×
Image

Allah Agezesa Abaddu Be - (Luganda)

Yannyonnyola shk. Amakulu g’okugezesabwa, ekigendererwa mukwo, n’emiteeko gyakwo.

Image

Abantu Basatu Allah Yaziyiza Kubo Okuyingira Ejjanah - (Luganda)

Shk. Yesigamiza omusomo guno ku hadith yannabi (s.a.w) yagamnba nti abantu basatu allah yaziyiza kubo ejjana: omunyi womwenge, ayisa obubi bakadde be, n’omusajja sekibotte oyo atafaayo kubwonoonefu bwabantu be.

Image

Ebyokuyiga Ebiri Musurat Al-Asr - (Luganda)

Shk. Yatandika omusomo guno n’okunnyonnyola amakulu ga asr, olunannyuma n’ayogera ebyokuyiga ebirimu, nti allah yayogera muyo ebikuyamba okuwona okufaafaganirwa: (okukkiriza allah, okkola emirimu emirungi, obuguminkiriza, okulagira empisa ennungi nokuziyiza empisa embi)

Image

Amateeka G’okusala Dhuhiya - (Luganda)

Yannyonnyola shk. Amakulu ga dhuhiya, okulamula kwayo, obukulu bwayo, biki an’asala byalina okkola, ebisolo ebirina okusalibwa, ebisazisibwa n’obukwakkulizo bw’okusala

Image

Ebivunaanwa By’omukyala Eri Bba - (Luganda)

Yayogera shk. Mumusomo guno ebivunanwa bibiri mubivunanwa by’omukyala eri bba: 1.okumukkiriza okubeera naye munsonga z’obufumbo wonna waba ayagalidde, 2. Obutafuluma munju okujjako nga bba omukkirizza.

Image

Engeri Y’okugololamu Omukyala Bwaba Nga Yewaggudde - (Luganda)

Yannyonnyola shk. Ebintu bina mukutereeza omukyala, okumubulirira, okumusenguka mukusula, okumugunjula, okuyita abantu b’omukyala n’abomwami okutuula munsonga zino.

Image

Okulungamya Kwa Nabbi Mukulera Abaana - (Luganda)

Shk. Yesigamiza omusomo guno ku hadith ya nabbi (s.a.w) egamba nti ‘mulagire abaana bamwe okusaala nga balina emyaka musaanvu era mubakubemu - olwo kujireka- nga bawezezza emyaka kumi, mubaawule nemubisulo’

Image

Ebitendo Bya Hijja Ekkiriziddwa - (Luganda)

Yannyonnyola shk. Mumusomo guno ekigendererwa mu hijja ekkiriziddwa, obulungi n’obukulu bwayo, nayogera nebitendo byayo munaana.

Image

Okuvvunula Ekitundu Ekisembayo Mu Surat Al-Kahfi - (Luganda)

Shk. Yannyonnyola mumusomo guno amateeka agakenenulwa mu ayaat zino nga okusazibwamu kwemirimu gyabakafiiri, era obuddo bwabwe bwamumuliro, era nti empeera yabakkiriza kuyingizibwa janat, era ebigambo bya allah tebigwayo, nokugaana okugatta ku allah mukusiinza

Image

Obukwakkulizo Mukuwasa - (Luganda)

Yannyonnyola shk. Okusookera ddala enjawulo wakati wobukwakkulizo bwokuwasa n’obukwakkulizo mukuwasa, nabiki ebibeeramu obwenkanya wakati w’abakyala, nemiteeko ebiiri mubukwakkulizo bwokuwasa obutuufu nobukyamu nebitendo by’omukyala omulongofu.

Image

Embeera Z’obulamu Bw’obufumbo - (Luganda)

Yannyonnyola shk. Mumusomo guno nti obulamu bw’obufumbo buteekeddwa okutunulira embeera eriwo, tebusanidde kubaamu mahale gasukkiridde, n’okudiibuuda mumbaga, n’okulabirira omukyala kulina kusinziira kunfuna ya musajja, era bulina okubaamu okuyisinganya obuluungi

Image

Byotekeddwa Okutunuulira Yenna Ayagala Okkola Hijja - (Luganda)

Shk. Yannyonnyola nti kyatteeka eri omuntu yenna ayagala okkola hijja okutunuulira ebintu bino wammanga: okusaba allah okumusalirawo ekirungi, okwanguya okwenenya, okulekera abantu be ebyokkozesa ebibamala, okwetegekera entanda emumala mumaali ye eya halaal,okufaayo okuyiga emikolo gya hijja, nebirala.