagunywa Allah aba asanidde okumunywesa olweje lwabantu bomumuliro".

OKUKOZESA EBYANZI BYA ZAABU NE FEEZA MU KULYA N'OKUNYWA

Kizibu nnyo ensangi zino okusanga ebifo ebitunda ebintu ebikozesebwa awaka nga temuli bya zaabu ne feeza oba ebisigiddwako zaabo ne feeza, nabwekityo amaka g'abagagga, ne mu woteeri ezebbeeyi, era ebintu bino (ebya zaabu ne feeza) ensangi zino byafuuka ekirabo eky'omuwendo abantu kyebatonera bannaabwe kumikolo egyenjawulo, Abantu abamu bayinza obutabiteeka mu mayumba gabwe naye ate nga babikozesa mu maka gabalala ne kumbaga, okukozesa ebintu ebyo tekikkirizibwa mu busiraamu era Nabbi (s.a.w) yalabula olulabula olwamaanyi eri abo ababikozesa. Hadiith nga eva ku Ummu salama –Allah yasiima kuye- nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

" إن الذي يأكل ويشرب في آنية الفضة والذهب إنما يجرجر في بطنه نار جهنم" رواه مسلم 3\1634.

“Mazima oyo aliira era n'anywera mu byanzi bya feeza ne zaabu, mazima aba ateeka mulubuto lwe muliro gwa jahannama".

Okulamula okwo kubuna buli kintu ekikozesebwa mukulya nga amasiniya, amasowaani, ewuuma, ebigiiko, oba ebibakuli byabagenyi nebitule ebiteekebwamu ebyokulya ebiwomerera kumikolo nga buswiiti, keeki nebirala.

Abantu abamu bagamba nti ffe tetubiriirako wadde okubinywerako wabula tubissa mu masa oba muddoloowa nga ebyokwewunda, naye ekyo nakyo tekikkirizibwa olw'okwewala okubikozesa (Okusinziira ku bigambo bya Sheikh Abdul Aziiz Ibn Baazi).

OKUWA OBUJULIZI OBWOBULIMBA.

Allah yagamba mu Qur'aan eyekitiibwa:

ﭧ ﭨ ﭽ ذَٰلِكَۖ وَمَن يُعَظِّمۡ حُرُمَٰتِ ٱللَّهِ فَهُوَ خَيۡرٞ لَّهُۥ عِندَ رَبِّهِۦۗ وَأُحِلَّتۡ لَكُمُ ٱلۡأَنۡعَٰمُ إِلَّا مَا يُتۡلَىٰ عَلَيۡكُمۡۖ فَٱجۡتَنِبُواْ ٱلرِّجۡسَ مِنَ ٱلۡأَوۡثَٰنِ وَٱجۡتَنِبُواْ قَوۡلَ ٱلزُّورِ الحج: ٣٠

{…..Kale mwewale ebyenyinyalwa (amasanamu) era mwewale ekigambo ky'obulimba}.

Hadiith nga eva ku Abdul rahmaan bun Abi Bakarat nga agijja ku kitaawe yagamba:

" كنا عند رسول الله صلى الله عليه وسلم فقال: ألا أنبئكم بأكبر الكبائر "ثلاثا" الإشراك بالله , وعقوق الوالدين- وجلس وكان متئكا- فقال: ألا وقول الزور قال فما زال يقررها حتى قلنا: ليته سكت " رواه البخاري انظر الفتح 5\261.

“Twali awali omubaka wa Allah –Okusaasira nemirembe bibeere kuye- nagamba nti: Abange mbabuulire ku mazambi agasinga obunene 'emirundi esatu' Okugatta ku Allah ekintu ekirala, okuvuma abazadde, kyava atuula nga yesigamye, nagamba: N'obujulizi obw'obulimba, nagamba nti yakiddingana emirundi nemirundi okutuusa lwetwagamba (mu mitima gyaffe) nti: singa asirise".

Okuddingana kwa Nabbi (s.a.w) ekigambo ekyo nti no'bujulizi obwobulimba, yagenderera mu kulabula bantu olwokuyitiriza okulagajjalira ensonga eyo, n'olwokuba nti ebintu ebivaamu bingi nga obulabe wakati w'abantu, obukyayi, obukukuuzi nebintu ebikyamu ebirala bingi, Abantu bameka abafiiriddwa ebyabwe olw'obujulizi obw'obulimba, era bameka abalyazamanyiziddwa nga tebalina musango olwekyo, era abantu bameka abafunye byebatateekeddwa kufuna, oba okuyingizibwa mubika ebitali byabwe !.

Era ebimu ebiraga okulagajjalira ensonga eno byebibaawo mu makooti nga omuntu okugamba gwasanze obusanzi nti: njulira ku kintu kino era naye namujulira songa ensonga yetagisa obukakafu mubwennyini bwayo, nga okujulira ku bwanannyini bw'ettaka, ku nyumba nebirala naye nga amujulira talina walala weyali amulabye okujjako awo mulujja oba kumulyango gwa kkooti. Obwonno bulimba bwennyini era bwonoonefu obuwedde emirimu, kalenno kisanidde obujulizi okuba nti buzimbiddwa kukumanya nga bwekiri mu Qur'aan eyekitiibwa mu aya egamba nti:

ﭧ ﭨ ﭽ ارْجِعُوا إِلَى أَبِيكُمْ فَقُولُوا يَا أَبَانَا إِنَّ ابْنَكَ سَرَقَ وَمَا شَهِدْنَا إِلَّا بِمَا عَلِمْنَا وَمَا كُنَّا لِلْغَيْبِ حَافِظِينَ يوسف: ٨١

{…Tetujulidde wabula ekyo kyetumanyi (kye twalabye)}.

OKUWULIRIZA ENNYIMBA N'EBIDONGO

Swahaba ayitibwa Ibn Masuud yali nga alayira erinnya lya Allah nti ekigendererwa mu aya egamba nti:

ﭧ ﭨ ﭽ وَمِنَ النَّاسِ مَنْ يَشْتَرِي لَهْوَ الْحَدِيثِ لِيُضِلَّ عَنْ سَبِيلِ اللَّهِ بِغَيْرِ عِلْمٍ وَيَتَّخِذَهَا هُزُوًا أُولَئِكَ لَهُمْ عَذَابٌ مُهِينٌ لقمان: ٦

{Ne mu bantu mulimu oyo agula emboozi ezirabankanya (ezitaliimu makulu) alyoke abuze (abantu) okubajja ku kkubo lya Allah awatali kusinziira ku kumanya n'abifuula (ebigambo bya Allah) ebyolusaago. Abo bo balina ebibonyobonyo ebinyoomesa}.

Emboozi ezitalina makulu z'ennyimba nga bwekiri mu tafusiir ya Ibn kathiir 6/333.

Hadiith nga eva ku Abu A'mir ne Abu Maalik Al ash'ariy – Allah yasiima kubo bombiriri- nga bagijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

" ليكونن من أمتي أقوام يستحلون الحر والحرير والخمر والمآزف....." رواه البخاري انظر الفتح 10\51.

“Wajja kubaawo abantu mukibiina kyange nga bakkiriza (okufuula halaal) engoye eza sirik, omwenge nemirere (wamu n'ennyimba)".

Era Nabbi (s.a.w) yagaana enngoma, n'emirere nagamba nti eddoboozi lyomulere liwulirizibwa muntu atalina magezi omwononefu.

