Yannyonnyola Shk. Obukulu n’omugaso gw’okusaddaaka eri omuntu kuno kunsi ne kunkomerero
OBUKULU BW’OKUSADDAAKA - (Luganda)
EMITEEKO GY’EMIKWANO - (Luganda)
Omusomo guno gwasomesebwa Shk. Umar Ndawula era nga yannyonnyolemu hadiith ya Nabbi (s.a.w) “nti teri muntu yenna okujjako nga alina abemikwano basatu: Owomukwano akugamba nti ndi wamu naawe twala kyonna kyoyagala ebbanga lyemba nga wendi, eyo ye mmaali yo,
EKIFUBA EKIRAMU - (Luganda)
Yannyonnyola Shk. Mu musomo guno amakulu g’ekifuba ekiramu, obukulu bwakyo, ne nsonga ezikuyamba okufuna ekifuba ekiramu.
MWAWULE OBUSIRAAMU N’EBWOBUWANGWA - (Luganda)
Omusomo guno gwasomesebwa Shk. Umar swidiiq Ndawula, era nga yannyonnyola mugwo emisingi okwazimbibwa obw’obuwangwa bya Buganda n’okwawukana kwabyo ku mateeka g’obusiraamu, era nti buli kimu kyonna ekyawukana nobusiraamu tukireka nekitwatagana nago tukikolere ko.
EBYONOONO EBINENE - (Luganda)
Yannyonnyola Shk. Amakulu g’ebyonoono ebinene, nenjawulo wakati wabyo nebitono, era nti mubinene mulimu ebikira kubinnaabyo okugeza nga okwenda ku mukyala wamulirwana, n’okubba munju yamulirwana nebirala.
ENKOMERERO EMBI - (Luganda)
Yasomesa Shk. Mukatundu kano ekigambo kya Nabbi (s.a.w) ekigamba nti: Mazima omuddu ayinza okuwangaala nga akola emirimu gy’abantu bomujjana okutuusa nga abuzaayo ekigero ky’enzira agiyingire ate n’akola emirimu gyabantu b’omumuliro naguyingira”
LONGOOSA OBUSIRAAMU BWO - (Luganda)
Shk. Yannyonnyola nti kigwanidde eri buli musiraamu ayagala obuwanguzi okulongoosa obusiraamu bwe nga akola ebyo ebyamulagirwa era n’okulekayo ebyobujeemu.
BAANI ABAFUNA ZAKAATUL FITR - (Luganda)
Yannyonnyola Shk. Nti zakaatul fitr yalaalikwa lwa kuliisa banaku era nti tegabibwa mumiteeko omunaana nga bwekiri ku zakaatul maali.
OLUGOYE LW’OMUSIRAAMU - (Luganda)
Shk. Yannyonnyola mukatundu kano nti Nabbi (s.a.w) yatugaana okwambala olugoye oluliko ekifaananyi kyonna, n’oluliko akabonero konna kububonero bwabakaafiiri, nolulina langi eyakyenvu omutwakaavu, nemmyuufu entwakaavu.
BIDIA MUKUWASA - (Luganda)
Yannyonnyola Shk. Mukatundu kano nti ezimu ku bidiat mu kuwasa ensangi zino gyebayita “Empeta y’obufumbo” era nti okwo kuba kwefanaanyiriza bakafiiri
DDI OKUKKIRIZA LWEKUTAGENDA KUGASA - (Luganda)
Yannyonnyola Shk. Nti omuntu yenna alikkiriza Allah oluvannyuma lw’okulaba obubonero bw’enkomerero obunene tagenga kugasibwa nabukkiriza bwe
TOKKIRIZIBWA KUWASA MUKYALA MWENZI - (Luganda)
Yannyonnyola Shk. Mu katundu kano nti Allah yaziyiza okuwasa n’okufumbiza omwenzi.

API
