Yannyonnyola Shk. Ekigendererwa mulunaku lwejjuma nensonga lwaki lwatuumibwa bwelutyo, nayogera ebimu ku birungi byalwo: Allah lweyakunganyizaako Nabbi Adam, era nti ye Eid ya buli sande, era Allah yalaganyisa empeera ennene eri oyo akeera mu Juma, n’abasoma surat Al kahaf, neri oyo asaalira Nabbi (s.a.w) mulwo
Obulungi Bw’olunaku Lwejjuma - (Luganda)
Allah Alina Amannya Amalungi Mumusabe Nago - (Luganda)
Yannyonnyola Shk. Ekigendererwa mu mannya ga Allah amalungi, era nti buli musiraamu avunaanyizibwa mugo ebintu bisatu. 1:okumanya enjatula n’omuwendo gwago, 2:okumanya amakulu g’ago, 3:okugasabisa, nengeri gy’ogasabisaamu.
Okulamula Kwomuntu Atasaala - (Luganda)
Yannyonnyola shk. Obukulu bw’eswala mujamaa-a n’obujulizi bwayo n’okulamula kw’atasaala
Amateeka Agafuga Okunaaba Mubusiraamu - (Luganda)
Yannyonnyola shk. Amakulu g’okunaaba, obukulu bwakwo, emiteeko gyakwo, n’engeri yokunaaba mu.
Yannonnyola shk. Amakulu g’okwawula allah mumannya ge n’ebitendo bye, amakakafu mugo nagatali makakafu, nenjawulo wakati w’amannya nebitendo.
Amateeka G’eswalah - (Luganda)
Amakulu g’eswalah musharia, ekifo kyayo, empagi zaayo, obulombolombo bwayo, ssuna zaayo nengeri jesalibwamu.
Amateeka Ga Sujuud Sahwi - (Luganda)
Yannyonnyola shk. Amakulu ga sujuud sahwu, obujuizi n’ensonga lwaki yalagirwa, n’engeri gyevunnamwamu
Okusaalira Emabega Wa Imaam Omwonoonefu - (Luganda)
Yannyonnyola Shk. Amakulu g’obukulembeze mubusiraamu, emiteeko gy’oba Imaam, n’okulamula kwobusiraamu ku kusaalira emabega wa Imaam omwonoonefu.
Yannyonnyola Shk. Engeri y’okusaalira kukyebagalwa, nalwaki kyakkirizibwa, nekigendererwa, mukugatta esswala, obukwakkulizo bwokugatta, noluvannyuma n’addamu ebibuuzo
Okusaalira Mubifo Ebirimu Ebifaananyi - (Luganda)
Yannyonnyola Shk. Nti Nabbi (s.a.w) y’agaana okusaalira mubifo ebirimu ebifaananyi, era n’ayogera ebigambo byabamanyi bingi kunsonga eno, n’ensonga lwaki kyaziyizibwa, nokulamula kw’obusiraamu kukusaalira mu muzikiti ogulimu entaana
Okunnyonnyola Obukwakkulizo Bwe Swala - (Luganda)
Yannyonnyola Shk. Amakulu gobulombolombo bwe swala, eri nti eswala y’omuntu tetuuka nga tabutuukirizza, era nga buli butaano: Okuyingira kwebiseera bwayo, okwewala obukyafu/ okwetukuza (omubiri ne kifo), okwolekera ekibula, okumalirira
Okutayammamma - (Luganda)
Shk. Yannyonnyola amakulu g’okutayammamma, n’obujulizi obukuyimirizaawo, n’engeri yaayo