N'abamanyi abakulembeera nga Imaam Ahmada begatta ku kyokuba nti ebivuga ebyamasanyu nga endongo, jaazi, emirere, nebirala ebigwa mu kkowe eryo nti biri haraamu (tebikkirizibwa) ssi nsonga biriko amaloboozi amatabule (ennyimba) oba nedda kubanga bireetera okufa kw'omutima n'obunnanfuusi era nga okutwalira awamu ennyimba nebidongo byafuuka ekikemo ekisinga obunene ku mulembe gwaffe guno.

Nga nekyasinga okuletera embeera okwononeka kwekuyingira kwendongo mubintu ebisinga obungi nga amasaawa, amasimu, ebizannyisibwa by'abaana ebyuuma bikalimagezi nebirala, nekiba nti okubyewala kyetagisa obuvumu obwenjawulo. Tusaba Allah atusaasire.

OKUGEYA

Kwafuuka okugeya abasiraamu ekibala entuula ezenjawulo kweziwummulira, okwo saako okukakkanya ebibitiibwa byabwe, songa ekikolwa ekyo obusiraamu bwakigana. Allah yagamba mu Qur'aan:

ﭧ ﭨ ﭽ يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا اجْتَنِبُوا كَثِيرًا مِنَ الظَّنِّ إِنَّ بَعْضَ الظَّنِّ إِثْمٌ وَلَا تَجَسَّسُوا وَلَا يَغْتَبْ بَعْضُكُمْ بَعْضًا أَيُحِبُّ أَحَدُكُمْ أَنْ يَأْكُلَ لَحْمَ أَخِيهِ مَيْتًا فَكَرِهْتُمُوهُ وَاتَّقُوا اللَّهَ إِنَّ اللَّهَ تَوَّابٌ رَحِيمٌ الحجرات: ١٢

{Era abamu tebageyanga bannaabwe, Abaffe omu mu mmwe yandyagadde okulya ennyama ya muganda we nga afudde? Nedda, temukyagala (ekyo; n'olw'ekyo na biri mubitamwe).}

Nabbi (s.a.w) yannyonnyola amakulu g'okugeya bweyagamba nti:

" أتدرون مالغيبة؟ قالوا الله ورسوله أعلم. قال: ذكرك أخاك بما يكره, قيل: أفرأيت إن كان في أخي ما أقول, قال: إن كان في أخيك ما تقول فقد اغتبته وإن لم يكن فيه فقد بهته" رواه مسلم 4\2001.

“Abange mu manyi okugeya kye kki? Nebagamba nti: Allah n'omubakawe be basinga okumanya, Nagamba nti: Kwe kwogera ku muganda wo (omusiraamu) n'ekyo kyatamwa, nebagamba: Olaba otya bwemmwogerako ekyo kyakola, nagamba: Bwaba nga mugandawo kyomwogeddeko akikola oba omugeyezza, ate bwaba nga takikola olwo oba omutemeredde".

Nabwekityo okugeya kwekwogera ku musiraamu munno ekyo kyomanyi nti akikola oba akirina si nsonga kiri kumubiri gwe oba munzikiriza ye oba mumbeera ze ezensi, oba mumpisa ze, oba mubutonde bwe, era nga okugeya kulina ebifaananyi ebyenjawulo nga okwogera obumogo bwa musiraamu munno, oba okwogera ku neyisa ye mumbeera ey'okumulamula.

Abantu bangi banyomerera ensonga y'okugeya songa nnene era mbi nnyo mu maaso ga Allah. Obujulizi kwekyo ye Hadiith ya Nabbi (s.a.w) egamba nti:

" الربا اثنان وسبعون بابا أدناها مثل اتيان الرجل أمه وإن أربى الربا استطالة الرجل في عرض أخيه" السلسلة الصحيحة 1871.

“Riba alina emilyango nsanvu mwebiri, okusembeyo obutono gulinga / gwenkanankana nga omusajja okugenda eri nnyina (munsonga z'obufumbo) ate riba asinga obunene ye musajja okutyoboola ekitiibwa kya mugandawe omusiraamu".

Kyatteeka eri omusiraamu abadde mukifo ekyo (omubadde okugeya) okuziyiza empisa embi ng'alwanirira ekitiibwa kya muganda we ageyeddwa, Nabbi (s.a.w) yakutubiriza okulwanirira ebitiibwa bwabannaffe nagamba nti:

" من رد عن عرض أخيه , رد الله عن وجهه النار يوم القيامة" .رواه أحمد 6\450 وهو في صحيح الجامع 6238.

“Omuntu yenna alwanirira ekitiibwa kya muganda we (omusiraamu) Allah ajja kulwanirira ekyenyi kye obutayingira muliro kulunaku lw'okuyimirira/ olwenkomerero"

OLUGAMBO

Okutambuza ebigambo ebitabulatabula wakati w'abantu okuva mukifo ekimu okudda mukirala z'ezimu kunsonga ezikutulawo enkolagana n'oluganda n'okukuma omuliro gw'obukukuuzi, enge, obutaagalana n'obukyaayi wakati w'abantu. Allah yakivumirira era natwekesa omuntu yenna akola ekikolwa ekyo nagamba nti:

ﭧ ﭨ ﭽ وَلَا تُطِعْ كُلَّ حَلَّافٍ مَهِينٍ (10) هَمَّازٍ مَشَّاءٍ بِنَمِيمٍ القلم: ١٠ - ١١

{Era togonderanga buli mulayizirayizi ayitiriza, anyoomwa * omugeyi omubungeesa w'enngambo (n'ebyakalebule)}.

Hadiith nga eva ku Huthaifat nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba nti: “ Tajja kuyingira Janah oyo obungeesa engambo".

Hadiith endala nga eva ku Ibn Abbaas yagamba:

" مر النبي صلى الله عليه وسلم بحائط \ بستان من حيطان المدينة فسمع صوت من إنسانين يعذبان في قبورهما فقال النبي صلى الله عليه وسلم : يعذبان وما يعذبان في كبير - ثم قال- بلى "وفي رواية : وإنه لكبير " كان أحدهما لا يستتر من بوله, وكان الآخر يمش بالنميمة" رواه البخاري انظر فتح الباري 1\317

“Nabbi (s.a.w) lumu yayita kunnimiriro eno kunkingirizi yekibuga Madiina nawulira emaloboozi g'abantu babiri nga babonerezebwa muntaana zaabwe kyava agamba nti: Mazima abantu bano babonerezebwa naye silwa kuba nti bakola ezambi ddene, -munjogera ya Hadiith endala: Babonerezebwa lwa zambi ddene- Omu kubo yalinga teyeeziyiza musulo gwe (butamusammukira nga amaliriza ekyetaago) ate omulala yalinga abungeesa olugambo"

Ebimu kubyokulabirako by'ekikola ekyo ye Mukyala okwogera ebyama bya bba oba ekyennyume, ekikolwa ekyo kisse amaka g'abantu bangi, oba abakozi kumirimu egyenjawulo okubuungeesa enngambo wakati wabwe naye ebyo byonna obusiraamu bwabigaana.

