×
Image

Embeera Y’abasalaf N’abaana Babwe - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno nti abasalaf be basinga obulungi mu Ummah eno mu kumanya, mubukkiriza, n’okukola emirimu emirungi, n’oluvannyuma nannyonnyola butya bwebalera nga abaana baabwe.

Image

Abaana Mubawulenga Mubisulo - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. mu musomo guno amakulu g’ekigambo kya Nabbi ekigamba nti "Abaana mubawulenga mubisulo" nayogera nebigambo byabamanyi kukyo.

Image

Akabi Akali Mukulemera Kumazambi - (Luganda)

Yannyonnyola shk. Mu musomo guno nti Allah yatonda omuntu n’amuteerawo buli kimu ekigenda okumugasa, era okwekwata ku Allah byeyalagira kiri kulwabuluungi bwabantu, n’oluvannyuma nalaga akabi akali mu kulemera ku mazambi.

Image

Obwennyini Bwekyengera - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno amakulu g’ekyengera n’obwennyini bwakyo nakiki ekigwanidde eri oyo Allah gwa wadde ekyengera.

Image

Obwenkanya Wakati W’abaana - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno amakulu gwokwenkanyankanya wakati wabaana, obukulu n’obulungi bwakwo, n’akabenje akali mubutenkanyankanya wakati wabwe.

Image

Endooto Mubusiraamu - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno amakulu g’endooto n’emiteeko gyaazo, n’obujulizi bwabuli muteeko.

Image

Eby’okuyiga Mu Hadiith Ya Hudhayifa - (Luganda)

Yannonnyola Shk. Mu musomo guno amakulu gebigambo ebiri mu (s.a.w) Hadiith ya Hudhaifa,: “Abantu baali babuuza Nabbi ebirungi nga nze mubuuza bibi olwokutya okubigwamu” n’ebyokuyiga ebirimu.

Image

Embeera Z’omusiraamu - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno empisa omusiraamu z’atekeddwa okuba nazo, era nti obusiraamu bukyusa empisa n’ebikolwa by’omuntu, era nti walina okubaawo enjawulo wakati w’omusiraamu natali musiraamu.

Image

Aleka Ebibi Afuna Okwesiima - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Nti amazambi neby’onoono birina akabi kanene eri obulamu bw’omuntu, era nti zezimu kunsonga eziviirako okufaafagana kw’omuntu, era nti abireka kulwa Allah neyenenya afuna okwesiima kunsi nekunkomerero.

Image

Kolera Abantu Ku Lwa Allah - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno nti omuntu yenna akola nga anoonya okusiima kwabantu yejjusa, naye oyo yenna akolagana n’abantu nga anoonya okusimibwa kwa Allah talyejjusa nakamu.

Image

Eby’obusika Mubusiraamu - (Luganda)

Shk. Yannyonnyola amakulu g’obusika mubusiraamu, obukulu nekyagendererwa mukwo, bannannyini migabo n’obujulizi mukugikkiriza.

Image

Amazambi Agakaafuwaza - (Luganda)

Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno amakulu ga mazambi nemiteeko gyago, oluvannyuma nannyonnyola amazambi agakaafuwaza.