YANNYONNYOLA SHK. AMAKULU GEBIKEMO, N’AMAKUBO AGAKUYAMBA OKWEWALA EBIKEMO BYASENTE N’ABAKYALA
ALLAH YATUGAANA ENYIMBA - (Luganda)
YANNYONNYOLA SHK. AMAKULU GENNYIMBA NENSONGA LWAKI ALLAH YAZIGAANA
Kiki Ekiddako Oluvannyuma Lwa Ramadhan - (Luganda)
Yannyonnyola shk. Nti okusiiza allah kubeerawo mumbeera yalugenderezo, nokunnyonnyola obwennyini bwokusiinza oluvannyuuma nakubiriza abasiraamu okugenda mumaaso n’okukola ebyetteka jebali wadde nga ramadhan eweddeko.
Yannyonnyola shk. Mumusomo guno nti omukkiriza owannamaddala yekwata kukusiiba nokuyimirirako ekiro embanga lwobulamu bwe lyonna
Abantu Basatu Allah Tajja Kutunulako - (Luganda)
Yannyonnyola shk. Nti abantu b’abiti bisatu allah tajja kubatunulako naliiso lyakisa kukiyaama, era mulimu omuntu alina amazzi agamumala ate nagamma abalala, natunda ebyamaguzi bye oluvannyuma lwa asr nga alayira, n’alonda omukulembeze we olwensi.
Bivirako Okwonooneka Kw’abaana - (Luganda)
Yannyonnyola shk. Mumusomo guno ensonga satu ezivirako okwonooneka kwabaana, enkuza embi, obwavu, n’okwawukana kwabazadde.
Enyambala Yomusajja Omusiraamu - (Luganda)
Yannyonnyola shk. Nti allah bwe yatulagira okubikka obwereere, nabbi (s.a.w) yatubulira ebitendo byo lugoye lyomukkiriza nagaana abasajja okukweyesa nengoye ezibakwata.nekibonerezo kyokweyesa
Butya Bwosengeka Edduwa - (Luganda)
Shk. Yannyonnyola nti kigwanidde eri omusiraamu okutandika mukusaba kwe n’okusuuta allah, n’okusaalira ku nabbi (s.a.w) oluvannyuma asabe kyayagala era asembyeyo okusabira abasiraamu
Shk. Yannyonnyola amakulu g’obulamu obwakanyigo, era nti empeera omuntu gyafuna esiinziira kumirimu gye
Nabbi Yalinga Asabisa Ebigambo Ebibuna - (Luganda)
Yannyonnyola shk. Amakulu g’edduwa ebuna, era lwaki nabbi (s.a.w) zeyakozese nga mukusaba
Mazima Allah Yemufuzi Wabafuzi Bonna - (Luganda)
Shk. Yazimbira omusomo guno kutteeka lya allah eri gamba: ‘ mbagambe nti allah yemufuzi wabafuzi...’ nannyonnyola nti allah akola mubufuzi bwe kyonna kyaba ayagadde era avunaana ate ye tavunaanwa, awa kubufuzi bwe gwaba ayagadde.
Allah Yatonda Omuntu Ate N’asinza Ebitali Ye - (Luganda)
Shk. Yannyonnyola nti obulyazamaanyi obusinga obunene yemuntu okulekawo eyamutonda ate nasinzaamu atali ye, n’okumugabirira ate neyebazaamu mulala.

API