OKULINGIZA MUNJU Z'ABANTU NGA TOFUNYE LUKUSA

Allah owekitiibwa yagamba mu Qur'aan nti:

ﭧ ﭨ ﭽ يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا لَا تَدْخُلُوا بُيُوتًا غَيْرَ بُيُوتِكُمْ حَتَّى تَسْتَأْنِسُوا وَتُسَلِّمُوا عَلَى أَهْلِهَا ذَلِكُمْ خَيْرٌ لَكُمْ لَعَلَّكُمْ تَذَكَّرُونَ النور: ٢٧

{Abange mmwe abakkiriza temuyingiranga mu nnyumba ezitali zammwe okutuusa lwe mu malanga okusaba okubakkiriza – Ne mulamusa eri bannannyinizo (bwe bakkiriza olwo ne mulyoka muyingira). Ekyo kye kirungi ku mmwe kyaddaaki ne mujjukira}.

Nabbi (s.a.w) mukukkaatiriza ensonga eyo yagamba nti mazima ekigendererwa ekikulu mukusaba okukkirizibwa okuyingira mu nnyumba y'omuntu omulala kutya kutunuulira ensa zabalala singa obagwako bugwi nga tebakwetegekedde. Ensangi zino olw'okuba nti amayumba galilaniganye nyo nga n'agamu gakwataganye, amadirisa gali kumpi nakumpi wamu ne milyango kyangu nnyo okubikkuka kwe nsa zamuliraanwa oluusi abamu batunula munju zabannaabwe mubutanwa ate abalala mubugenderevu naddala abasula waggulu batunuulira abali kumyaliiro egiri wansi. Ebyo byonna bitwalibwa muttuluba lyabukumpanya, n'okutyoboola ekitiibwa kya muliraanwa wo era limu kumakubo agatwala eri haraamu nga kireetawo ebikemo bingi mubantu, Obusiraamu olwokwagala okkomya embeera eyo bwajjawo engassi nokuwoolera eri oyo yenna agyamu eriiso ly'omuntu singa aba alingiza munyumba yo. Nabbi (s.a.w) yagamba:

" من اطلع في بيت قوم بغير إذنهم فقد حل لهم أن يفتئوا عينه" رواه مسلم 3\1699.

“Omuntu yenna alingiza munju yabantu (abalala) nga takkiriziddwa, bannannyiniyo baddembe okumujjamu (okumutungulamu) eriiso".

ABABIRI OKWEKUBA AKAAMA NGA MUBADDE BASATU

Ezimu ku nsobi ezikolebwa muntuula ezenjawulo be bantu abamu okwogera obwaama nebaleka bannaabwe abamu bebali nabo ebbali omusiraamu osanye okujjukira nti eryo lyerimu kumakubo sitaane mweyita okwawula wakati wabantu bwe tandika okubalowoozesa nti babageya oba baboogerako ebikyaamu. Nabbi (s.a.w) okutangira embeera eyo yagamba:

" إذا كنتم ثلاثة فلا يتناجى رجلان دون الآخر حتى يختلطوا بالناس أجل أن ذلك يحزنه " رواه البخاري انظر فتح الباري 11\83.

“Bwemubanga muli basatu ababiri kummwe tebogeranga akaama nebalekawo owokusatu okutuusa nga yetabise mubantu (abalala) olwokutya okumunakuwaza".

Era omwo muyingiramu abasatu okwekuba obwaama lebalekawo ow'okuna n'abwekityo abamu okwogera olulimi lwebamanyi nti gwebali naye talumanyi. Embeera eno erimu okukakkanya munnaabwe oyo oba okumulowoozesa nti baagala kumutuusa ko kabi n'ebirala ebigwa muttuluba eryo.

ABASAJJA OKUKWEYESA ENGOYE

Ebimu kubintu abantu byebanyomerera ate nga ewa Allah binene kwe kukweyesa engoye nga nakyo kitegeeza okuwanvuya olugoye nelusukka wansi w'obukongovule, abantu abamu bazireka nezikoona muttaka ate abandi bazireka nezikweya nga basika nsike. Hadiith nga eva ku Abu Dharri nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

" ثلاثة لا يكلمهم الله يوم القيامة ولا ينظر إليهم ولا يزكيهم ولهم عذاب أليم: المسبل -وفي رواية: إزاره- والمنان والمنفق سلعته بالحلف الكاذب" رواه مسلم 1\102.

“Abantu basatu Allah tagenda kwogera nabo kulunaku lwe nkomerero, tajja kubatunulako, tajja kubatukuza era nga balina ebibonerezo ebiruma: (omusajja) Akweyesa engoye ze, Alaalaasa oyo gwawadde, nawaayo ekyamaguzi kyatuunda nga alayira okulayira kw'obulimba".

Omuntu agamba nti okukweyesa kwange sikwa kwekuza nakwekuluntaza aba yetukuza mwoyo gwe olwetukuza olutakkirizibwa ate era okulaganyisa eri akweyesa kubuna abantu bonna (abakola ekikolwa ekyo) si nsonga akikola lwa kwekuza oba nedda era nga Hadiith ya Nabbi (s.a.w) bwegamba:

" كل ما أسفل من الكعبين من الإزارة ففي النار" رواه الإمام أحمد 6\254. وهو في صحيح الجامع 5571 .

“Buli asussa enkutu ye (engoye ze) obukongovule wammuliro"

Naye era singa akweyesa lwakweraga nakwekuza ate oyo ekibonerezo ze kiba kineneko era ayingira butereevu mu kigambo kya Nabbi (s.a.w) ekigamba nti:

" من جرى ثوبه خيلاء لم ينظر الله إليه يوم القيامة" رواه البخاري 3465 ط البغا.

“Omuntu yenna akweyesa engoye ze mukweeraga n'okwekuza, Allah tagenda ku mutunulako kulunaku lwenkomerero". Kubanga aba agasse wakati webyaziyizibwa bibiri.

Okukweyesa kwaziyizibwa kubyambalo byonna nga bwekiri mu Hadiitha ya Ibn Umar nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

" الإسبال في الإزار والقميص, والعمامة, من جرى منها شيئا خيلاء لم ينظر الله إليه يوم القيامة " رواه أبو داود 4\353 . وهو في صحيح الجامع 2770 .

“Okukweyesa kubeera mu nkutu, ekanzu, nekiremba, omuntu yenna akweyesa ekimu kubyo mukweraga, Allah tajja kumutunulako kulunaku lwenkomerero".

Ate omukyala obusiraamu bwamukkiriza okukweyesa engoye ze ekigero kyaluta oba enta nga bbiri asobole okubikka ebigere bye olwokutya okubikkuka singa empewo efuuwa olugoye lwe nebirala naye ate takkirizibwa kusukka kkomo nga abamu bwebakola naddala engoye zabagole bazireka nezisukka ekkomo ekigero kya mita namba oluusi nga basika nalusike emabega.

OMUSAJJA OKWAMBALA ZAABU MUKIFAANANYI KYONNA KYABAAMU

Hadiith nga eva ku Abu Muus Al Ashi-ary nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

" أحل لإناث أمتي الحرير والذهب وحرم على ذكورها " رواه الإمام أحمد 4\393 انظر صحيح الجامع 207.

“Bakkirizibwa abakyala b'ekibiina kyange okwambala zaabu ne siriki nebiziyizibwa eri Abasajja mukyo".

Naye mubutale olwaleero osanga mu ebintu ebyenjawulo ebikoleddwa muzaabu kyokka nga by'abasajja nga amasaawa, galubindi, amapeesa, ekkalaamu, obujegere, n'ebirala ebigwa muttuluba eryo ebikolebwa mu zaabu mumitendera egyenjawulo ebimu kubikwasa ennaku kwekulanga mumpaka ezenjawulo nti mubirabo ebijja okugabibwa mulimu essaawa ya zaabu eyekisajja!!

Hadiith nga eva ku Ibn Abbaas – Allah yasiima kubo- yagamba:

" أن رسول الله صلى الله عليه وسلم رأى خاتما من ذهب في يد رجل فنزعه, فطرحه فقال: يعمد أحدكم إلى جمرة من نار فيجعلها في يده؟ فقيل للرجل بعدما ذهب النبي صلى الله عليه وسلم خذ خاتمك انتفع به قال: لا والله لا آخذه أبدا وقد طرحه النبي صلى الله عليه وسلم " رواه مسلم 3\1655.

“Mazima omubaka wa Allah –okusaasira nemirembe bibeere kuye- yalaba omusajja nga ayambadde empeta ya zaabu kumukono gwe nagimujjako nagikanyuga n'agamba nti: Omu mummwe asalawo atya okwata eryanda ly'omuliro Jahannamu nalissa kumukono gwe? Nabbi bwamala okugenda omusajja yagambibwa nti: Kwata empeta yo wegase nayo, kyava agamba nti: Nedda ndayira Allah owekitiibwa sisobola kugitwala nga ate Nabbi (s.a.w) agikanyuze".

ABAKYALA OKWAMBALA ENGOYE ENNYIMPI EZ'OLUWEWERE OBA EZIBAMIIMA

Ebimu ku bintu abalabe baffe byebatulwanyisizza nabyo ensangi zino zengoye ezebika ebyenjawulo zebayiwa mumawanga g'abasiraamu nga tezibikka bwereere nakukuuma ensa zaabwe olw'obumpi bwazo, oba olw'okuba ezoluwewere ate nga zibamiima nga ezisiinga obungi tezikkirizabwa na kwambalwa bakyala wadde nga bali bokka nabokka oba nga bali n'abo ababazira okubawasa. Nabbi (s.a.w) yatubuulira ku kubaawo kw'ennyambala efaananako bwetyo mubika ebyenjawulo eri abakyala b'omulembe ogusembayo nga bwekyajja mu Hadiith ya Abi Hurairat nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

" صنفان من أهل النار لم أرهما: قوم لهم سياط كأذناب البقر يضربون به الناس ونساء كاسيات عاريات مميلات مائلات رؤوسهن كأسنمة البخت المائلة لا يدخلن الجنة ولا يجدن ريحها وإن ريحها ليوجد من مسيرة كذا وكذا" رواه مسلم 3\1680.

“Abantu ba bika biri bammuliro naye sibalabanga ko: Abalina omiggo ogiringa emboobo y'ente nga bagikubisa nagyo abantu, n'abakazi abambadde obukunya abatambula nga bewodola nga emitwe gyambwe giringa amabango genngamiya (eyensingo empaanvu) – agagenda nga gewuuba- Tebajja kuyingira Jannah, wadde okuwunyiriza kukawoowo kaayo, era nga mazima akawoowo kayo kawunyirizibwa mu banga bweriti nebweriti"

Mungoye ezo muyingira engoye abakyala abamu zembala eziriko siriiti ezengeri zonna, oba olusale sale obujwenge kumpuyi zonna nga bwaba nga atudde lulaga obwereere bwe okwo ssaako okwefaananyiriza abakaafiiri n'okubagoberera munkola zaabwe n'okugunjaawo emisono gyengoye egyobuseegu egyenjawulo. Tusaba Allah atusaasire.

Era ebimu kubyakabenje kwekwambala engoye eziriko ebifaananyi ebikyamu nga ebifaananyi byabayimbi, ebibiina byabadoongo, abazannyi b'omupiira, amacupa g'omwenge, n'ebifaananyi by'ebintu ebirina omwooyo, obusiraamu bye bwaziyiza, oba engoye eziriko emisaalaba, oba okuli obubonero bwa zikiraabu ezenjawulo, namakampuni amakyaamu, oba ebigambo ebikyamu ebikyafu ebimalamu ensa.

OKUYUNGA KU NVIIRI N'EBIVIIRI ERI ABASAJJA NABAKAZI

Hadiith nga eva ku Asmaa'a bint Abubakar yagamba:

" جاءت امرأة إلى النبي صلى الله عليه وسلم فقالت يا رسول الله إن لي ابنة عريسا أصابتها حصبة فتمرق شعرها أفأصله؟ فقال: لعن الله الواصلة والمستوصلة " رواه مسلم 3\1676.

“Omukyala yajja eri Nabbi (s.a.w) n'amugamba nti: Owange omubaka wa Allah nina muwala wange agenda kufumbirwa naye yafuna ebiguuna enviiri ze nezikutukakutuka nziyunge ko? Nabbi namugamba: Allah yakolimiri (yagoba mukusaasira kwe) ayunga kunviiri ze negwebaziyunga ko".

Hadiith endala ya Jaabir bun Abdallah yagamba nti: “Yanyigira Nabbi (s.a.w) omukyala ayunga kunviiri ze ekintu kyonna.

Ebyokulabirako kunsonga eyo bingi ensangi zino nga wiigi, nebiviiri abagole byebayunga kunviiri zabwe si nsonga zabantu oba nedda.

ABASAJJA OKWEFAANANYIRIZA ABAKAZI, OBA ABAKAZI OKWEFAANANYIRIZA ABASAJJA

Kya mubutonde omusajja okukuuma obusajja bwe Allah nga bwe ya mutonda , N'omukyala okukuuma obukyala bwe nga bweyatondebwa, era ekyo kyekimu ku nsonga eziyimiridde ko obulamu bw'abantu. Abasajja okwefaananyiriza abakazi, n'abakazi okwefaananyiriza abasajja kikontana n'obutonde obwo era kiggulawo emiryango gy'obwonoonefu n'okusiwuuka empisa mubantu, ebintu ebyekikula ekyo obusiraamu bwabiziyiza tebikkirizibwa. Singa etteeka mubusiraamu lijja nga ligamba “Yakolimirwa yenna akola ekikolwa bwekiti obwo buba buzulizi obulaga nti ekikolwa ekyo kyaziyizibwa (kiri haraamu) . Hadiith nga eva ku Ibn Abbaasi – Allah yasiima kuye- yagamba:

"لعن رسول الله المتشبهين من الرجال بالنساء ولمتشبهات من النساء بالرجال" رواه البخاري انظر الفتح 10\332.

“Yakolimira Omubaka wa Allah abasajja abefaananyiriza abakyala, n'abakyala abefaananyiriza abasajja"

Hadiith endala nga eva ku Ibn Abbaas – Allah yasiima kuye nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

" لعن رسول الله المخنثين من الرجال والمترجلات من النساء" رواه البخاري الفتح 10\333.

“Yakolimira omubaka wa Allah abasajja abefuula abakazi, nabakazi abefuula abasjja (n'akapanka)".

Okwefaananyiriza (ku njuyi zombiriri) kusobola okuba mukutambula, mu njogera nebirala.

Nabwekityo tekikkirizibwa ku njuyi zombiriri okwefaananyiriza oludda olulala mukwambala wadde mwebyo ebyeyawulidde buli ludda, tekkirizibwa abasajja kwambala bukuufu bwamubulago, ebikomo byekikyala, nabwekityo abakyala tebakkirizibwa kwambala kintu kyonna kyeyawulidde basajja nga ekanzu, enkofiira, nebirala. Wabula birina okwawukana mundabika nemuntuunga ne langi. Obujulizi obulaga obwetteeka bwokwawula enyambala ya buli ludda ye Hadiith ya Abu Hurairat – Allah yasiima kuye – nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

" لعن الله الرجل يلبس لبسة المرأة والمرأة تلبس لبسة الرجل" رواه أبو داود 4\355 وهو في صحيح الجامع 5071.

“ Allah yakolimira omusajja ayambala ebyambalo by'ekikyala n'omukyala ayambala ebyambalo by'ekisajja".

OKUSIIGA ENVIIRI NE LANGI ENZIRUGAVU

(OKUDAYINGA ENVIIRI)

Ekituufu kiri nti ekikolwa kino kiri haraamu (kyaziyizibwa) olw'okusuubizibwa ekibonerezo ekinene eri oyo yenna akikola okwalabikira mubigambo bya Nabbi (s.a.w) bweyagamba nti: “ Wajja kubaawo abantu kumulembe ogulisembayo nga basiiga enviiri zabwe ne langi enzirugavu wabula tebaliwunyiriza ku kaloosa / kawoowo ka Jannah".

Ekikolwa kino kisinga kulabikira mubantu abakuliridde mu myaka nebafuna envi kyokka nebasalawo okuzikyusa nga bazisiiga langi enzirugavu naye ekikolwa ekyo kiviirako ebikyamu bingi okugeza nga okwenyakwenya, n'okukyusa obutonde bwa Allah okubujja kububumbwa bwabwo ate nga ekyo tewali kubuusabuusa kwonna nti kiraga okusiwuuka empisa mu maasa g'omutonzi wo. Kikakafu okuva ku Nabbi (s.a.w) nti yali asiiga munviiri ze langi eya kyenvu yenvu oba emmyukirivu oba langi eringa eyakitakataka. Lumu Abu Quhaafa yajja ewali Nabbi (s.a.w) nga enviiri ze nekirevu kye byeru nnyo kyava omugamba nti: langi eyo gikyuse nendala kasita teba nzirugavu".

Era nga ekigambo ekisinga obutuufu kwekuba nti omukyala naye ku nsonga eno alamulwa nga omusajja takkirizibwa ku dayinga nviiri ze ne langi nzirugavu.

OKKUBA EKIFAANANYI EKINTU KYONNA EKIRINA OMWOYO

Hadiith nga eva ku Abudallah bun Masuud – Allah yasiima kuye- nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

" إن أشد الناس عذابا عند الله يوم القيامة المصورون " البخاري انظر. الفتح 10\382

“Mazima abantu abajja okusinga okufuna ebibonerezo ebiruma mu maasa ga Allah ku lunaku lwenkomerero be bakubi b'ebifaananyi"

Hadiith endala ng'eva ku Abi Hurairat – Allah yasiima kuye- nga agijja ku Nabbi (s.a.w) Yagamba Allah owekitiibwa:

" ومن أظلم ممن ذهب يخلق كخلقي فليخلقوا حبة وليخلقوا ذرة... " رواه البخاري انظر الفتح 10\385.

“Ani asinga obulyazamaanyi okusinga oyo akola (abumba) ekiringa ekitonde kyange! Kale atonde empeke, era atonde akanyinkuuli…"

Hadiith endala ng'eva ku Ibn Abbaas – Allah yasiima kuye - nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

" كل مصور في النار, يجعل له بكل صورة صورها نفسا فتعذب في جهنم" قال ابن عباس إن كنت لا بد فاعلا فاصنع الشجرة وما لا روح فيه" رواه مسلم 3\1671.

“Buli mukubi wabifaananyi wamumuliro, ajja kuteerwa mubuli kifaananyi (kyeyakuba oba kyeyabumba) omwoyo abonerezebwe nagwo mu muliro Jahannamu" Ibn Abbaas kyava agamba nti: Bwekiba nti kyatteeka okukyikola kale kikole mu muti oba mukintu kyonna ekitalina mwoyo".

Hadiith ezo kiraga okuziyizibwa kw'okukuba ekifaananyi ekintu kyonna ekirina omwoyo nga abantu, nebisolo, ssi nsonga kisiigiddwa busiigibwa oba kikubiddwa na camera, oba kisaliddwa kukisenge, oba kibumbiddwa, hadiith ezo zetulabye waggulu zibuna okuwerebwa kw'ebifaananyi ebyabuli kika.

Omusiraamu omujjuvu owannamaddala yewaayo eri obujulizi natadda mukukubagana mbawa nakuwakana nga okugamba nti nze ebifaanayi bino sibisinza era sibivunnamira!!

Omuntu omugezi alimu okufumintiriza singa atunuulira ebibi ebivudde mukusasaana ennyo kwebifaananyi ensangi zino yanditegedde ekigendererwa lwaki Sharia yaffe yagaana ebifaananyi olwokweyongera kwobonoonefu n'ebyobwagazi munsi n'abamu okutuuka okugwa mubikolwa ebyo bwenzi lwansonga yabifaananyi.

Kigwanidde eri Omusiraamu obutatereka kifaananyi kyonna kyakintu ekirina omwoyo munnyuba ye aleme kufuuka nsonga egaana bamalayika kuyingira mu nyumba ye kubanga mazima ddala Nabbi (s.a.w) yagamba:

" لا تدخل الملائكة بيتا فيه كلب ولا تصاوير" رواه البخاري انظر الفتح 10\380

“Malayika teziyingira munju erimu embwa wadde ebifaananyi"

Kyannaku nti amayumba g'abasiraamu abamu garimu ebifaananyi byebibumbe ebyasinzibwanga abakafiiri nga ebijjukizo n'okuwunda ennyumba ezo, Ebifaananyi ebyekikula kino ate okuziyizibwa kwabyo kwamaanyi nyo okusinga kubirala nabwekityo ebifananyi ebitimbiddwa bisinga kwebyo ebitatimbiddwa abantu bameka abagulumiza ebifaanyi byebaali bassaawo nga ebijukkizo, songa okujjukira okutuufu kulina kuba mu mutima eri omuntu omuzito gyoli oba owoluganda lwo oba omusiraamu. Kalenno kigwanidde eri omusiraamu alina ebifaananyi munnyumba ye okubifulumya saako okubisaanyaawo. Omwo tujjamu ebifaananyi ebyobuwaze nga ebiri mubiwandiiko ebyeteeka pasipota olukusa lwokuvuga emmotota, endaga muntu nebirala.

OKULIMBIRA MUNDOOTO

Abantu abamu basalawo okuyiiya endooto ezobulimba nebazinyumya mu bantu songa mubutuufu tebaazirabye kino bakikola olwebigendererwa ebyenjawulo nga okubaako byebafuna, oba okwogerwako mubantu, oba okutiisa tiisa bebalina nabo embiranye nebirala. Abantu ba bulijjo bangi olw'okuba nti bambi bakkiririza mundooto besanga nti babakwenya kwenya n'obulimba buno. Nabbi (s.a.w) yalaganyisa ekibonerezo ekinene eri abo abakola ekikolwa kino nagamba nti:

" إن من أعظم الفرى أن يدعي الرجل إلى غير أبيه أو يرى عينه ما لم يرى ويقول على رسول الله ما لم يقل" رواه البخاري انظر الفتح 6\540.

“Mazima obulimba obusinga okuba obwamaanyi ye muntu okuyita atamuzaala kitaawe, oba okugamba nti yalabye nga teyalabye, nagamba nti Nabbi (s.a.w) yagamba ekyo kyatayogera"

Nabbi (s.a.w) nagamba mu hadiith endala nti: “Omuntu yenna agamba nti naloose nga teyaloose ajja kukakibwa okuyita wakati wa sha eer ebbiri ate nga tajja ku kisobola". Nga eyo y'empeera y'okulimba kwe.

OKUTUULA KUKIJJA, OKUKIRINNYAKO, N'OKUMALA EKYETAAGO MU LIMBO

Hadiith eva ku Abi Hurairat – Allah yasiima kuye- yagamba: yagamba Omubaka wa Allah (s.a.w):

" لأن يجلس أحدكم على جمرة فتحرق ثيابه فتخلص إلى جلده خير له من أن يجلس إلى قبر" رواه مسلم 2\667.

“Omu kummwe okutuula ku lyanda lw'omuliro nelyokya engoye ze okutuuka ku ddiba ly'omubiri gwe kyekisinga obulungi gyali okusinga okutuula ku kijja (qabbuli)"

Ate okulinnya ku kijja abantu bangi bakikola, otera okubalaba mukiseera ky'okuziika nga bayita kubijja waggulu nga tebafuddeeyo kuwa kitiibwa ntaana ezo, olw'obukulu bwensonga eno Nabbi (s.a.w) yagamba:

" لأن أمشي على جمرة أو سيف أو أخصف نعلي برجلي أحب إلي من أن أمشي على قبر مسلم...." رواه ابن ماجة 1\499 وهو في صحيح الجامع5038

“Okutambulira kulyanda ly'omumliro oba ku kitala ekyogi oba okujjamu engatto zange nentambuza ebigere kyekisinga obulungi gyendi okusinga okutambulira kukijja ky'ousiraamu".

Bwekibanga kiri bwekityo ate butya kumuntu eyekomya ettaka lya limbo nateekako emizimbo gwebyobusuubuzi, oba ekisulo!

Ate okwonoona ku kijja oba okumala ekyetaago mulimbo kikolebwa abamu kubantu abasiwuufu b'empisa, bwafuna ekyetaago tafaayo mukifo ki mwaali nakomekkereza nga anyizizza era natyoboola ekitiibwa kyabannanyi kabbuli ezo. Nabbi (s.a.w) yagamba:

" وما أبالي أوسط القبر قضيت حاجتي أو وسط السوق" رواه ابن ماجة 1\499

“Obubi obuli mukumala ekyetaago mu limbo bwenkanankana n'okumala ekyetaago wakati mukatale mu maaso gabantu"

Nabwekityo abantu abayiwa ebikyafu mu limbo bafuna omusango kyenkanyi naabo abamaliramu ekyetaago. Ezimu ku mpisa ezigwanidde singa oba olambudde limbo kwekujjamu engatto zo bwoba nga osazewo okutambulira wakati webijja.

OBUTEKUUMA MUSULO KUKUSAMMUKIRA

Ebimu kubirungi bye ddiini eno kwekuba nti yaggya nabuli kimu ekirimu akalungi eri abantu, era nga mubyo kwe kwejjako obukyafu, Nekulw'ensonga eyo obusiraamu butulagira okwelongoosa n'amazzi oba namafunfugu era nebutunnyonnyola engeri gyetwetukuzaamu nabyo, Wabula ate abantu abamu bagayalirila ensonga yo kwejjako obukyafu ekintu ekiviirako okukyafuwaza engoye zabwe nemibiri gyabwe nekivaamu swalat zaabwe butatuuka. Nabbi (s.a.w) yatubuulira natugamba nti obutekuuma musulo kusammukkira yemu kunsonga eziviirako ebibonerezo by'omuntaana

Hadiith nga eva ku Ibn Abbaas – Allah yasiima kuye- yagamba:

" مر النبي صلى الله عليه وسلم بحائط \ بستان من حيطان المدينة فسمع صوت من إنسانين يعذبان في قبورهما فقال النبي صلى الله عليه وسلم : يعذبان وما يعذبان في كبير - ثم قال- بلى "وفي رواية : وإنه لكبير " كان أحدهما لا يستتر من بوله, وكان الآخر يمش بالنميمة" رواه البخاري انظر فتح الباري 1\317

“Nabbi (s.a.w) lumu yayita kunnimiriro eno kunjegoyego yekibuga Madiina nawulira emaloboozi g'abantu babiri nga babonerezebwa muntaana zaabwe kyava agamba nti: Mazima abantu bano babonerezebwa naye silwa kuba nti bakola ezambi ddene, -munjogera ya Hadiith endala: Babonerezebwa lwa zambi ddene- Omu kubo yalinga teyeeziyiza musulo gwe (butamusammukira nga amaliriza ekyetaago) ate omulala yalinga abungeesa olugambo"

Era Nabbi (s.a.w) yatutegeeza natugamba nti ebibonerezo bya kabbuli ebisinga biva kubutekuuma musulo. Obutekuuma musulo kuzingiramu n'okusituka amangu oluvannyuma lw'okumala ekyetaago omusulo negusigala nga gutonnya, oba okufuyisa awantu nga omusulo gumusammukkira, oba obutetukuza n'amazzi oba nefunfugu oluvannyuma lwo kufuyisa, oba obutassaayo mwoyo nga yetukuza. Abasiraamu bangi ensangi zino bakoppye nnyo abakafiiri okutuuka kussa ly'okuba nti nabo bassaawo ebifo by'okumaliramu ekyetaago nga batambula ewatali nakwekweka ko oba kukwatibwa nsonyi, oluvannyum lw'okumala ekyetaago nayambala engoye ze nga teyetukuzza nako n'aba nga agasse wakati webibi bibiri ekisooka: obutakuuma bwerere bwe bantu butabulaba, ekyokubiri: obutekuuma musulo gwe.

OKULUMIKA EMBOOZI Z'ABANTU

Allah yagamba:

ﭧ ﭨ ﭽ يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا اجْتَنِبُوا كَثِيرًا مِنَ الظَّنِّ إِنَّ بَعْضَ الظَّنِّ إِثْمٌ وَلَا تَجَسَّسُوا وَلَا يَغْتَبْ بَعْضُكُمْ بَعْضًا أَيُحِبُّ أَحَدُكُمْ أَنْ يَأْكُلَ لَحْمَ أَخِيهِ مَيْتًا فَكَرِهْتُمُوهُ وَاتَّقُوا اللَّهَ إِنَّ اللَّهَ تَوَّابٌ رَحِيمٌ الحجرات: ١٢

{Era temuketta kettanga (ne mulingiriza bantu bannammwe mubitabakwatako)}

Hadiith nga eva ku Ibn Abbaas – Allah yasiima kuye – nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

" من استمع إلى حديث الناس وهم له كارهون, صب في أذنيه الآنك يوم القيامة...." رواه الطبران في الكبير 11\248 -249. وهو في صحيح الجامع 6004.

“Omuntu olumika emboozi yabalala nga bakitamwa, ajja kuyiibwa olweje mu matu ge kulunaku lwenkomerero".

Ate bwaba nga asaasanya emboozi zabwe eri abantu abalala (oluvannyuma lwokuzilumika) olwo ku musango gw'okukettakekka ayongerako omusango omulala era nayingira butereevu mu hadiith egamba nti: “ Tajja kuyingira Jannah olumika emboozi zabalala".

OKUYISA OBUBI OMULIRAANO

Allah yatulaamira mu Qur'aan eyekitiibwa okuyisa obulungi balirwaana baffe nagamba nti:

ﭧ ﭨ ﭽ ﮗ ﮘ ﮙ ﮚ ﮛ ﮜ ﮞ ﮟ ﮠ ﮡ ﮢ ﮣ ﮤ ﮥ ﮦ ﮧ ﮨ ﮩ ﮪ ﮫ ﮬ ﮭ ﮮ ﮯ ﮱ ﯓ ﯔ ﯕ ﯖ ﯗ ﯘ ﯙ ﯚ النساء: ٣٦

{Musinze katonda, era temumugattanga n'ekinku ekirala kyonna n'eri abazadde bombiriri mwelongoose, ne ku b'oluganda, ne bamulekwa n'abanaku, n'ab'emiriraano ab'ebbali (be muliraanya amayumba) ne munno owebbali nomutambuze oyo akutuse ku bantu b'ewaabwe, n'oyo gwe gyafuna emikono gyammwe egya ddyo (abaddu) Mazima Katonda tayagala oyo omwewulize omwerazi}.

Okunyiiza muliraanwa kyekimu kubyaziyizibwa olw'obukulu bw'omuliraano. Hadiith nga eva ku Abi Shuraih – Allah yasiima kuye- nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

" والله لا يؤمن والله لا يؤمن والله لا يؤمن قيل ومن يا رسول الله؟ قال الذي لا يؤمن جاره بوائقه " رواه البخاري انظر الفتح 10\443

“ Ndayira Allah tayinza kuba mukkiriza, Ndayira Allah tayinza kuba mukkiriza, Ndayira Allah tayinza kuba mukkiriza, ne babuuza nti Ani oyo owange omubaka wa Allah? Nagamba nti oyo atawa muliraanwa we mirembe"

Nabbi (s.a.w) yatuwa ekigero kwetuyinza okupimira okuyisa obulungi oba obubi muliraanwa, Hadiith nga eva ku Ibn Abbaas –Allah yasiima kuye- yagamba:

" قال رجل للنبي صلى الله عليه وسلم : يارسول الله كيف لي أن أعلم إذا أحسنت أو إذا أسأت فقال النبي صلى الله عليه وسلم : إذا سمعت جيرانك يقول : قد أحسنت فقد أحسنت, وإذا سمعتهم يقولون قد أسأت فقد أسأت " رواه الإمام أحمد 1\402 وهو في صحيح الجامع 623.

“Omusajja yajja nagamba Nabbi (s.a.w) nti: Owange Omubaka wa Allah butya bwennyinza okumanya nti n'ongoosessa eri muliraanwa oba nnyonoonye gyaali, Nabbi amugamba nti: Bw'owulira muliraanwa nga agamba nti: Olongoosezza oba olongoosezza, ate bwowulira nga agamba nti oyonoonye gyali oba oyonoonye"

Okunyiiza muliraanwa kulina ebifaananyi bingi okugeza nga okuzimba mu kkubo erimutwala ewuwe, oba okulingizanga ebifa ewuwe, okumuwogganiranga naddala mubiseera byokwebaka, okubba ebintu bye, nebirala ebiringa ebyo.

OKWEKUBIIRA MUKIRAAMO

Obusiraamu diini yamazima nabwenkanya, era bukubiriza abantu baayo okuba abenkanya mumbeera zabwe zonna, ye nsonga lwaki bwagaana kkyekubiira muby'obusika, era omuntu yenna eyekubiira mukiraamo kye amanye nti ayingira butereeevu mukulaganyisa kwa Nabbi (s.a.w) okugamba nti:

" من ضار أضر الله به ومن شاق شق الله عليه" رواه الإمام أحمد 3\453 وهو في صحيح الجامع 6348.

“Oyo yenna akosa abalala ne Allah amukosa (nekyo kyakosezza nakyo) Nakalubiriza (abalala) ne Allah amukaluubiriza".

Ebimu kubifaananyi byokukosa abasika kwekumma omu kubo omugabo gwe ku by'obusika obusiraamu gwe bwamuwa oba okulaamira omusika ekyawukana n'omugabo ogwamuwebwa, oba okubaako gwolaamira ekigero ekisukka ku kimu ekyokusatu.

OKUZANNYA LUDO

Ensangi zino abantu balina emizannyo egyenjawulo gyebazannya negibatwalira obudde songa obusiraamu bwagigaana, mugino mwemuli omuzannyo gwa ludo owebika byonna, Nabbi (s.a.w) yatwekesa okwenyigira mu muzannyo guno kubanga ludo aggulawo omulyango gya zzaala kyava atugamba mu hadiith emu nti:

" من لعب بالنردشير فكأنما صبغ يده في لحم خنزير ودمه" رواه مسلم 4\1770 .

“Omuntu yenna azannya ludo afaananako nga annyise omukono gwe mu nnyama ye mbizzi n'omusaayi gwaayo"

Hadiith endala nga eva ku Abu muusa Al Ash'ary – Allah yasiima kuye- nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

" من لعب بالنرد فقد عصى الله ورسوله" رواه الإمام أحمد 4\394 وهو في صحيح الجامع 6505.

“Omuntu yenna azannya ludo aba ajemedde Allah n'omubaka we"

OKUKOLIMIRA OMUKKIRIZA OBA OMUNTU YENNA ATALINA KKOLIMIRWA

Abantu bangi balemererwa okufuga ennimi zaabwe bweba nga bannyiize, nebeesanga nga bakolimidde buli kibasala mu maaso, oluusi batuuka n'okwekoliira bbo kennyini oba abaana baabwe oba bakyala baabwe songa ensonga eyo yabulabe nnyo. Hadiith nga eva ku Abi Zaid Thaabit Al dhahhaak Al An swaar – Allah yasiima kuy - nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

" ........, ومن لعن مؤمنا فهو كقتله " رواه البخاري انظر فتح الباري 10\465 .

“……., N'oyo akolimira omukkiriza abanga omusse"

N'olwokuba nti okkolima kusinga kuba mu bakyala Nabbi (s.a.w) yannyonnyola nagamba nti zezimu kunsonga lwaki be baggya okusiinga okuyingira omuliro era abakolima ennyo tebajja kuba bawolereza kulunaku lwenkomerero, nga nekisiinga okuba ekyakabenje kwekuba nti okkolima kuddira nannyini kwo singa aba nga yemulyazamaanyi nekiba nti aba yesabidde (ye kennyini) okugobwa mu kusaasira kwa Allah.

OKKUBA EMIRANGA N'EBIWOOBE

Ebimu ku bitamwa ebinene ennyo mubusiraamu kyekilwa abakyala kyebakola eky'okusitula amaloboozi gaabwe ne bakuba emiranga n'ebiwoobe singa baba bafiiriddwa okwo ssaako okw'ekuba empi, okuyuzayuza engoye, okusalako enviiri, n'okwesiba ekimyu songa ebyo byonna birala butasiima kugera kwa Allah, n'obutaguminkiriza muswiiba (mutawaana) gukutuuse ko. Nabbi (s.a.w) yakolimira omuntu yenna akola ekikolwa ekyo. Hadiith nga eva ku Abi Umaamat – Allah yasiima kuye- yagamba “Mazima omubaka wa Allah yakolimira oyo ateeka enjokyo mukyenyi, nayuzayuza engoyeze nakuba emiranga n'ebiwoobe nga yesansabaga"

Hadiith endala ya Ibn Masuud – Allah yasiima kuye- nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

" ليس منا من لطم الحدود وشق الجيوب ودعا بدعوى الجاهلية" رواه البخاري انظر الفتح 3\163 .

“Siwamuffe oyo yenna eyekuba empi kumatama (olwobuzibu bwafunye) nayuzayuza engoye, nakowoola n'enkowoola eya Jahiriyya"

OKKUBA MUKYENYI N'OKUSSAMU ENJOKYO

Hadiith nga eva ku Jaabir –Allah yasiima kuye- yagamba:

" نهى رسول الله عن الضرب في الوجه وعن الوسم في الوجه" رواه مسلم 3\1673.

“Yagaana Omubaka wa Allah okkuba (omuntu) mukyenyi, n'okussa enjokyo mukyenyi"

Abazadde bangi wamu n'abasomesa bakuba abaana empi mu maaso bwebaba nga bababonereza, era n'abantu abamu bakikola kubakozi be balina awaka songa ekikolwa ekyo kirimu okukkakkanya ekyenyi Allah kyeyasukkulumya nakyo omuntu, ekilwa ekyo era kiyinza okuviirako omuntu okufiirwa ebimu ku biyungo bye ebyomugaso ebisangibwa mu maaso ge.

Ate ekussa enjokyo mukyenyi kakube ku kisolo nga akabonerero akokukyawula kukirala tekikkirizibwa mubusiraamu, kubangu kirimu okubijjisa ensolo eyo newankubadde nga abantu abamu bekwasa ekigamba nti ekyo kiri mumbeera yabika byabwe eyabulijjo, era nga akabonero akabaawula kubalala bwekiba nti kyatteeka gyebali okukikola bazisse mu bitundu ebirala so ssi mukyenyi.

OKUSENGUKA MUSIRAAMU MUNNO OKUSUKKA ENNAKU SATU NGA TEWALI NSONGA EKKIRIZIBWA MU SHARIA

Agamu ku makubo Sitaane mweyita kwe okuteekawo olukonko wakati w'abakkiriza, era n'okuyitiriza abagoberera amakubo gaayo nebasenguka baganda baabwe abasiraamu olw'obusongasonga obutalimu nsa, oluusi abamu baawukana lwa byanfuna okwekutulamu nekugenda mu maaso omwaka nga mulamba, oluusi abamu balayira obutaddamu kwogera nebannaabwe, abalala beetema engalike obutaddamu kulinnya mu maka ga gundi, bwamusanga mukkobo atunula eri,era bwamusanga mulutuula lwonna okwata abamu mungalo ye namubuuka, ebintu ebiringa ebyo zezimu kunsonga eziviriddeko okunyomooka wakati waffe kyova olaba nti obusiraamu byakigaana.

Hadiith nga eva ku Abi Hurairat – Allah yasiima kuye- nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

" لا يحل لمسلم أن يهجر أخاه فوق ثلاث, ومن يهجر فوق ثلاث فمات دخل النار" رواه أبو داود 5\215, وهو في صحيح الجامع 7635.

“Te kikkirizibwa eri omusiraamu kusenguka muganda we (omusiraamu) okusukka ennaku satu, oyo yenna asenguka (muganda we) okusukka ennaku satu n'afa (nga akyamusenguse) ayingira omuliro"

Hadiith endala nga eva ku Abi Kharaash Al Aslamy – Allah yasiima kuye- nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

" من هجر أخاه سنة فهو بسفك دمه" رواه البخاري في الأدب المفرد حديث رقم 406 وهو في صحيح الجامع 6557.

“Omuntu yenna asenguka muganda we omwaka (mulamba) abanga ayiyi omusaayi gwe".

Kimala bumazi ekibonerezo ky'okutulawo oluganda (lw'obusiraamu) obutasonyibwa mazambi okuva eri Allah owekitiibwa. Hadiith nga eva ku Abi Hurairat – Allah yasiima kuye- nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

" تعرض أعمال الناس في كل جمعة مرتين, يوم الإثنين ويوم الخميس فيغفر لكل عبد مؤمن إلا عبدا بينه وبين أخيه شحناء فيقال: اتركوا هذين حتى يفيئا" رواه مسلم 4\1988.

“Emirimo gyanjulwa mubuli sabbiiti emirundi ebiri: buli lwabbalaza nebuli lwakuna, buli muddu omukkiriza n'asonyiyibwa okujjako omuddu alina wakati we newakati wamugandawe obutakkaanya, balagirwa (bamalayika) okuleka emirimo gyabaddu abo okutuusa nga betereezezza"

N'omuntu yenna kubayombaganye ababiri eyenenyeza Allah alina okudda eri mugandawe n'amutoolera salaamu, ekyo bwakikola naye munne n'agaana okumuddamu ye aba yejjeredde, ebisigalidde nebiba byoyo agaanyi. Hadiith nga eva ku Abi Ayyuubu – Allah yasiima kuye- nga agijja ku Nabbi (s.a.w) yagamba:

" لا يحل لرجل يهجر أخاه فوق ثلاث ليال يلتقيان فيعرض هذا ويعرض هذا وخيرهما الذي يبدأ بالسلام" رواه البخاري 10\492.

“Te kikkirizibwa eri omusajja yenna okusenguka mugandawe (omusiraamu) okusukka ebiro bisatu nga basisinkana omu natunula eri nomulala naye n'atunula eri, wabula abasinga obulungi y'oyo atoolera munne salaam"

Naye singa wabaawo ensonga ebaawudde ekkirizibwa mu sharia nga okuleka eswala, okulemera kubikolwa ebyobwonoonefu, bwekuba nga okumusenguka kumugasa n'aleka ebikyamu byabadde akola nadda ku kkubo ettuufu, okumusenguka mumbeera eyo kuba kwa tteeka, Naye ate singa okumusenguka kumwongerayo bwongezi nekutamugasa ate awo tokkirizibwa kumusenguka kubanga ebirubirirwa bya sharia tebituukirira, wabula okuba nti oyongera kwonoona, nekiba nga ekisingako obulungi kuganda mu maaso na kulongoosa gy'ali, okumujjukiza n'okumubuulirira.

Nga nkomekkereza ebyo byebimu kubyensobodde okukunngaanya mwebyo ebyaziyizibwa ebikyaase ennyo ensangi zino (songa omulamwa guno muwanvu nnyo nga okugujjuza kyetagisa kufunayo kitabo kirala ekirambika ebyo byonna ebyaziyizibwa mu Qur'aan eyekitiibwa ne Sunnah za Nabbi (s.a.w) inshaa Allah) Nsaba Allah owekitiibwa kulwamannya ge amalungi atuwe okumutya atwekese okumujemera, atusonyiwe ebyonoono byaffe, atugaggawaze n'emmaali eyahalaal, atwekese haraamu, era akkirize okwenenya kwaffe, Era Musaba asse ebyengera n'emirembe Kumubaka Muhammadi (s.a.w) abennyumba ye baswahaba be bonna nabuli muntu yenna alagirira empisa ennungi okutuusa Allah lwalizingako ensi eno

AMEEN